TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • North Korea eraze ebifo by'egenda okusaanyaawo: Kuliko amaka ga Trump, n'ebirala

North Korea eraze ebifo by'egenda okusaanyaawo: Kuliko amaka ga Trump, n'ebirala

Added 27th November 2017

AMAKA g’Obwapulezidenti aga White House n’ekitebe ky’ebyokwerinda ekiyitibwa Pentagon, bye bisooka waggulu ku lukalala lw’ebifo eby’enkizo n’ebibuga bya Amerika ebisukka mu 50, North Korea by’etegese okusuulako bbomu nnamuzisa eza Nukiriya ssinga Pulezidenti Donald Trump amusosonkereza.

 Pulezidenti wa Amerika, Donald Trump.

Pulezidenti wa Amerika, Donald Trump.

Omukulembeze wa North Korea, Kim Jong un ateeseteese okuziwanga ku mizayiro ez’omutawaana ennyo eziwenyuka ng’ekizungirizi eziyitibwa Intercontinental ballistic missile (ICBM).

Mizayiro za North Korea eza ICBM za bika bingi kyokka ey’omutawaana ennyo etuuza Abamerika obufoofofo eyitibwa Mazayiro Hwasong -14 ng’eno esobola okutolontoka okuva mu North Korea n’ekuba wonna mu Amerika ng’ekozesa tekinologiya ekyali omupya ttuku agitwala ku ndagiriro y’omulabe.

Lipoota eyafulumiziddwa akakiiko ‘European Council on Foreign Relations’ yalaze ebifo bya Amerika eby’enjawulo Kim Jong un by’ateeseteese okusuulako bbomu eza Nukiriya n’ebifo eby’okusuulako bbomu ez’ebika ebirala bisaanewo.

Amaka aga White House Pulezidenti Donald Trump mw’asula ge gasooka waggulu ne kuddako ekitebe ky’ebyokwerinda ekya Pentagon ekisangibwa mu ssaza ly’e Virginia n’ekitebe kya National Aeronautics and Space Administration (NASA) ekisangibwa mu Washington DC.

Ebifo ebirala eby’okukuba kuliko ekitundu ekya Manhattan mu kibuga New York nga we wasangibwa ebizimbe ebya Twin Towers abattuju ba Osama bin Laden bye baatomeza ennyonnyi mu September wa 2001 ne bituula ku ttaka.

Abantu abasukka mu 2,000 ne baafiira mu bulumbaganyi obwo. Kim Jong un era eteekateeka okusuula bbomu ku mmeeri za Amerika ennwanyi zonna eziri mu kitundu ekya Korean Peninsula okuli n’emmeeri enneetissi z’ennyonyi okuli USS Reagan, USS Roosevelt ne USS Nimitz n’endala ennwanyi nga zonna awamu ziri 41.

Lipoota akakiiko ka European Council on Foreign Relations era yalaze nti Kim Jong un ateekateeka okusuula bbomu ku kitebe kya Amerika eky’ebyokwerinda ekitwala Ssemazinga wa Asia ekiyitibwa United States Pacific Command (USPACOM) gattako n’ekizinga ekya Amerika ekiri mu guyanja Pacific ekiyitibwa Guam.

Ebifo ebirala North Korea by’ateeseteese okuzuulako bbomu, kuliko amaka ga Pulezidenti wa South Korea aga Blue House n’ebifo eby’enkizo mu South Korea okuli enkambi z’amagye n’ebizimbe bya gavumenti mu kibuga Seoul.

North Korea era etegese n’okukuba ebifo eby’enjawulo mu Japan okuli enkambi z’amagye ga Amerika agali mu Japan n’ebifo bya gavumenti mu bibuga bya Japan ebinene.

NORTH KOREA ESIMBYE MIZAYIRO HWASONG-14 EZ’OKUKUBA AMERIKA

Okusinziira ku lipoota y’akakiiko aka European Council on Foreign Relations, North Korea yasimbye emizinga ne mizayiro ez’obulabe ennyo okuli n’eyitibwa Hwasong-14 ez’ekika kya Intercontinental ballistic Missile (ICBM) ekyali empya ttuku mu bifo eby’enkizo we zisobola okusinziira ne zikuba mu Amerika, South Korea ne Japan.

Mizayiro zino, North Korea ezisimbye ku nsalo yaayo ne South Korea n’ebifo ebiri ku lubalama lw’oguyanja Sea of Japan mu mpuku ezisimiddwa mu nfo enneekusifu okwetegekera olutalo oba obulumbaganyi obuyinza okubalukawo.

Abaakakiiko aka European Council on Foreign Relations baagambye nti ebyuma ebikessi ebya Satellite byakesse North Korea ng’ekukusa emizinga ne mizayiro ezo okuzitwala mu mpuku eziri mu nsalo y’amawanga gombi.

Olupapula lw’amawulire mu South Korea oluyitibwa Donga Ilbo lwategeezezza nti ebyuma ebya Satellite byalaze ng’ebyokulwanyisa bikuluumululwa okuva mu kibuga Pyongyang ne Phyongan nga bitwalibwa ku nsalo.

Kim Jong un yalabudde nti ssinga wabaawo obulumbaganyi bwonna, Amerika n’amawanga Trump g’akukuta nago okuli; Souh Korea ne Japan gagenda kukisasulira n’oluvannyuma amawanga amalala gonna aganeeyingiza mu lutalo gakigweko.

Okusinziira ku kitongole ky’ensi yonna ekya International Atomic Energy Agency's (IAEA), North Korea eteeberezebwa okuba nga yaakaweesa bbomu nga 50 ez’amaanyi ga Nukiriya nga yaakagezesaako mukaaga zokka, ekitegeeza nti erinawo bbomu nga 44.

Ekisinga okutiisa Amerika, ze mizayiro za North Korea ez’omutawaana ezikuba mu nkumi n’enkumi za mayiro okuli ne mizayiro eyitibwa Hwasong-10 esobola okukuba mu mayiro 10,000!

Ssinga mizayiro Hwasong -14 eyungibwako mu mutwe gwayo, bbomu emu yokka ey’amaanyi ga Nukiriya, ne bagikuba ku kibuga nga New York ekya Amerika, esobola okutta abantu ebitundu 75 ku 100 mu lubwatuka lumu lwokka n’okusuula ku ttaka ebizimbe 90 ku 100 mu kibuga!

Amerika etya okutankuula olutalo kubanga wadde North Korea basobola okugikuba n’esiimuuka ku maapu y’ensi yonna, kyokka nayo (North Korea) esobola okubassaako (abamerika) olubale olw’olubeerera ssinga egikuba bbomu za Nukiriya ne bwe ziba bbiri oba ssatu.

Eno y’ensonga lwaki emyezi giweze kkumi bukya Trump ayingira White House, akyali mu kuwera, okutiisatiisa n’okukangakanga North Korea ng’ayagala waakiri Kim Jong un atye, asabe bateese, bbomu eza Nukiriya zisaanyizibwewo era ereme kuddamu kuweesa mpya kyokka Kim Jong un yeeyongera ggume buli olukya.

Amerika yokka si y’essatira olwa mizayiro ya North Korea, wabula n’amawanga ag’omu Bulaaya ne Asia kuba ssinga Kim Jong un atabuka, mizayiro ye esobola bulungi okutuuka mu bibuga ebinene eby’amawanga ga Bulaaya ne Amerika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kizza Senninde

Bba wa minisita Rosemary Se...

ZEFANIYA Kizza Senninde nga ye bba wa minisita omubeezi ow'ebyenjgiriza ebisookerwako, Rose Nansubuga Senninde...

Abamu ku baagala okufuna tikiti nga balwanira ku kitebe kya NUP.

Aba Bobi Wine bayomba lwa l...

OLUTALO luzzeemu ku kitebe ky’ekibiina kya Bobi Wine ekya National Unity Platform e Kamwokya nga luva ku lukalala...

Liverpool eyagala Mbappe

OKUZIMBA ttiimu ejojobya Bulaaya, omu- tendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp abikwasizza maanyi.

Bashemera n’abaana be. Okuloota ng’ofunye omulimu mu nsi z’ebweru n’ogugaana kitegeeza ki? Nze Gift J e Makerere. Kikulabula obutalowoolereza mu bintu ebiri

Muggya wange yatta bbaffe n...

OKUFA kwa baze kwankuba wala katono ngwe n’eddalu. Abasawo baakola kya maanyi okumbudaabuda n’okunzizaamu essuubi...

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Kitegeeza ki Latif okuva mu...

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya...