TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba famire y'omuwala eyawambiddwa e Masaka balaajanidde Gavt.

Aba famire y'omuwala eyawambiddwa e Masaka balaajanidde Gavt.

Added 15th May 2018

FAMIRE y’omuwala Rose Nnakisekka eyawambiddwa abatemu basabye gavumenti okubayamba okuzuula omwana waabwe nga mulamu oba nga mufu kubanga bbo bakoze buli ekisoboka omuli n’okwongera abatemu ensimbi endala emitwalo 15 ze baabasalidde ku mitwalo 50 ez’okubawa omulambo kyokka ne buziba ku Mmande ng’omwana waabwe tebannamuzuula.

 Nakisekka

Nakisekka

Fred Kasagga, kitaawe wa Nakisekka yannyonnyodde nti abazigu baakomye okubakubira ssimu essaawa 7 mu ttumbi.

Agamba nti wano baabadde bamaze okubongera emitwalo 15 ze baabasabye nti babasuulire omulambo gwabwe awantu nti kyokka n’okuva olwo tebannaddamu kubategeeza kintu kyonna.

Aba famire bagamba nti okuva lwe baayongedde abatemu bano emitwalo 15, tebakyakwata masimu ekintu ekyongedde okubatiisa naddala embeera y’omwana waabwe gy’alimu.

“Tulinze lwaleero lwokka bwe bunaakya enkya nga tetulinaawo kipya tugenda kwabuka buli omu adde ewuwe okutuusa bwe tuliba tufunye amawulire agaliba gatutegeeza ekiribaawo olwo lwe tulidda ne tuziika”, Kasagga bwe yategeezezza.

Omwogezi wa Poliisi mu Greater Masaka, Lameck Kigozi yagambye nti batandise omuyiggo gw’abatemu abaawambye Nakisekka n’annyonnyola nti kino bakikolera wamu ne Poliisi y’e Kampala omuwala gye baamuwambidde.

“Buli kintu kibaako entandikwa n’enkomerero na bino tulina essuubi nti bijja kuggwa,era buli ekisoboka kikolebwa okulaba ng’abeenyigidde mu bikolwa binobakwatibwa”, bw’akkaatirizza.

Kigozi akubirizza Bannamasaka ne Bannayuganda bonna okutwalira awamu nti okusinziira ku mbeera eriwo mu ggwanga kyetaagisa buli muntu okubeera obulindaala.

Awadde amagezi abatambulira mu mmotoka eza lukale okuzeegendereza ennyo na bantu ki abazituddemu ng’era kyandibadde kirungi ne bazirinnyira mu paaka mwokka.

Kigozi agasseeko nti era bateekwa n’okwekenneenya ennyo ku masimu agabakubirwa nga tebannasalawo kusisinkana babakubidde.

Ate omubaka omukyala owa Kalungu mu Paalamenti Aisha Ssekindi alaze okwennyamira olw’ebikolwa bino okugenda mu maaso n’okussa Bannayuganda ku bunkenke.

“Nnakuwalidde wamu ne kojja wange Kasagga n’abafamire bonna nsaba Allah ayongere okubagumya g’abayisa mu mbeera eno ey’akazigizigi gye batubiddemu,” bwe yagambye.

Ssekindi ayogedde ku bazigu nti balabika bagenze okutandika ebikolwa bino nga baabyetegekera dda nga n’ab’ebitongole b’ebyokwerinda tebakimanyi. Wabula yagumizza abantu nti lujja kukya lumu abazigu bano bagwe mu mikono gya gavumenti bakwatibwe.

Ye omubaka Joseph Ssewungu owa Kalungu West omuli n’ kyalo abazadde abaawambiddwaako omwana kwebabeera , kino akitadde ku bunafu bwa Poliisi.

“Nkyogera ssikirumamu ne mu Palamenti nkyogererayo nti Poliisi esaagidde nnyo mu kuyigga abatemu kuba buli kiseera boogerera ku masimu lwaki tebalondoolwa kukwatibwa?”

Yannyonnyodde nti bonna abazze bawambibwa, amasimu gaabwe gasigala geeyambisibwa ababawambye ne basindikirwako ne ssente kyokka Poliisi basirise busirisi ne batazigoberera okusobola okubafuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...