
Bino Pulezidenti abyogeredde mu lukung'aana lw’ebyobusuubuzi olwa ‘Business Forum’ lwe yatuuzizza mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe ng’ali ne Pulezidenti wa Sudan Field Marshall Omar Hassan Ahmad al-Bashir eyafundikidde obugenyi bwe obw’ennaku ebbiri mu Uganda eggulo ku Lwokubiri.
Pulezidenti Museveni yategeezezza nti, Gavumenti enaatera okumaliriza enteekateeka ez’okuzza obuggya Uganda Airlines eyasasika mu myaka egya 1990 n’agamba nti, amangu ddala nga kkampuni eyo ezzeemu, Sudan y’emu ku nsi ennyonyi za Uganda gye zinaagwanga.
Kkampuni ya Sudan ey’ennyonnyi eyitibwa TARCO Airlines nayo yaakutandika okusaabaza abantu wakati wa Uganda ne Sudan okusinziira ku nzikiriziganya eyatuukiddwaako abakulembeze bombi Mu lukuhhaana lwa 'Business Forum' olwetabiddwaamu abasuubuzi ne bamusigansimbi ab’amawanga gombi, Pulezidenti Museveni ne Bashir beeyamye Gavumenti zombi zaakubawa enkizo mu kutandikawo pulojekiti n’emirimu egivaamu ensimbi okukulaakulanya Uganda ne Sudan.
Museveni ne Bashir bakkiriziganyizza nti, Uganda ne Sudan okussaawo enkolagana ey’omuggundu mu pulojekiti ezivaamu ensimbi n’enkulaakulana naddala mu by’amakolero, ebyobugagga eby’omu ttaka, okuyunga mmotoka, amakolero ag’ebyuuma, eby’engoye, ebintu ebiva mu kulima ng’emmwaanyi, ppamba, n’ebiriibwa.
Bashir yasuubizza okutegekera abasuubizi ne bamusigansimbi ab’amawanga gombi olukuhhaana ggaggadde mu Sudan nga lujja kwetabwamu n’abagagga okuva mu nsi eza Buwarabu okufunira abagagga n’abasuubizi ba Uganda ne Sudan abo emikisa egy’okukola ensimbi.
Nga tannasuubula, okudda Sudan, Bashir ne Pulezidenti baafulumizza ekiwandiiko eky’awamu ku bye baatuuseeko mu nnaku ebbiri okuva ku Mmande Bashir lwe yatuuse.
Mu kiwandiiko ekyo mwabaddemu ensonga ze bye baayogeddeko ez’ebyokwerinda, obwasseruganda, ebyobusuubuzi n’enfuna, ensonga za Somalia n’endala.