TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Maama Fiina ayogedde ku nnyumba eyali bba gye yatunze:'Nze nagimuwa'

Maama Fiina ayogedde ku nnyumba eyali bba gye yatunze:'Nze nagimuwa'

Added 11th November 2017

MAAMA Fiina (Sofia Namutebi) atangaazizza ku nnyumba gye yagabira eyali bba, Haji Ismail Ssekidde oluvannyuma eyagiguzizza omusumba w’abalokole e Mityana.

 Amaka ga Maama Fiina bba, Ismail Ssegujja ge yamugulidde e Bwebajja mu Akright.

Amaka ga Maama Fiina bba, Ismail Ssegujja ge yamugulidde e Bwebajja mu Akright.

Ennyumba eno Ssekidde yagiguzizza Pasita David Rubainda owa Pentecostal Church e Busimbi ku bukadde 450.

Mu kiseera kino omulokole eyagiguze ali mu kugisabira ng’agamba nti agobamu mizimu era yagitumye ‘Miracle House.’

Ye Maama Fiina agamba nti okuva lwe yayawukana ne Ssekidde mu November 2011 n’afumbirwa omugenzi Maj. Mohammed Kigunddu mu 2014, taddangayo kulinnya Mityana mu maka gano kuba enju yagiwa Ssekidde mu butongole.

“Ssekidde engeri gy’ali taata w’omwana wange era nga ye musajja gwe nasooka okulaba nga nkyali muto e Kyabazaala gye banzaala ate ne mmuzaalira muwala waffe Swabulah Nakidde mu 2007, bwe twayawukana olw’ebiwundu bye yali antuusizzaako ku mutima nasalawo mmulekere buli kye twakola naye,” Maama Fiina bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti bwe baamala okuzimba enju eno, yagenda e Dubai gye yagula buli kintu kye baagissaamu kyokka byonna bwe yali anoba yabirekayo.

Agamba nti kuno Ssekidde yamugattirako emmotoka bbiri okwali Spacio ne Prado TX. “Sirina lutalo na Ssekidde kutunda bibye kuba enju nagimuwa mu bulungi twawukane nsigaze obulamu era waddembe okugiguza gw’ayagala wadde mulalu era nsaba Pasita Rubainda agamba nti yagiguze aleme kukitwala nti yaguze enju ya Maama Fiina, nze nagigaba dda.

Ssekidde namuwa ebyapa by’enju eyo mu 2012 n’olukusa okubikyusa era bwe yali atunda namuteerako omukono. Saalondoola ani gw’agiguzizza era saamusabye wadde ekikumi ku ssente ze. Mu kiseera kino Haji Ssekidde ali Dubai alya bulamu.

Pasita ng’asabira enju gye yaguze ku Ssekidde eyali bba wa Maama Fiina.

 

E Mityana nasigala kugenda ku ffaamu yange, olusukku oluli e Mbaliga n’okulambula amaduuka gange agatunda ggomesi z’abakyala agali mu kibuga Mityana.

Okuzimba amaka g’e Mityana ku kyalo Buswabulongo mu Munisipaali y’e Mityana nali nzimbye maka ga mu kyalo okuwummuliramu nga gabalirirwamu akawumbi kamu n’obukadde 140 (1,140,000,000/-) wabula kati nazimba amalala e Matugga lubiri lulamba era eno gye nali mbeera n’omugenzi Maj. Mohammed Kiggundu.

Bwe nawooweddwa omwami wange nnannyini pawundi, Ismail Ssegujja yangulidde amaka mu Akright e Bwebajja nga kati gayooyootebwa era tujja kugayingira mu butongole mu January wa 2018 nga baze akomyewo mu Uganda.

Ssegujja obulamu bwange yabukyusizza era n’omwana wange gwe nazaalira Ssekidde yamuggye mu masomero aga bulijjo n’amutwala mu Taibah International School ku lw’e Ntebe.

Era yankoledde ku butuuze bw’e Bungereza n’omwana wange Nakidde era bwe twagala okugenda okuwummulako tugenda bugenzi,” Maama Fiina bw’agamba.

Maama Fiina alina amayumba e Bulenga, Matugga, Bwebajja, Makindye mu Kizungu, Namugongo, Kyaliwajjala n’ebitundu ebirala.

Amaka ge yawa Ssekidde ge yatunze gali ku yiika bbiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...

Omugagga Hamis Kiggundu ng'annyonnyola

Omugagga Ham azzeemu okuttu...

OMUGAGGA Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham agonzezza banka n'ekkiriza okuggyawo omutemwa gw'okusooka okusasula...

Mzee Kiwalabye. Abaddako be batabani be; Nkolo, Sssevume ne Ssebuliba abagambibwa okutta kitaabwe

Poliisi ekutte abagambibwa ...

POLISI y’e Kaikiri ekutte abooluganda basatu abagambibwa okwekobaana ne batta kitaabwe Wilson Kiwalabye olw’obutabagabira...

Omuwala atanneetuuka gwe baafunyisizza olubuto.

Abapoliisi basattira ku by'...

ABASERIKALE ba poliisi mu disitulikiti y’e Hoima babiri basattira olw’okuyimbula omusajja eyafunyisa omwana atanneetuuka...

Pallaso ku poliisi. Pallaso ng’alaga empingu gye yadduse nayo

Pallaso yeetutte ku poliisi...

MZEE Gerald Mayanja, kitaawe w’omuyimbi Pallaso asiitaanidde ku poliisi e Katwe okugikkirizisa okuyimbula mutabaniwe...