TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • ETTIMA: Abatemu basse omuwala wa YMCA ng'abazadde bawulira ku ssimu: Aba famire balumiriza Paasita

ETTIMA: Abatemu basse omuwala wa YMCA ng'abazadde bawulira ku ssimu: Aba famire balumiriza Paasita

Added 10th May 2018

Omuwala yalaajannye nti, “Taata abasajja basazeewo okunzita era tebagenda kundeka era mweraba…", yabadde akyayogera omutemu n’amulagira asabe essaala esembayo era wano ebyaddiridde abazadde tebasobola kubinyumya! Omulambo gwasangiddwa nga gusaliddwaako ebbeere, olulimi n’eriiso erimu nga liggyiddwaamu.

 Omulambo gwa Nalule (mu katono) nga guteekebwa ku takisi okutwalibwa e Kayunga okuziikibwa.

Omulambo gwa Nalule (mu katono) nga guteekebwa ku takisi okutwalibwa e Kayunga okuziikibwa.

ETTIMA n’obukambwe ebyakozeseddwa abasse omuyizi wa YMCA biwuniikiriza ne bireeta essungu ate n’okutya ku kiki ekituuse mu nsi ne gy’eraga. Baatadde omuwala ku ssimu ne bakubira bazadde be ne bamulagira abasiibule era asabe essaala esembayo ne balyoka bamutta nga bawulira.

Omuwala yalaajannye nti, “Taata abasajja basazeewo okunzita era tebagenda kundeka era mweraba…", yabadde akyayogera omutemu n’amulagira asabe essaala esembayo era wano ebyaddiridde abazadde tebasobola kubinyumya!

Omulambo gwasangiddwa nga gusaliddwaako ebbeere, olulimi n’eriiso erimu nga liggyiddwaamu.

Edrina Nalule 18, muwala wa Godfrey Kabuye ne Farida Nassali abatuuze b’e Nakibizzi mu Munisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe.

Yawambiddwa ku Ssande ekiro bwe yabadde addayo ku ttendekero lya YMCA ku ttabi ly’e Buwambo gy’abadde asoma kkoosi y’okusiiga ebifaananyi n’okutunga.

Kitaawe alumiriza Paasita w’omu kitundu kino nti yabadde mu lukwe lw’okutta muwala we oluvannyuma lw’okukola ekivve ky’okuganza omwana ne nnyina era n’atabula amaka ge mu ngeri etegambika.

Kabuye kitaawe wa Nalule agamba nti, ku ssaawa nga 7:00 ez’ekiro ku Ssande, Wambazu yakonkonye mu maka ge era olwamuggulidde n’abategeeza nga muwala waabwe Briana Nalule bwe yabadde awambiddwa nga n’abamuwambye basaba ensimbi obukadde 10 okumuyimbula.

“Waayise akaseera katono, omuntu n’ankubira essimu ng’akozesa ennamba ya muwala wange ne mpulira muwala wange ng’akaaba, alaajana ng’agamba nti, "taata munnyambe bagenda kunzita, abasajja bankutte munnyambe", Kabuye bwe yategeezezza.

Abasajja bano baayongedde okusaba ensimbi era Kabuye n’abategeeza nga bw’ayinza okufuna ensimbi wabula nga tamanyi wa waakuzitwala.

Omuduumizi wa poliisi y'e Njeru SP Christopher Ruhunde ne maama w'omugenzi Faridah Nassali.

Baggyeeko essimu ne baddamu okumukubira ku ssaawa nga 10:00 ez’ekiro ne bamuwa muwala we n’amutegeeza ng’abasajja bwe bamaze okumusiba emiguwa era nga balina n’ebiso eby’okumusala kale nga ky’alina okukola kwe kusindika ensimbi bamute.

Abazadde baadedderezza abatemu okutuusa ku ssaawa nga 4:00 ez’oku makya okutuusa lwe baasazeewo okutta omwana nga nabo bawulira omulambo ne bagusuula e Lubaga.

Omulambo gwe gwazuuliddwa ku Mmande mu Kabaawo zooni e Mutundwe mu Munisupaali y’e Lubaga nga gusibiddwa emiguwa ku mikono n’amagulu.

Ssaalongo Yahaya Bugembe, kojja w’omugenzi yagambye nti, bwe baatuusizza omulambo awaka ku Lwokubiri ekiro, nga bagenda okugunaaza kyabakubye encukwe bwe baakizudde nti, yabadde asaliddwaamu olulimi, ebbeere n’eriiso erimu nga lyatunguddwaamu.

Okusinziira ku booluganda lwe, yava ku ssomero gy’abadde yaakamala wiiki emu yokka ku Lwomukaaga ng’agambye nnyina Farida Nassali ow’e Nakibizzi mu ggombolola y’e Njeru mu Buikwe nti, yabadde alina mukwano gwe gwe yabadde agenda okulaba e Iganga.

Abubaker Kabugo kojja wa Nalule yagambye nti, nnyina yamubuuza engeri gye yabadde afunye emikwano amangu ku ssomero gye yabadde yaakamala wiiki emu yokka n’atafuna kuddibwamu kumatiza.

Ono agamba nti, ku Ssande akawungeezi, Nalule yayitidde waabwe n’asiibula nnyina n’addayo ku ssomero. Yagasseeko nti, yatuuka mu kibuga ng’emmotoka ziweddeyo n’akubira nnyina essimu n’amugamba nti emmotoka ziweddeyo wabula afunye omuzirakisa amuyambeko okumufunira entambula ku Mini Price.

Paasita Leonad Wambazu ow'ekkanisa ya House of God's Fire Ministries International esangibwa e Namwezi, Mbikko eyakwatiddwa

ABATEMU BAASABYE OBUKADDE

100 Ku ssaawa nga 7:00 ez’ekiro, omusumba w’ekkanisa eri ku kyalo kye kimu, Leonad Wambazu yakonkona bazadde ba Nalule ng’abategeeza nti, muwala waabwe yabadde awambiddwa abamuwambye baagala ssente obukadde 100.

Mu kiro nga ziyingira ssaawa 8:00, aba famire abali mu Kampala baayanguye okugenda ku CPS ne baggulawo omusango gw’okuwambibwa kw’omuntu waabwe ku fayiro SD 02/07/05/2018 omuyiggo ne gutandika.

Okusinziira ku nsonda mu Flying Squad, abaabadde banoonya Nalule essimu ye yabadde eraga nti, abamulina bali mu Ppaaka Enkadde wabula nga tebasobola kutegeera kafo kennyini era yabeera naye ekiro kiramba mu ppaaka.

Omuwambi bwe yalabye famire ssente zigikaluubiridde, kwe kubategeeza nti, ‘kale mbasaliddeko mutuwe obukadde 10’.

Ku Mmande, omuwambi yayongedde okukanda famire ssente. Mu katambi famire ke yatadde ku mikutu gya yintanweti ng’omuwambi asaba ssente, omusajja ayogera Oluganda olw’ebitege yabategeezezza nti, bakoze ensobi nnyingi mu nsonga eno.

Yabagambye nti, baabadde baamusabye ennamba n’agibawa kwe balina okuteeka ssente kyokka bali mu muzannyo n’ategeeza Ssaalongo Saleh Kizito kitaawe wa Nalule omuto gwe yabadde ayogera naye nti, essimu agenda kugiggyako.

“Kati mulinawo ssente mmeka” n’amuddamu nti, ‘tubadde tukuhhaanyizzaawo kakadde’ n’agamba nti ‘awo kati tukireke bwe ziwera essaawa nnya bwe ziti essimu hhenda kuziggyako muzireke temumpa ssente zammwe”. Omuwambi bw'agamba mu katambi.

Ekkanisa Hya ouse of God's Fire Ministries International ey'omusumba eyakwatiddwa. Esangibwa e Namwezi, Mbikko.

Ono awulikika ng’agamba nti, ‘omwana ali mu bulumi ebbugumu limuli bubi we twamusibidde talina w’assiza’.

Mu katambi omusajja awulikika ng’agamba nti, ‘omumanyi amafuta ge nvuze omwana muzunza muzunza, abantu abaamusazeeko omanyi ssente ze nabawadde? Mukola ensobi nnyingi mukolagana ne poliisi kati kambalage nti nze sikola 'loosi’.

Wano we yagambidde omuwala okusiibula bazadde be era asabe essaala esemba, omwana yalaajanye era n’akakasa abazadde nti abasajja basazeewo okumutta era n’abasiibula ate ng’eno omutemu bw’amulagira okusaba essaala esembayo.

Omwana eyabadde akaaba yasirise lumu era n’essimu n’evaako.

ENGERI NALULE GYE BAAMUSSE

Okusinziira ku ssentebe wa Kabaawo zooni e Mutundwe, James Bbosa, omulambo gwazuuliddwa Godfrey Mmande owebyokwerinda mu kitundu eyabadde agenze okunoga doodo era yagusanze gukyabuguma ku ssaawa nga 5:00 ez'oku makya ku Mmande ekiraga nti baabadde baakagusuulawo.

Gwabadde gusibiddwa ebyayi ku mikono n’amagulu. Gwabadde mu kateeteeyi akamyufu wansi n’ekyeru waggulu.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano, Lucas Owoyesigyire, Nalule baamunyodde ensingo.

Owoyesigyire yagasseeko nti, omulambo tebalina kintu kyonna kye baagusanzeeko kigwogerako.

Agamba nti, baali baafunye amawulire ku Ssande ekiro ng’aba famire bagguddewo omusango gw’omuntu waabwe eyawambiddwa.

Yagasseeko nti, omulambo gwazuuliddwa ne gutwalibwa e Mulago era balina entandikwa ennungi mu kunoonyereza kwabwe.

Bbosa yagambye nti, we baasudde omulambo gwa Nalule, mu mwezi gumu emabega baasangawo omulambo gw’omusajja eyali omuvuzi wa bodaboda nga bamufumisefumise ebiso ku mutwe.

 Godfrey Kabuye, kitaawe wa Nalule amulumiriza Paasita okuba mu lukwe lw'okutta muwala we

ABA FAMIRE BALUMIRIZA OMUSUMBA

Ronald Wambazu 30, ye yasoose okutegeera nti, omwana awambiddwa. Famire kye yeebuuza lwaki ye yasoose okumanya atali waaluganda lwe.

Wambazu ye musumba wa House of God’s Fire Ministries e Nakibizzi.

Godfrey Kabuye, kitaawe wa Nalule amulumiriza nti yali yamutabulira dda amaka nga yezza omukyala ate n’omwana abadde amwagala.

Agamba nti y’abadde awa n’amateeka awaka. Frank Ddungu mwannyina wa Nalule yategeezezza nti, waliwo omuntu eyasendasenda Nalule okuva ku ssomero nga ye yamuwa ne ssente z’entambula ze yakozesa.

Wabula Wambazu yagambye nti, Nalule yamukubira essimu ng’amutegeeza nti alina we yabadde alagako wabula talina ssente za ntambula.

Agattako nti, yasalawo okumuweereza 11,000/- ku ssimu bwe yava gye yali alaze, yayitira wuwe era gye yasula ekiro ekyo enkeera n’agenda ewa nnyina.

Yagambye nti, Nalule baasoma naye ku Nakibizzi SS, ye Wambazu yali amaliriza S6 nga Nalule ali mu S1.

Agamba nti babadde n’enkolagana era abadde alina essuubi nti gye bujja ayinza okumuwasa.

Yagasseeko nti, bwe yamusiibula nti azzeeyo ku ssomero, ekiro yamukubira essimu n’amutegeeza nti, asanze emmotoka ziweddeyo wabula afunye omuzirakisa akola mu UTODA agenda kumufunira entambula ku Mini Price.

Yagasseeko nti, yamusaba ayogere n’omusajja gw’ali naye n’amugamba nti, ye muntu wa buvunaanyizibwa akola mu UTODA, alina famire era yali amutwala mu maka ge yeebake anaamufunira entambula enkeera.

Agattako nti, essimu gye yazzeemu okufuna, yabadde amugamba nti omwana awambiddwa baagala ssente kwe kudduka n’akonkona nnyina w’omuwala n’abimugamba.

Ku Lwokubiri omulambo gwaggyiddwa ku ggwanika ne gutwalibwa e Nakibizzi gye gwaggyiddwa ne gutwalibwa ku kyalo e Bunyumya e Kayunga gye yaziikiddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssebaggala omu ku battiddwa

Abasudan ab'emmundu bawamby...

AKABINJA ka bannansi ba South Sudan ababagalidde emmundu bawambye Bannayuganda abavuga loole ezitwalayo amatooke,...

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...