TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Poliisi eggalidde yaaya eyabbye omwana wa bakama be n'amusiba bba gwe yalimba abalongo

Poliisi eggalidde yaaya eyabbye omwana wa bakama be n'amusiba bba gwe yalimba abalongo

Added 8th May 2018

Abazadde b’omwana ow’emyezi omukaaga eyabbibwa yaaya mu maka ga bakamaabe ku Lwomukaaga baabugaanye essanyu nga poliisi ebaddiza omwana waabwe ku Mmande.

 Nalwanga ne bba Lubega nga bali mu ssanyu oluvannyuma lw’okubadduza omwana waabwe. EBIFAANANYI BYA HENRY NSUBUGA

Nalwanga ne bba Lubega nga bali mu ssanyu oluvannyuma lw’okubadduza omwana waabwe. EBIFAANANYI BYA HENRY NSUBUGA

Kino kyaddiridde Poliisi y’e Mukono okukwata n’eggalira yaaya Shakira Babirye (24) ng’avunaanibwa kubba mwana, Victoria Nakanwagi ow’emyezi 6.

Kigambibwa nti Babirye eyali yaakafuna omulimu ogw’obwayaaya okumala ennaku 4 zokka mu maka ga Andrew Lubega omusomesa mu Kampala yunivasite ne Catherine Nalwanga, abatuuze ku kyalo Namwezi mu divizoni y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono nga yakola olukujjukujju n’ababbako omwana bwe yali alekeddwa ewaka nga bakama be bagenze okukola ku Lwomukaaga.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti Babirye yagguddwako omusango gw’okubba omwana ku poliisi y’e Mukono nga guli ku fayiro nnamba SD36/6/5/2018.

Nalwanga ne bba Lubega ne ssanyu bwe baabadde bafuna omwana waabwe okuva ku wa poliisi, Harriet Kisakye e Mukono.

Owoyesigyire yagambye nti poliisi yafunye obujulizi bwonna obuluma Babirye ku musango gw’okubba omwana era ssaawa yonna agenda kutwalibwa mu kkooti avunaanibwe.

Babirye okukwatibwa kyaddiridde okutwalira omwana ono bba Wilson Tumusiime akola ogw’okuvuga bodaboda e Wantoni mu munisipaali y’e Mukono kyokka ng’ono yamugamba nti yali yamuzaalira balongo.

Tumusiime yagambye nti yawaliriziddwa okutwala Babirye ku poliisi y’e Mukono bwe yamutwalidde omwana omu n’amugamba nti omulongo omulala waliwo Omuyindi gye yasooka okufumbirwa eyamumuwambyeko.

Babirye eyabbye omwana wa bakamaabe.

Ono yategeezezza poliisi nti ye abaana be balina emyezi 2 sso si myezi 6 ng’omwana Babirye gwe yabadde amuwadde.

Owoyesigyire yalabudde abazadde okufaayo ennyo eri abantu be balekera abaana ewaka nga bagenze okukola okwewala embeera eyinza okuviirako abaana okubbibwa.

Nalwanga nga ye maama w’omwana yagambye nti omukozi ono yabafunirwa omuvuzi wa bodaboda e Nakifuma ng’ono era yali aliko mugandawe gwe yafunira omukozi nga nakati akyaliyo akola bulungi era y'ensonga lwaki n’ono baamwesiga.

Babirye ng’asitudde omwana gwe yabadde abbye.

Ye Tumusiime asabye poliisi emuyambeko Babirye ayogere gye yateeka abaana balongo be yamuzaalamu emyezi 2 egiyise kuba yagenda ne mu ddwaliro e Jinja gye yazaalira n’abalaba n’asasula n’emitwalo 35 ez’eddwaliro.

Wabula yagambye nti mu kumuleetera omwana omu, Babirye yamugambye nti omulongo omulala yawambibwa eyali muganzi we Omuyindi gwe yasooka okufumbirwa nga tannagenda wa Tumusiime.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...