TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akwatidde mukazi we mu bwenzi n'amugabira omusiguze

Akwatidde mukazi we mu bwenzi n'amugabira omusiguze

Added 8th November 2017

OMUSAJJA akutte omusiguze ng'asinda akaboozi ne mukaziwe mu buliri bw'obufumbo bwabwe n'amugabira omusiguze amutwalire ddala.

 Omusiguze Kibuuka ng'agezaako okudduka. Ali mu nayiti ye Atuhaire ate mu katono ye bba Musiime. EBIFAANANYI BYA PADDY BUKENYA

Omusiguze Kibuuka ng'agezaako okudduka. Ali mu nayiti ye Atuhaire ate mu katono ye bba Musiime. EBIFAANANYI BYA PADDY BUKENYA

James Musiime 40 omukozi mu katale k'e Mpigi ne Nateete y'akutte mukazi we Pophia Atuhaire 27 gw'alinamu omwana omu ng'asinda omukwano n'omutembeeyi w'e Kyengera, Henry Kibuuka (25) mu nnyumba ye n'akubira Poliisi n'ebakwata lubona nga beeaanyusa. 

Musiime okukwata mukaziwe kiddiridde okukuba ku ssimu ye kyokka omusajja gw'atategeera n'agikwata ekimuwalirizza okuva ku mulimu e Nateete mu katale gy'abadde yatutte obutungulu n'adduka mu maka gaabwe e Mpigi mu tawuni era n'abasanga mu nnyumba ye nga bakyeyesa mpiki za mukwano. 

Atuhaire ng'anoonya engoye ayambale

Musiime asoose kuwulira ddoboozi lya musajja ng'adoodooma kwe kubakonkona kyokka ne bagaana okumuggulira ekimuwalirizza okubasibirayo ne kkufulu naayita poliisi ne baliranwabe nebamenya oluggi era nebabasanga ku buliri nga bibasobedde nebabakwata. 

Abatuuze bakkakkanye ku musiguze ne bamukuba nga bwe bamubuuza ekimuleese mu nnyumba ya musajja munne kyokka poliisi y'e Mpigi n'emutaasa n'ebatwala ku poliisi n'ebaggalira. 

Atuhaire asoose kulimba poliisi nti alina bw'ayita Kibuuka kyokka oluvannyuma n'ategeeza  nti bba Musiime abadde takyamalako bulungi mu nsonga z'omukwano gattako obutamuwa bikozesebwa mu maka ng'ate balina omwana. 

Musiime ku ddyo ng'annyonnyola Poliisi

 

Kibuuka (omusiguze) agambye nti Atuhaire abadde kasitooma we era okumufuna yamuwa ebbaafu n'ebikopo ku bwereere n'amugulira n'essimu kwe babadde bawuliziganya n'okukola pulogulaamu z'okweraba buli lwe baba baagadde. 

Akulira poliisi y'e Mpigi Ronald Mugarura avumiridde ebikolwa by'obwenzi ebisusse mu kitundu n'agamba nti Kibuuka agguddwako omusango gw'okusaalimbira mu maka ga munne.

SSEMAKA akutte omusiguze nga asinda akaboozi ne mukaziwe mu buliribwe namumuweera ku poliisi. James Musiime 40 omukozi mu katale ke Mpigi ne Nateete yakutte mukaziwe Pophia Atuhaire 27 gwalinamu omwana omu nga asinda omukwano nomutembeeyi we Kyengera Henry Kibuuka 25 mu nyumbaye naakuba enduulu nebabakwata lubona nebabatwala ku poliisi gyamumuweredde nti amutwale. Musiime okukwata mukaziwe nomusiguze kiddiridde okukuba ku ssimu ya mukaziwe kyokka omusajja gwatategeera nagikwata ekimuwalirizza okuva ku mulimu eNateete mu katale gyabadde yatutte obutungulu nadduka mu maka gaabwe eMpigi mu town council era nabasanga mu nyumbaye nga besanyusa. Musiime asoose kuwulira doboozi lya musajja gwatategeera mu nyumbaye olwo naakonkona wabula nebagaana okumuggulira ekimuwalirizza okubasibirayo ne kkufulu naayita poliisi ne baliranwabe nebamenya oluggi era nebabasanga ku buliri nga bibasobedde nebabakwata. Abatuuze bakakanye ku musiguze nebatandika okumukuba nga bwebamubuuza ekimuleese mu nyumba ya musajja munne kyokka poliisi ye Mpigi nemutaasa nebatwala ku poliisi nebaggalira. Atuhaire asoose kulimba poliisi nti alina bwayita Kibuuka kyokka oluvanyuma nategezeza nti bba Musiime abadde takyamalako bulungi mu nsonga zomukwano gattako obutamuwa bikozesebwa mu maka ngate balina omwana. Kibuuka (Omusiguze) agambye nti Atuhaire abadde kasitoomawe era nga okumufuna yamuwa ebaafu nebikopo ku bwereere naamugulira ne ssimu. Akulira poliisi ye Mpigi Ronald Mugarura avumiridde ebikolwa byobwenzi ebisusse mu kitundu era nagamba nti Kibuuka aguddwako omusango gwokusaalimbira mu maka gamunne.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...

Abakuumaddembe nga batwala omulambo gw'omukazi eyattiddwa.

Ab'e Nansana beeraliikirivu...

Abatuuze b'e Nansana beeraliikirivu olw'abantu abazze bawambibwa ate oluvannyuma ne basanga nga battiddwa mu bukambwe....

Bebe Cool.

Bebe Cool alabudde Nubian L...

Bebe Cool alabudde omuyimbi Nubian Lee ne Pulodyusa Dan Magic n'abasaba okukomya okwenyigira mu bikolwa ebisoomooza...