TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bazudde abaana 2 ababadde bawambiddwa: Omu bamuggye Matugga omulala m ppaaka

Bazudde abaana 2 ababadde bawambiddwa: Omu bamuggye Matugga omulala m ppaaka

Added 23rd May 2018

ABAANA babiri abaabadde bawambiddwa bazuuliddwa. Omu yasangiddwa ng’asuuliddwa okumpi n’ekikomera nga bamuzinze mu bigoye.

 Katasi ng’ali ne kitaawe Kalanzi.

Katasi ng’ali ne kitaawe Kalanzi.

Husuna Katasi 4, baamuwambye okuva ku kikomera ky’abazadde be Hariya Nalweyiso ne Hassan Kalanzi e Nakyessanja, Kawanda mu disitulikiti y’e Wakiso bwe yabadde azannya ne banne.

Ate Winfred Atuhairwe, baabadde bamuwambidde mu ppaaka enkadde bwe yabadde ava ewa mukulu we e Ntinda. Omuvubuka Isma Mulondo ye yabadde amuwambye nga yasoose kwefuula amulagirira bbaasi z’e Bushenyi gye zisimba.

Yamuggyeeko essimu kyokka Atuhairwe n’ayanguwa okutegeeza abantu abaabadde okumpi abaayise poliisi n’emukwata ng’omusango guli ku fayiro nnamba SD:03/22/05/2018, ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Omwana Katasi eyabadde azannya, Jovia Nabirye yamuyise amuwerekereko kyokka n’agaana kwe kumulumba ku geeti n’amusikambula n’amutwala.

Abazadde baategedde wayisseewo akabbanga nti omwana waabwe awambiddwa.

NALWEYISO MAAMA WA KATASI ANNYONNYOLA EBYABADDEWO

Essaawa zaabadde 3:00 ez’oku makya, nabadde njoza ngoye Katasi n’agenda okuzannya. Namuyise nga tanziramu, bulijjo bw’agenda okuzannya olumuyita ng’ayanguwa okujja.

Nasituse okulaba ekyabadde kimutuuseeko kyokka bwe nabuuzizza banne ne bantegeeza nga bwe baabadde tebannaba kumulabako. Omutima gwankubye ne mmanya nti omwana wange bamubbye.

Mu mutima tekyabadde kyangu kukkiriza wabula nasazeewo okugeteeza abantu era abatuuze ne batandika okumunoonya n’abamu ne bataayiza mu buli kkubo we basuubira omuntu okuyita.

Baamusan ze mu bigoye Susan Namuyiga yagambye nti; z’abadde ziwera essaawa 12:00 ezaakawungeezi ku Mmande ne tugenda ku poliisi y’e Kawanda okukola sitatimenti y’okubula kw’omwana naye twabadde tukomawo nga tuyitidde ku kkanisa ya St. Dominic Catholic Church e Kawanda ne tulengera enviiri nga zifaanana eza Katasi wabula nga bamuzinze mu leesu n’essuuka ng’enviiri zokka ze ziri ebweru.

Bwe nnamuyise kwe kuyitaba naye ng’omuntu ali n’omwana tetumutegeera.

Twamubuuzizza gye yabadde atwala omwana nga byayogera tebikwatagana.Twamusanze alina omuntu gw’akubira essimu gwe yagambye nti ye yabadde agenda okumunona.

Abatuuze baabadde baagala okukuba omukazi gwe baamusanze naye. Omwana yalumiriza Nabirye gwe baamusanze naye okumuwamba n’agamba nti yagezezzaako okumulemesa kyokka n’amusinza amaanyi.

Nabirye akuumirwa ku poliisi e Kawanda. Poliisi yategeezezza nti Nabirye agenda kugiyamba mu kunoonyereza kwayo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazannya ‘Bizzonto’ nga beegezaamu.

Abazannya komedi wa 'Bizzon...

POLIISI ezzeemu okukwata abasajja abazannya komedi wa ‘Bizzonto’ ne basimbibwa mu kkooti ya Buganda Road gye babasomedde...

Kluthum

Kluthum ayogedde ku katambi...

MUKYALA wa Sheikh Muzaata Batte, Kluthum Nabunnya ayogedde ku katambi akaamutabula ne bba bwe yali ayogera ne ‘hawusibooyi.’...

Bannamateeka ba Kyagulanyi okuli Medard Lubega Sseggona ( ku kkono), Muwanda Nkunnyingi ne Sam Muyizzi.

Kkooti esazeewo ku gwa Kyag...

KKOOTI ekkirizza Kyagulanyi okuggyayo omusango gw’obululu gwe yawaaba wabula abalamuzi baakuwa ensala yaabwe ku...

Siraje Kiyemba Expert ng’alaga ebirabo by’atunda.

Kaadi n'ebirabo byongereko ...

OBADDE okimanyi nti ekirabo ky’otunda okwagaliza omuyizi okukola obulungi ebibuuzo eby’akamalirizo osobola okukyongerako...

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?