TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Palamenti ewadde gav't ebiragiro ku bagenda ebweru okukuba ekyeyo

Palamenti ewadde gav't ebiragiro ku bagenda ebweru okukuba ekyeyo

Added 10th May 2018

PALAMENTI ewadde gavumenti amagezi okussaawo abakungu abalondoola embeera Bannayuganda abagenda okukuba ekyeyo mwe bakolera naddala mu mawanga g’Abawarabu kimalewo omuze gw’okubatulugunya.

  Minisita w'ekikula ky'abantu Janat Mukwaya

Minisita w'ekikula ky'abantu Janat Mukwaya

Ababaka era bagamba nti gavumenti esaanidde eyanguyeeko okukola endagaano ne gavumenti z’amawanga Bannayuganda gye bakuba ebyeyo naddala e Buwarabu nakyo kikendeeze omuze gw’okubatulugunya.

Omubaka w’e Butambala, Muwanga Kivumbi yategeezezza gye buvuddeko nti waliwo Bannayuganda abeettirayo olw’okutulugunyizibwa n’agamba nti n’abamu ababaka baabasanga batundibwa nga baddu mu butale.

Bannayuganda emitwalo 7 be babalirirwa okuba ku kyeyo. Baweereza mu Uganda obuwumbi 18 buli mwezi. Kkampuni 94 ze zirina olukusa lwa gavumenti olutwala abantu ku kyeyo.

Wadde guli gutyo, Gavumenti yaakakola endagaano n’amawanga abiri gokka okuli; Saudi Arabia ne Yolodaani (Jordan) eziyamba okulaba ng’abakolerayo balondoolwa ne batatulugunyizibwa.

Bino biri mu lipooti y’akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku mbeera z’abantu ekwata ku bajeti ya Minisitule y’ekikula ky’abantu ey’omwaka 2018/19.

Minisita w’ekikula ky’abantu ye Jannat Mukwaya era y’avunaanyizibwa ku nsonga z’abagenda ku kyeyo kyokka ng’asobola okukolagana ne Minisitule y’ensonga z’ebweru okulondoola ebituuka ku bankubakyeyo yonna gye baba bagenze.

Lipooti egamba nti abakuba ekyeyo abatagudde ku bizibu nga batuuse gye bagenze bayambye enkulaakulana ya Uganda era batadde ssente mu by’okuzimba n’okuyamba eng'anda zaabwe wano.

Kyokka ne bagamba nti waliwo obuzibu abamu bwe basangayo omuli okutulugunyizibwa, okulimbibwa nti bagenda kukola mirimu mirungi ne batwalibwa mu bwa ‘hawusigaalo’, okutwalibwa mu buddu, okukakibwa omukwano naddala abakazi n’ebizibu ebirala ebyetaaga okulondoolwa.

Wano ababaka we baasabidde Uganda okussa mu mawanga ago abakungu abalondoola embeera z’abakozi abava wano gye bakolera.

Wamu n’okubonereza amakkampuni agakukusa abantu n’agabatwalayo nga tegalina busobozi bubalondoola wamu. Era ne basaba Minisitule eyaganguye okukola endagaano n’amawanga Bannayuganda gye bagenda ku byeyo.

Enteseganya wakati wa Uganda n’amawanga okuli; UAE, Qatar, Bahrain, Oman, Lebanon ne Kuwait zikyagenda mu maaso era bwe zinaggwa wajja kubaawo okukola endagaano z’okulondoola abakozi abakubayo ekyeyo.

Basabye minisitule y’ekikula ky’abantu okusomesa abantu ebikwata ku kukuba ekyeyo n’okubuulira abantu bonna amakampuni agalina olukusa okutwala abantu ku kyeyo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...