TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Abaana bange babasse lwa mpalana ya baliraanwa n'ebyobugagga byange naye Katonda ajja kubasasula'

'Abaana bange babasse lwa mpalana ya baliraanwa n'ebyobugagga byange naye Katonda ajja kubasasula'

Added 24th May 2018

“ABAANA bange babasse lwa mpalana ya baliraanwa n’ebyobugagga byange naye Katonda ajja kubasasula”, Charles Katende, taata wa Israel Namaleega, 4, ne Dircus Nakiwungu ow’emyaka ebiri n’ekitundu bwe yategeezezza abakungubazi abaabadde mu kuziika e Magala mu ggombolola y’e Ssekanyonyi mu disitulikiti y’e Mityana.

 Abaana abatiddwa olumu nga bagenda okuziikibwa.

Abaana abatiddwa olumu nga bagenda okuziikibwa.

Okuziika kwatandise na kusaba okwakulembeddwaamu Rev. Moses Kidambire ow’Obusumba bw’e Ssekanyonyi, eyasabye abantu bulijjo okusooka okwekuba mu mutima nga tebannaba kwenyigira mu bikola nga bino.

Katende era yategezezza nti omutima omulungi gwalina gwe gwamutuusizza ku kino n’ebintu bye yeekoledde mu ntuuyo ze n’asoomooza abantu okumanya be bakolagana nabo mu bulamu kuba abamu bajja n’ebigenderwa ebikyamu. “Bwe nnateeka essomero e Naluvule weegombesa bangi era kino kye kimu ku bireese abaana bange okuttibwa mu ntiisa”, Katende bwe yagasseeko.

Entaana zaasimiddwa mu kifo kimu. Nnyina w’abaana, Nantume yakubye omulanga ng’abaana be babaziika era abantu abaabaddewo ne booza ku munnye nga bamulaba ayaziirana.

Omugenzi Dorcus Nakiwunga ne Israel Namaleego baawambibwa okuva mu maka ga bazadde baabwe ku Lwokutaano emirambo gyabwe ne gisangibwa mu mwala mu kibira e Nalumunye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...