TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Walukagga yeekyusizza ku by'okumukebera omusaayi

Walukagga yeekyusizza ku by'okumukebera omusaayi

Added 24th April 2018

OMUYIMBI Mathias Walukagga yeekyusizza; agaanyi eby’okumukebera omusaayi n’omwana gwe bamulumiriza okuzaala mu hawusigaalo!

Namugerwa ne Walukagga

Namugerwa ne Walukagga

Wiiki ewedde Walukagga yagambye nti mwetegefu okugenda babakebere endaga butonde (DNA) nti era alindiridde lunaku lwe bagenda, ssaayansi asalewo eggoye.

Yagamba nti eky’okukebera omusaayi akyagala kubanga kigenda kwanika obulimba bw’eyali hawusigaalo we Aisha Namugerwa.

Namugerwa agamba nti yali akola obwayaaya ewa Walukagga e Maya mu 2015, nga mukyala wa Walukagga ayitibwa Mariam taliiwo nti era gwe mukisa Walukagga gwe yakozesa okukkakkana nti ng’afunyisizza Namugerwa olubuto.

Mariam bwe yakomawo mu maka, ga Walukagga kwe kugamba Namugerwa adde e Kasambya mu Mubende kubanga tebajja kukwatagana ne Mariam era n’asuubiza okubaweereza obuyambi mu kyalo.

Wadde Walukagga yabadde akkirizza eby’okukeberwa omusaayi, abakungu mu Minisitule y’abaana n’abavubuka nga bakolera ku biragiro bya Minisita Nakiwala Kiyingi baabadde baawandiikidde dda kkooti nga baagala ebawe ekiragiro ekiggya omusaayi ku Walukagga.

Eggulo Walukagga yeekyusizza n’ategeeza Bukedde nti oluvannyuma lw’okwetegereza ebigenda mu maaso tasuubira mazima mu bigenda kuva mu musaayi, kwe kusalawo abiveemu.

“Ebigenda mu maaso kalinga kalulu ng’omutegesi y’alondesa n’okulangirira omuwanguzi era ng’omuwanguzi bamumanyi, kati mu mbeera ng’eno ddala ‘Kiggundu’ omusuubira kulangirira ki?” Walukagga bwe yabuuzizza.

Yayongeddeko nti, Olw’okuba nkizudde ng’ekizibu kya famire ya Ashia kya nsimbi, nzikkirizza ng’enda kulabirira omwana waabwe okufaananako n’abaana abalala be ndabirira abatali bange naye nga sigenze mw’ebyo eby’obulimba ebigendereddwaamu okwonoona erinnya lyange,” Walukagga bwe yagambye.

Bwe yabuuziddwa oba okusalawo bwati; tekiraga nti yalina enkolagana ey’enjawulo ne Namugerwa, awo n’ayanukula nti: “Ne Aisha akimanyi nti omwana si wange naye olw’okuba nze ng’omuntu nkimanyi Gavumenti tenjagala kubanga sigiwagira ate nga Gavumenti (minisita) y’ekirimu ngudde mu lukwe olupangiddwa okunsuula nga beerimbika mu nsonga z’omwana ono.

Leka ndabirire omwana wa Gavumenti mu maaso eyo bwe ndifuna ssente omwana ndimutwala ku musaayi e South Afrika oba mu Amerika era ndibabuulira ebituufu ebiriba bivuddemu naye sisobola kukkiriza kunkeberera wano nga Gavumenti y’ekirimu.”

Ku Ssande bwe yabadde ku Bukedde ttivvi ku pulogulaamu ya Aga wiiki, minisita Nakiwala yazzeemu okukikkaatiriza nti mu kulondoola ensonga eno bagenda kukebera Walukagga n’omwana gw’agamba nti tamuzaala era abantu abalala aboogerwako okuli; Twaha Mawanda omuzinyi mu kibiina kya Walukagga baakubalowoozaako luvannyuma kubanga maama w’omwana ayogera erinnya limu – Walukagga!

Omwana ono mulenzi wa mwaka gumu n’emyezi 10 era mu kiseera kino akuumibwa mu kifo ekimu e Naggulu ne maama we nga balindiridde okugenda ku musaayi.

Omuwala agamba nti bwe yali yakazaala yasooka kubuulira Walukagga nti azadde omwana era n’amuweereza ssente omwana amukube ekifaananyi.

Agamba nti kyamubuukako Walukagga bwe yamutegeeza nti bw’atunuulidde omwana akizudde nti si wuwe kubanga ye Walukagga tazaala baana ba mitwe minene nga ogw’omwana ono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Kizito Lwanga (ku ddyo) Omusumba Kakooza ne Ssekamanya ( ku kkono) nga baganzika ekimuli ku kifaananyi  ky'omugenzi mu Lutikko e Lubaga.

Paapa akungubagidde Omusumb...

PAAPA Francis akungubagidde Bishop John Baptist Kaggwa n'amwogerako nga munnaddiini abadde tasangika. Paapa yagambye...

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde bamugobye ewa Bob...

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo,...

Titus Ssematimba eyateebedde Buddu (mu ddyo) ng’atwala omupiira ku muzannyi wa Bulemeezi.

Abaamasaza batolotoomye lwa...

Fayinolo y'Amasaza Gomba - Buddu Egyazannyiddwa ku semi; Busiro 0(4)-0(5) Gomba Bulemeezi 0-1 Buddu OBWAKABAKA...

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

'Kye kiseera okwesiga Bobos...

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu....

Omusumba Joseph Tumusiime owa The heaven's gate Church of All Nations

Wuuno nnabbi eyalagula Trum...

Omusumba owa The heaven's gate Church of All Nationa avuddeyo n'akakasa okulagula kwe ku eyabadde omukulembeze...