TOP

Abaawambye omwana w'omujaasi balidde ssente ne bamulemera

Added 7th April 2018

AMAGYE gazudde obutambi okuli amaloboozi g’abaawamba omwana wa ofiisa wa UPDF nga boogeraganya ne maama w’omuwambe.

 Col. Francis Ongia. Ku ddyo, Omuwambe Dennis Alyenyo

Col. Francis Ongia. Ku ddyo, Omuwambe Dennis Alyenyo

Mu kiseera kino, omuyiggo gw’okuzuula Dennis Alyenyo 33, mutabani wa Col. Francis Ongia akulira ‘Operation Wealth Creation’ mu disitulikiti ye Amolotar eyabu

ziddwaawo ku Lwokuna nga March 29, 2018, gweyongedde amaanyi era amagye galina obujulizi bwe gafunye obuwa essuubi.Ensonda zaategeezezza obutambi obwafuniddwa bwa mirundi ebiri. Akamu maama wa Alyenyo yali

ayogeraganya n’omu ku basajja abaawamba. Ate akatambi akalala abaawamba baali boogera n’omuwala muganzi wa Alyenyo.

Kyazuuliddwa nti maama wa Alyenyo abazigu bwe baamukubira essimu baasooka kumusaba obukadde musanvu okusobola okuyimbula mutabani we.

Abazigu baategeeza maama nti bw’aba ayagala okufuna mutabani we alina okwewala ensonga okuziyingizaamu ebitongole byokwerinda.Baakozesa ssimu ya Alyenyo

yennyini ey’omu ngalo era ne bamukakasa nti ensonga yeewale okuziyingizaamu abantu abangi wadde aba famire, kuba tebakyagala.

Abazigu oluvannyuma baggyako essimu era maama yasigala agigezaako kyokka nga teriiko.

Essimu bwe yaddako ku Lwomukaaga maama yagikubako ne bagikwata. Kyokka ku mulundi guno baamulaga nti obukadde omusanvu tebakyazaagala, nga bazirinnyisizza basaba obukadde 15.

MAAMA YAWEEREZZAABA ZIGU EMITWALO 80

Maama wa Alyenyo mu kutya okw’ekitalo yasaba abazigu waakiri abaweereze emitwalo 80 gye yalinawo mu kiseera ekyo era n’azibasindikira ku ssimu ya Alyenyo gye baali bakozesa.
Ekimu ku ky’asinga okutengula maama okuweereza ssente kwe kwongera okumuwa Alyenyo n’ayogerako naye n’amulaajanira nti; “maama munnyambe musindike ssente naye abasajja baagala kunzita”.

Abeebyokwerinda nga bakolagananira ne poliisi ne kkampuni y’essimu baasobodde okuzuula nti emitwalo 80 ezaaweerezebwa maama zaggyibwa ku ssimu nga basinziira mu bitundu by’e Jinja.

Kino kyabawadde amaanyi agateebereza nti abazigu bateekeddwa okuba nga babeera Jinja era nga n’omuwambe alabika akuumibwa mu kitundu kye kimu.

Kyokka bwe baayongedde okunoonya baazudde nti, Alyenyo azze atambuzibwa mu bifo eby’enjawulo okuli Jinja, Mukono ne Kampala mu kaweefube w’okwewala okukwatibwa.

Mu kiseera kino ebitongole byokwerinda biri mu kufeffetta buli kifo we basuubira n'okunoonya abantu abafaananya amaloboozi agali ku butambi.

EBITONGOLE BYOKWERINDA BIYINZA OKUBA NGA BYE BIRINA ALYENYO?

Waliwo amawulire agaabadde gatandise okusasaana nga gagamba nti, Alyenyo yandiba nga yakwatibwa ekimu ku bitongole byokwerinda nga baliko bye bamubuulirizaako.

Olunwe baasinze kulusonga mu ggye erikuuma Pulezidenti erya Special Forces Command (SFC) okuba nga be baamukwata era mbu akuumirwa mu bitundu by’e Ntebe.
Kyokka Capt. Denis Omara omwogezi wa SFC yagambye nti si kituufu nti, be balina Alyenyo.

Yategeezezza nti eby’okubula kwa Alyenyo naye yabirabye mu mawulire ku Lwokuna kyokka nga talina kyamanyi kisingawo.

Yategeezezza nti tebakola bwe batyo ne bwe baba bakutte omuntu. Mu nkola yaabwe baategeezza ku be hhanda z’omuntu gwe bakutte era nga bakolaganira wamu n’ebitongole byokwerinda ebirala nga poliisi.

Yagasseeko nti waliwo abantu abamu abatera okuyingiza SFC mu bintu by’etaliimu, kyokka nga bagenda okubategeeza nga tebalina kye babimanyiiko. Yawadde ekyokulabirako ky’abantu abaakwatibwa e Namuwongo mu Kampala gye buvuddeko nga bagamba nti be baali babakutte naye nga tebalina kye bamanyi.

Maj. Gonzaga Gonza ow’e nkambi y’e Magamaga agambibwa okuba nga y’akulidde ekiwendo ky’okuzuula Alyenyo bwe yatuukiriddwa okubeerako ky’ayogera we batuuse yajulizza poliisi n’agamba nti be bantu abatuufu okutangaaza we batuuse mu kiseera kino.

FAMIRE EKYALI MU KUTYA

Col. Francis Ongia, kitaawe wa Alyenyo yagambye nti mu kiseera kino atabuddwa kuba tannaba kumanyira ddala mutabani we waali. Ekimu ku kisinga okweraliikiriza famire kwe kuba ng’ennamba kwe babadde bafunira abaawamba emaze ennaku nga teriiko.

“Mu kiseera kino ndi mwetegefu okusasula ssente zonna ze baagala, kyokka simanyi ngeri gye nnyinza kuzibatuusaako kuba tewali ngeri famire yange gy’ewuliziganya nabo”, Col. Ongia bwe yagambye.

Wadde ng’abantu basatu be baakakwatibwa, ensonda zaagambye nti, waliwo mikwano gy’omulenzi abalala abanoonyezebwa kuba balabika nga baliko kye bamanyi ku bantu abaabuzaawo Alyenyo.

Ku Lwokuna nga March 29, 2018 kigambibwa nti Alyenyo yali yeebase ewuwe mu nnyumba gy’apangisa e Magamaga mu disitulikiti ye Jinja ekiro, waliwo abantu abaamukonkona era olwaggulawo ne bagenda naye.

Ekimu ku kyewuunyisa kwe kuba nga baliraanwa tebalina kye baawulira, wadde ng’obubonero bulaga nti yandiba nga yaggyibwa mu nnyumba kuba gaalubindi za

Alyenyo ezitamuva ku maaso baazisanga mu kisenge era nga n’oluggi luggule.

Abaawamba Alyenyo bwe baamala okumuwamba ku Lwokuna, enkeera ku Lwokutaano baakubira maama we essimu nga bamusaba obukadde musanvu. Oluvannyuma baazirinnyisa ne bagamba nti baali baagala 15.

Maama wa Alyenyo yasobola okwogera ne mutabani we ku ssimu, n’amulaga nti ali mu bulumi olw’engeri gye yali atulugunyizibwamu.

Essimu ya Alyenyo abazigu gye batera okukozesa nga bakubira aba famire, kyokka ekizibu ebeerako biseera bimu na bimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...

Trump asimattuse omukazi ey...

AB'EGYE erikuuma Pulezidenti wa Amerika singa tebaatebuse mukazi eyabadde ateze Pulezidenti Donald Trump obutwa...