TOP

Ochola akyusizza abaakola ku fayiro ya Kaweesi

Added 23rd April 2018

ABAMU ku boofiisa ba poliisi ababadde batambulizibwako fayiro y’okutemula Kaweesi bakyusiddwa ne basindikibwa ku mirimu emirala.

 Ekifo we baatemulira Kaweesi ne banne.

Ekifo we baatemulira Kaweesi ne banne.

Enkyukakyuka zino zajjidde mu kiseera nga waliwo ebigambibwa nti ebimu ku bizibiti mu musango gw’okutemula AIGP Andrew Felix Kaweesi ne banne babiri, byabuziddwaawo mu ngeri etennategeerekeka.

Wadde omwogezi wa Poliisi mu ggwanga. SSP Emilian Kayima yagambye nti teri kizibiti kyabuziddwaawo, wabula ensonda mu poliisi zaategeezezza nti waliwo ebyasomolwa mu mmotoka mwe battira Kaweesi nga March 17, 2017 e Kulambiro mu Kampala.

Emmotoka Toyota Land Cruiser TX nnamba UP 4778, baasooka ne bagitereka mu konteyina okumala ekiseera n’ebimu ku bizibiti ebyalimu.

Oluvannyuma, mmotoka eno, yaggyibwayo n’etwalibwa ku kitebe kya poliisi e Naggulu awali ofiisi za poliisi ezikola ku kwekebejja ebizibiti eza Forensics ne bagibikkako ekiveera n’ebizibiti byonna ebyasangibwamu.

Muno mwalimu ebintu ebyayitamu amasasi, leediyo n’ebirala era ensonda zaategeezezza nti, bino bye bimu ku byaggiddwaamu nga n’eyabitutte poliisi tennamutegeera.

ENKYUKAKYUKA ZA POLIISI:

Mu baserikale 88 abaakyusiddwa omuduumizi wa poliisi omuggya Martin Okoth Ochola, mulimu n’ababadde balina akakwate ku fayiro ya Kaweesi.

Abaakyusiddwa kuliko; D/ ACP Francis Olugu, ono y’omu ku baali ku musango gwa Kaweesi, okutemulwa kw’abakazi n’abawala e Wakiso n’e Ntebe, abeebijambiya mu Masaka era yasemba okulabwako ng’apakira abantu mu bbuutu y’emmotoka e Mbarara.

Y’abadde amyuka omuduumizi wa Flying Squad era yatwaliddwa okukulira okunoonyereza ku misango egya bulijjo (General Crime).

D/SSP Mark Paul Odong, ono Gen. Kale Kayihura yali yamukwasa obuvunaanyizibwa okunoonyereza ku misango gyonna eminene.

Ono, naye fayiro ya Kaweesi agibaddemu, abadde anoonyereza ku kutemulwa kwa Suzan Magara era y’omu ku baasindikibwa e South Afrika okukomyawo Patrick Agaba amanyiddwa nga Pato wabula ne bikaluba ku ssaawa esembayo.

Odong yazziddwaayo e Kireka ku SID gye yava nga tannakwasibwa buvunaanyizibwa bupya bwabadde nabwo.

D/CP Venis Tumuhimbise yaggyiddwa mu ofiisi evunaanyizibwa ku kunoonyereza ku misango gy’ettemu (Homicide) n’asindikibwa okukulira ofiisi enoonyereza ku misango egyekuusa ku by’entalo (War Crimes).

Ono naye yaliko mu musango gwa Kaweesi olw’obuvunaanyizibwa bwa ofiisi gy’abaddemu.

Waliwo n’abalala abakyusiddwa kyokka nga tebalina kakwate na musango gwa Kaweesi era kuno kuliko:D/ACP James Bangirana yatwaliddwa mu kitongole ekivunnanyizibwa ku ntambuza y’emirimu e Naggulu, D/SSP Godwin Tumuramye eyabadde akulira okunoonyereza ku pulojekiti za Gavumenti yasindikiddwa okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala South, D/ SSP Charles Mutungi yafuuliddwa aduumira poliisi ekola ku nsonga z’ettaka, D/SSP Joseph Alfred Olinga yafuuliddwa akulira okunoonyereza ku bukenuzi mu bitongole bya Gavumenti.

D/SSP Richard Mugwisagye yafuuliddwa avunaanyizibwa ku kunoonyereza ku misango gy’ebyobufuzi n’okulonda , D/SSP Henry Mugumya Gen Kayihura gwe yali awadde obuvunaanyizibwa okukulira poliisi y’ebyettaka yaggyiddwaawo n’asindikibwa okukulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Greater Bushenyi.

D/SSP Rebecca Namugenyi eyali akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala n’emiriraano yafuuliddwa kamisona avunaanyizibwa ku misango gy’okukabassanya abaana n’abakazi.

D/SP Daniel Batte abadde akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Ntebe, yasindikiddwa okukulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kyoga East, D/SP Bernard Muhumuza yatwaliddwa okukulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu kitundu kya Kampala East.

D/SP Johnson Mande y’akulira ofiisi enoonyereza ku misango gy’ettemu ku kitebe e Kibuli, D/ SP Joseph Bitali Ssentamu abadde akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala South kati yatwaliddwa ku kitebe e Kibuli, D/ SP Herbert Wanyoto abadde akulira SID e Kireka yatwaliddwa okukulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu West Nile, D/ASP Raymond Jjagwe yaggyiddwa e Luweero n’asindikibwa ku kitebe e Kibuli.

D/ASP Andrew Ainembabazi yatwaliddwa okukulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi e Ntebe, D/ASP Prossy Namukasa yatwaliddwa okukulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi e Lugazi, D/ASP Isaac Ssembera yaggyiddwa ku poliisi ya Old Kampala n’atwalibwa ku kitebe e Kibuli, D/ASP Halima Namatovu yasindikiddwa ku poliisi ya Jinja Road , D/ASP Abdul Nasser Mulamira kati y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi ya Old Kampala n’abalala. Enkyukakyuka zaatandikiddewo okukola.

BALI MU KUNOONYEREZA OKUPYA

Ku musango gwa Kaweesi, omwogezi Kayima yagambye nti, okunoonyereza okupya kwe baddamu okukola kugenda bulungi era ekiseera bwe kinaaba kituuse bajja kutegeeza eggwanga.

Ye dayirekita w’ekitongole kya ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yagambye nti, baasalawo okuddamu okukola okunoonyereza okupya nga bakolera wamu ng’ebitongole byonna okukakasa nga batuuka ku kinyusi kyennyini mu musango guno.

Yagambye nti, okunoonyereza okwasooka poliisi ye yakuli mu mitambo, n’abasibe bonna abali mu kkooti ye yabakwata n’ebavunaana wabula baakiraba nga kyamugaso okuddamu okunoonyereza nga bakolera wamu nga ISO, CMI ne poliisi era waliwo abantu abapya be baakutte mu musango guno.

Okuva omusango lwe gwagenda mu kkooti e Nakawa, mu maaso g’omulamuzi Noah Ssajjabbi abasibe bazze bagwegaana nga balaga n’enkovu ezaabatuusibwako ekyawaliriza n’okuwa ekiragiro okubaliyirira obukadde 80 buli muntu nga Gavumenti y’erina okuzisasula.

Abamu ku bantu abazze bakwatibwa okuli n’omusajja amanyiddwa nga Benzi, bonna baayimbulwa; aba famire ya Kaweesi kye bagamba nti tekiwa ssuubi mu musango guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Jjumba ne bannaddiini  nga basabira omwoyo gwa Ssaabasumba.

Omusumba w'e Masaka Jjumba...

Omusumba w'e Masaka Severus Jjumba y'akulembeddemu mmisa y'okusiibula Ssaabasumba w'Essaza ekkulu erya Kampala,...

Khalid Al Amer nga yaakatuuka.

Omuwalabu asinga 'okwemulis...

Munnansi wa Buwalabu Khalid Al Ameri ng' ono amanyidwa nnyo okukozesa emikutu gy'omutimbagano okulaga abantu by'akola...

Abantu nga bakaaba e Namugongo.

Emiranga ng'abantu bakuba e...

Emiranga ng'abantu bakuba eriiso evvannyuma ku mubiri g'omwagalawa waabwe Ssaabasumba D.r Cyprian Kizito Lwanga ...

Muwonge (ku ddyo nga bw'afaanana) ng'abuusizza ddigi.

Mutabani wa Super Lady alaz...

FILBERT Muwonge, ng'ono mutabani wa kyampiyoni w'emmotoka z'empaka owa 2011 ne 2018, afuludde banne mu ddigi z'empaka....

Ebyana nga binyumirwa obulamu e Kamwokya.

Ebbaala zigyemye ne ziggula...

EBBAALA zeewaggudde ku mateeka agaayisibwa poliisi ku kutegeka ebivvulu ku lunaku lw'Amazuukira. Ekivvulu ekyamaanyi,...