TOP

Baazizza omuzikiti ne bagwa ku byama

Added 2nd May 2018

EBITONGOLE byokwerinda eby’enjawulo baliko obujulizi bwe baguddeko mu muzikiti gw’omu Kisenyi nga biraga ebyama n’engeri abakulembeze gye babadde basensedde ebitundu bya Uganda eby’enjawulo gye ababadde bafuna abaana okubayingiza mu kabinja kaabwe akayitibwa ‘Khawarij’ Abakulumbeze b’omuzikiti ogwo babadde balina enkolagana ey’ekyama n’akabinja ak’Abasiraamu ab’omutawaana abatamanyi na Batabbuliiki mu bukambwe nga kalina ensibuko mu Syria, Iraq ne Iran mu kiwayi ky’Abasiraami Abashiya.

 Awaabadde omuzikiti mu Kisenyi.

Awaabadde omuzikiti mu Kisenyi.

Ebizuuliddwa birala nti abakulembeze babadde balina engeri gye bayigga abaana abato abali wansi w’emyaka 15 okubayingiza mu kabinja era eggulo abantu abalala baavuddeyo nga banoonya abaana baabwe n’okutuusa kati abatamanyiddwaako mayitire.

Abaana abatamanyiddwaako mayitire kati basoba mu 40 kyokka poliisi yateezezza nti abamu ku baana bayinza okubeera mw’abo abaana 94 abasangibwa mu muzikiti lwe baabazinda ku Lwakutaano ekiro.

‘ABAKULEMBEZE BABADDE BATEMU’

Obujulizi obulala poliisi bwe yaguddeko bulaga nti, abakulembeze b’omuzikiti guno balina akakwate ku by’okutemulwa kwa Susan Magara. Poliisi yayongedde okuleeta abamu ku bantu be yakwatira mu muzikiti ku Lwokutaano ne bongera okubaggyamu ebyama.

Ensonda zaategeezezza nti waliwo omuvubuka eyakwatiddwa ayitibwa Yakubu agambibwa okuba nga ye yali mu katambi akaaweerezebwa abaawamba Magara eri bazadde be.

Eddoboozi erimu lyali libalagirira okusanga ekiveera omwali engalo za Magara e Namasuba okumpi n’essundiro lya mafuta erya Hass.

Eddoboozi lya Yakubu kyategeerekese nti, era lye liwulirwa mu katambi ng’ateesa ne bazadde ba Magara ku bya ssente.

Yakubu abadde asaalira mu muzikiti ogwamenyeddwa era nga Munyoro, wadde nga mu kiseera kino yali yasalawo kukozesa mannya ga Kisiraamu gokka, nga bw’ebadde embuulira ya kabinja kano mw’akkiririza.

Ebimu ku byama bye baasobodde okuggya mu Yukubu kwe kukkiriza nti n’obukadde 700 ezaabaweerezebwa bazadde ba Magara bamuyimbule baazigabanira mu kifo kino kyennyini.

Ekimu ku kyabaleese baayagadde n’okufuna ezimu ku ndagaano z’ettaka lye bazze bagula mu bitundu bya Kampala ne Wakiso. Bwe baafuna ssente baasalawo okuzigulamu ettaka era babadde baguze eriwerako.

Musa Muleme, ssentebe wa LC owa Luzige Zooni awaamenyeddwa omuzikiti yagambye nti wadde ng’abeebyokwerinda baamuyise ne babeerako n’ebipapula bye bamulaga bye baggyeeyo kyokka yagaanyi okuteekako omukono kuba baamuyise nga bamaze dda okwaza.

Yagambye nti ekitundu kikyali ku bunkenke olw’abaserikale abangi abaazinze ekitundu.

Emilian Kayima, omwogezi wa poliisi mu ggwanga yagumizza abehhanda za bantu abaakwatiddwa naddala abakyala n’abaana nti basigale nga bakakkamu, kuba abaakwatiddwa bakyalina bye babaggyamu n’oluvannyuma bakomezebwewo mu famire zaabwe.

Bwe yabuuziddwa ku mannya g’abantu ababiri poliisi beegamba nti battibwa mu kiro ky’Olwokutaano lwe baalumba omuzikiti, yagambye nti bajja kuboogera mu kiseera ekituufu.

Yagambye nti ne mirambo gyennyini gikyali mu mikono gya poliisi okutuuza ng’okubuuliriza kuwedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.