TOP

Abazadde temukambuwalira baana bammwe - Dr Muyingo

Added 8th May 2018

MINISITA omubeezi avunaanyizibwa ku matendekero aga waggulu Dr. JC Muyingo asabye abazadde beewale okukambuwalira abaana baabwe nga basobezza wabula batuule nabo bateese ku nsonga ez'enjawulo lwe bajja okubafunamu.

 Dr. JC Muyingo ng'akwasa ssente w'abavubuka e Bamunaanika pikipiki gye yamugulidde akunge banne beekulaakulanye

Dr. JC Muyingo ng'akwasa ssente w'abavubuka e Bamunaanika pikipiki gye yamugulidde akunge banne beekulaakulanye

Bya Samuel Kanyike      

"Eby'okukambuwalira abaana byali byadda era abazadde abali mu luwummula mbasaba bwe mubeera munafuna mu baana bammwe mufuneyo akadde kempita "quality time" munyumemu nabo bababuulire ebibasoomoza mubisalire wamu amagezi era ebiseera by'omwenge n'ebirala mubikendeeze", bwe yagambye.

Yategeezezza nti abaana bangi badduka awaka ne badda ku nguudo lwa bakadde baabwe kubakambuwalira ne batabawa mukisa kwogera nabo. 

Yasinzidde Vvumba mu ggombolola y'e Kalagala mu Luweero gye yasisinkanidde abayizi b'aweerera ne bakadde baabwe n'abasaba okubeera eky'okulabirako mu mpisa n'okukola emirimu ssaako okukola ebikolwa by'ekisa eri abalala naddala mu biseera bino eby'oluwummula. 

Ku mukolo guno, Minisita Muyingo yagabidde ebibiina by'abakyala ebyalaani, ssentebe w'abavubuka mu ssaza n'amukwasa pikipiki okulambula emirimu gy'abavubuka n'agamba nti gavumenti etaddewo enkola ya "skilling Uganda" mw'egenda okuyita okuyiwa ssente mu baana abatali mu masomero nga baliko emirimu gye bakola omuli okutunga, okubajja, okufumba, kutunga okulima n'ebirala balwanyise obwavu n'abasaba okwekolamu ebibiina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba NRM e Wakiso baagala Mu...

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti...

Abazinyi nga basanyusa abantu.

Kibadde kijobi nga Fr. Kyak...

EMBUUTU zibuutikidde ekifo ekisanyukirwamu ekya John Bosco Ssologgumba e Lukaya mu Kalungu. Zino zipangisiddwa...

Bannyabo

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde ...

▶️ BANNYABO:Lwaki abazadde batugobya abaami baffe?

Akeezimbira

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto en...

▶️ AKEEZIMBIRA; Enkokoto entuufu gy'osaanidde okuyiwa ku kizimbe.

Bannyabo; Nakazinga ng'annyonnyola

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe b...

▶️ BANNYABO; Abazadde bwe bakugaana omwami weeyisa otya?