
Weasel alumiriza Frank Nakintije ng’ono mukulu wa Moze nti azze aggya ebintu okuli ttiivi, ffi riigi n’ebirala mu nnyumba y’omugenzi e Makindye n’abitwala.
Wabula abooluganda lwa Moze bawakanyiza ebyogerwa Weasel ne bamuddiza omuliro nga bagamba nti alina bizibu bye bye bimutawaanya oba ayagala kwonoona linnya lya famire.
“Moze takolerangako Frank oba bannyina. Twatawaana n’omugenzi era bulijjo abadde agamba nti emmaali ye y’abaana kati simanyi lwaki Frank ate ebintu abitwala mu kifo ky’okubigabanya abaana,’’ Weasel eyabadde ayogeza amaanyi bwe yategeezezza n’agattako okuwera nti mwetegefu okufiirira emmaali y’abaana b’eyali munywanyi we kubanga kati y’aliwo okubalwanirira era ono ayise omuyimbi Lillian Mbabazi ne bannamwandu abalala okusitukiramu balwanirire ebintu by’abaana baabwe.
ABA FAMIRE YA RADIO BOOGEDDE
Meddie Sembajja (owooluganda lwa Moze) eyayogedde ku lwa famire yasoose kwewuunya kigendererwa kya Weasel ng’agamba nti ebigambo by’ayogera ennaku zino n’okuwakula entalo ku famire yaabwe bibasobedde.
“Ono si ye Weasel gwe tubadde tumanyi abadde ‘muganda’ wa Moze.
Yasoose kukola lutalo ku Frank ne bakuba n’emmotoka ye eyayiise endabirwamu zonna ate kati agguddewo lutalo lwa bigambo.
Weasel bwaba nga ddala alina ensonga entuufu oba ensonga yonna emuluma ewa maama e Kagga amanyiyo gy’alina okulaga amutegeeze so si kugenda mu mawulire n’okwogera ebitakwatagana nga bw’akola.”
Sembajja yagasseeko nti “tuli mu kiseera kya kunoonyereza okuzuula ebituufu n’abantu abatta muganda waffe ate Weasel ateekawo lutalo olutuggya ku mulamwa kati simanyi kigenderwa kye?’
Wabula Sembajja yakkiriza nti kituufu waliwo ebintu, Frank bye yaggya mu nju ya Moze kyokka bino teyabitwala wuwe yabitwalira maama w’omugenzi e Kagga okubikozesa okugeza ku ttiivvi ennya yaggyako emu ate ku ffi irigi esatu yagyako emu kuno kwossa entebe n’ebirala era Sembajja agamba nti kino takirabamu buzibu kubanga maama w’omugenzi y’abikozesa.
“Oyo Weasel ayagala kulaga nti afaayo nnyo ku bintu by’omugenzi okusinga baganda be okuli ne Frank abirinako obuvunaanyizibwa.
Weasel wadde yatambulanga ne Radio, alina bingi ku byobugagga bwe by’atamanyi kyokka nga Frank abimanyi nga waliwo ne bye yali aguze nga ssente asasuddeko bitundu,” bwe yagambye.
MAAMA WA RADIO AYISE WEASEL
Nga bino tebinabaawo, Weasel yasoose kutabuka na Frank era wakati mu kugugulana emmotoka ya Frank nnamba UAZ 322W yakubiddwa ne bagiyiwa endabirwamu okuli ey’omu maaso n’emabega ssaako ez’omu madirisa.
Embeera eno n’ebirala biwalirizza Muky. Jane Kasubo (maama w’omugenzi) okuyita Weasel e Kagga okugonjoola ensonga ezigenda mu maaso n’okubaako ebirala bye boogerako mu kifo ky’okwongera okumumenya omutima ng’akyali mu nnaku ya mutabani we.
WEASEL ABAKUBYEMU OLUYIMBA
Mu mbeera egenda mu maaso Weasel alina oluyimba olupya lw’afulumizza olwa ‘God over Evil’ (kirungi okusinga ekibi) era agamba nti wadde ab’oluganda lwa Radio bamwogeredde ebibi bingi omuli abaki- muteekako nti ayagala kubba bintu bya mugenzi (waliwo ebibadde byogerwa nti Weasel ali mu lukwe lwa kusindiikiriza famire ya Radio).
ENJU YA MAAMA WA MOZE EWEDDE
Ng’oggyeko okwerumaluma okugenda mu maaso, Muky. Jane Kasubo essanyu ly’alina lya mwoki wa gonja.
Ennyumba Moze gye yali amuzimbira e Kagga, Omugagga Bryan White yagimalirizza n’okugiyooyoota era agamba nti eno emukendeezezza ku birowoozo n’olumu kati afuna ku tulo.