TOP

Abantu 300 babakoonedde enju e Mukono

Added 21st May 2018

Abantu abasoba mu 300 tebalina waakusula bawannyondo ba kkooti bwe bakoonye amayumba gaabwe ne babasuulira ebintu wabweru n’okubasaayira emmere.

 Abatuuze nga batunuulira ebintu byabwe ebyakasukiddwa wabweru. Ku kkono ng’omukazi amaziga gamuyitamu.

Abatuuze nga batunuulira ebintu byabwe ebyakasukiddwa wabweru. Ku kkono ng’omukazi amaziga gamuyitamu.

Bino byabadde ku kyalo Kirangira mu ggombolola y’e Nama - Mukono ku Lwokutaano.

Bawannyondo baabadde n’abavubuka abasukka mu 100 nga bakutte amajambiya, ensuululu, ennyondo, embazzi n’emiggo nga bakulembeddwaamu DPC w’e Mukono Henry Abaho n’abakulira poliisi eziriraanyewo nga Paul Kadogo ow’e Seeta abaabadde ne kabangali nnya ezikubyeko abaserikale ng’era agezaako okubawakanya nga bamukuba n’okumukasuka ku kabangali.

Abaakwatiddwa baabatutte ku poliisi y’e Mukono gye baggaliddwa. Kigambibwa nti baabadde bakolera ku biragiro by’omugagga Dick Banoba aludde ng’akola effujjo ku batuuze olw’ettaka.

Abatuuze obwedda bakola bwezizingirire okutaasa ebintu byabwe obutayonoonebwa nga buteerere.

Abalala ebigambo byabaweddeko ne badda mu kukulukusa amaziga n’okutunula. Wabula beemulugunyizza olw’ebintu byabwe ebyabbiddwa bawannyondo omuli n’ensimbi nga poliisi eyaalibadde ebakuuma n’ebintu byabwe ate y’ewa bawannyondo obukuumi okubatulugunya.

Omu ku batuuze yalwanaganye n’abaserikale bano olw’ekiyumba kye omwabadde embizzi ze okwonoonebwa ne bazita ne zigenda.

Amayumba agaasobye mu 30 gaawanguddwaamu enzigi n’amadirisa nga n’amalala bakira abatuuze babalagira baveewo mangu ssinga bagaana baakubayisa mu ngeri y’emu.

Mu mayumba agaayonooneddwa mwabaddemu n’ag’abajaasi ba UPDF olw’ebyambalo n’ensawo ebyafulumiddwa bawannyondo.

Wadde abatuuze nga bakulemberwa ssentebe waabwe, Deogratious Golooba baagezezzaako okwogera ne DPC Abaho nga bagamba nti kino ekyabadde kikolebwa kimenya mateeka teyabawulirizza n’atiisatiisa okubakwata era waliwo be yayisizzaamu empi n’ensambaggere n’abalala ne babakasuka wansi wa kabangali ne baggalirwa.

Ssentebe Golooba yagambye nti kyannaku okulaba nga DPC eyandibadde abakuuma ate ye yakulembeddemu omulimu gw’okwonoona ebintu byabwe n’okumutiisatiisa okumukwata ng’amusaba ekiragiro kya kkooti bawannyondo kwe baabadde beesigamye okumenya n’okwonoona ebintu by’abantu.

Golooba yagambye nti yasaba RDC w’e Mukono, Nasser Munuulo ajje agonjoole ensonga zaabwe n’atakikola ate obwedda bamukubira essimu nga teriiko.

DPC Abaho yategeezezza nti ye ne basajja be baabadde bawa bukuumi bawannyondo ba kkooti abaabadde bateeka mu nkola ekiragiro kya kkooti.

Kigambibwa nti kkooti yasala omusango guno n’ekkiriza Banoba okukozesa ettaka lino mu mwaka gwa 2015 kyokka nga buli bawannyondo lwe babadde bagendayo okumenya ng’abatuuze babalemesa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...