TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • MAGARA: Poliisi enoonya omuyizi w'e Makerere n'abalala babiri

MAGARA: Poliisi enoonya omuyizi w'e Makerere n'abalala babiri

Added 9th May 2018

POLIISI efulumizza ebifaananyi by’abasajja b’eyigga nga bagambibwa okukuliramu olukwe okuwamba n’okutta omuwala Suzan Magara omulambo gwe ne bagusuula e Kitiko okumpi n’e Kigo.

Abasajja abanoonyezebwa kuliko, Yakubu Byansi eyeeyita Ausi nga mutuuze w’e Kibuye II mu Lwanga Zooni ne Abdul Hakim Lugoloobi mutuuze w’e Katikamu mu Luweero nga bano poliisi yabafunyeeko obujulizi obubaluma mu kwenyigira mu kutta Suzan Magara.

Mu balala abanoonyezebwa kuliko, omuyizi wa yunivasite e Makerere Musa Abaasi asoma obusawo ng’ali mu mwaka gwakubiri.

Ono y’agambibwa okusalako Magara obugalo n'okumukuba ekiyiso oluvannyuma ne bamusiba ekiveera ku mutwe n’afa ekiziyiro.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Patrick Onyango yagambye nti poliisi mu kunoonyereza kwe yakoze yakizudde nga Byansi ye yakuliramu okutta Suzan ng’ali wamu ne Lugoloobi era bonna balina akakwate ku muzikiti gw’omu Kisenyi okumpi ne USAFI ogwazindiddwa Poliisi n’amagye ne bakwata abakulembeze baagwo n’okununula abakazi n’abaana abaali bawambibwa.

“Tulina abasajja be tunoonya nga bano beenyigira mu kutta Suzan Magara,… abalabako oba alina amawulire agabakwatako atuukirire poliisi emuli okumpi basobole okukwatibwa mu musango gw’okuwamba n’okutta omuntu,” Onyango bwe yategeezezza mu lukuηηaana lwa Bannamawulire ku CPS.

Yagambye nti Byansi poliisi yakizudde nga singa kubeera ku luguudo lwa Queens Way era nga atambulira ku bodaboda ng’ali wamu ne Lugoloobi okugezaako okubuzaabuza ababalondoola era nga bano be baakuliramu omuwamba Suzan Magara nga balina omuntu eyabakwasa omulimu naye nga poliisi emunoonya.

Yategeezezza nti, oluvannyuma lw’okukwata abantu ab’enjawulo mu kunoonyereza okuzuula abatemu n’abaali ku lukwe lw’okuwamba n’okutta Magara, poliisi yabasunsuddemu nga kati esigazza abantu 10 b’enoonyerezaako okuli n’omuvubuka Patrick Agaba mu kiseera kino ali e South Afrika nga poliisi egezaako okumukomyaawo avunaanibwe.

Mu kunoonyereza poliisi kwe yakoze yasobodde okuzuula mmotoka ez’enjawulo ezigambibwa nti abazigu abatta Magara mwe baamutambuliza oluvannyuma ne bamutta.

Abamu ku baakwatibwa ku ttemu lino poliisi yabatwala mu bitundu eby’enjawulo omuli e Nakawuka, Bulenga Lungujja, ng’egezaako okukuηηanya obujulizi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...