TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Paasita afunyisizza ow'emyaka 17 olubuto n'alumuggyisaamu

Paasita afunyisizza ow'emyaka 17 olubuto n'alumuggyisaamu

Added 19th May 2018

POLIISI e Lungujja ekutte Paasita Micheal Kayanja ow’ekkanisa ya New Start Healing Center e Lungujja Kitunzi zooni 5 mu munisipaali y’e Lubaga ku bigambibwa nti yafunyisa omuwala atanneetuuka olubuto oluvanyuma n’alumuggyisaamu.

 Kayanja (wakati) ng’atwalibwa.

Kayanja (wakati) ng’atwalibwa.

Kayanja yakwatidwa mu kiro ekyakeesezza Olwokuno nga yasangidwa mu kkanisa ng’ansumba.

Kino kyaddiridde Regina Nalugo nnyina w’omuwala okumulaba ng’atonnya omusaayi. Bwe baamubuuzizza ekyabadde kituuseewo kwe kubategeeza nti yavuddemu lubuto omusumba Kayanja lwe yali yamufunyisa.

Rebecca Nakimbugwe 17 agambibwa nti abadde asoma eby’okufumba mu ttendekero erimu e Nakasero, abadde omu ku bawala abaweereza mu kkanisa ya Kayanja.

Nalugo omutuuze w’e Lungujja Kitunzi yannyonnyodde nti, ng’amaze okulaba embeera y’omwana kwe kutegeezaako munywanyi we Justine Mwesigwa ayogereko ne Nakimbugwe osanga nga ye yabadde ajja kumweyabiza ku kituufu, era ekyafuniddwa.

Oluvannyuma ne Nakimbugwe yannyonnyodde ebyabaddeddewo.

“Olw’okuba nnange ndi mulokole kyokka nga sisaabira mu kkanisa eyo, mbadde nkwatagana n’omusumba era muwala wange nga y’omu ku baweereza mu kkanisa ye.

Ebiseera bingi abadde akomawo awaka kiro nga bwe ngezaako okumunenya, anjuliza musumba nti gwe mba nkubira mmubuuze.”

OMUWALA AYOGEDDE

Omuwala yategeezezza nti:

Omusumba yatandika okunjagala mu 2016 nga nsoma siniya yaakusatu ng’ansuubiza nti ajja kumpasa.

Yantegeeza nti yalinako omukazi eyamwanjula ewaabwe kyokka nti omukazi yali amusinga emyaka n’amugoba nti era bwe yalaba nze nga ndi na muto n’amanya nti nsobola okudda mu kifo ky’oli.

Tubadde tusinkana n’omusumba awaka we era ebiseera ebisinga gye mbadde nsiiba wabula ng’abadde ayagala nnyo nsome era y’ensonga lwaki yanfunira essomero gye mbadde nsomera.

Olubuto lubadde luwezezza emyezi esatu n’ekitundu era ebiwandiiko byonna bye twafuna mu ddwaaliro musumba y’abirina okuva lwe bankebera ne bakizuula nti ndi lubuto.

Lumu bwe nagenda mu ddwaaliro bankuba empiso era nagenda okulaba ng’omusaayi gumpitamu ekyammanyisa nti empiso gye bankuba ye yavaako obuzibu.

SSENTEBE AYOGEDDE

Ssentebe wa LCI Kitunzi Zooni 5, Gerald Mukasa yategeezezza nti omusumba abadde tannaweza myaka esatu ng’atandise ekkanisa mu kitundu kino naye okuva lwe yajja tabadde muntu mwangu kubanga yagaana okugondera amateeka ge twamuwa.

“Nnina ekkanisa z’abalokole satu mu kitundu kino nga twaziragira okuggalangawo essaawa 2:00 ekiro wabula ye nakigaana era abadde aggalawo w’ayagalira ng’ayinza okutuusa ne ssaawa 6:00 ekiro.

Yagasseeko nti n’olumu abawala abasabirayo baayagalako okulwagana nga bamukaayanira.

Kayanja yatwalidda mu ddwaaliro okukeberwa omusaayi okuzuula oba talina kawauka ka siriimu era ng’ebyavuddeyo biri mu mikono gya poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasumba nga banyokeza akabaani okwetoloola mulambo gwa Ssaabasumba

Fr. Ssajjabbi annyonnyodde ...

OMUSUMBA Severus Jjumba bwe yabadde tannatandika Mmisa ya kusabira mwoyo gwa Ssaabasumba Dr. Cyprian Kizito Lwanga...

Kalidinaali Wamala

Kalidinaali Emmanuel Wamala...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala akungubagidde Ssaabasumba Dr.Cyprian Kizito Lwanga eyamuddira mu bigere  n'alaga ennyiike...

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga

Omugenzi Ssaabasumba Lwanga...

ENTEEKATEEKA z'okuziika Ssaabasumba Dr .Cyprian Kizito Lwanga ziwedde, olukiiko oluzikolako bwe lutegeezezza ng'...

Obutebe nga butegekeddwa ku Lutikko e Lubaga awagenda okuziikibwa Ssaabasumba Lwanga (mu katono) enkya.

Enteekateeka z'okuziika Ssa...

ENTEEKATEEKA z'okuwerekera Dr. Cyprian Kizito Lwanga abadde Ssaabasumba w'essaza ekkulu erya Kampala zigenda mu...

Todwong ng'ayogera eri ababaka abalonde olwaleero.

Ababaka abayonsa bagaaniddw...

ABABAKA abayonsa bagaaniddwa okwetaba mu lusirika lw'akabondo ka NRM aka palamenti enkya  e Kyankwanzi, wabula...