TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmotoka etuze omwana na Nnasale ng'asala ekkubo e Kaliisizo

Mmotoka etuze omwana na Nnasale ng'asala ekkubo e Kaliisizo

Added 5th June 2018

MMOTOKA ebadde ku misinde egya yiriyiri etomedde omwana wa Nursery abadde asala ekkubo ng'ava ku ssomero ne banne abalala abato okudda ewaka n'emuttirawo!

 Abadduukirize nga bali mu ntiisa. Mu katono y'omwana Nalubega eyatomeddwa nga bw'abadde afaanana

Abadduukirize nga bali mu ntiisa. Mu katono y'omwana Nalubega eyatomeddwa nga bw'abadde afaanana

Akabenje kano kaagudde ggulo ku Mmande ku kyalo Ninzi okumpi n'ekibuga Kaliisizo mmotokka Toyota Wish nnamba UAZ 819P bwe yatomedde omwana Lania Nalubega (5) eyabadde asala ekkubo ng'ava ku ssomero lya Calavona Primary School erisangibwa ku kyalo Ninzi e Kaliisizo ate banne abalala be yabadde nabo ne bawonera watono okufa.

Mmotoka eno kigambibwa nti yabadde eva Masaka ng'eyingira Kaliisizo kyokka omugoba waayo ne yeekaanga abaana abaabadde basala oluguudo okukkakkana nga Nalubega mmotoka emutomedde.

Abaddukirize baagezezzaako okuyamba okutwaala omwana mu ddwaaliro e Kaliisizo kyokka tebaasobodde kutaasa bulamu bwe kuba yabadde yamaze dda okufa.

Wabula abamu ku baabaddewo ng'akabenje kano kagwaawo baanenyezza abakulu b'essomero lino olw'obulagajjavu n'obutafaayo ku kuwerekeranga baana abava ewaka okubasaza oluguudo.

Akulira poliisi y'ebidduka e Kyotera Norman Muhanguzi yategeezezaa Bukedde nti mmotoka eyakoze akabenje yakwatiddwa era bakyanoonyereza ku kyavuddeko akabenje kano.

Muhanguzi yalabudde ku masomero agamala gareka abaana abato okwetambuza bokka ne batafaayo kubasaza nguudo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...