TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Muka Paasita e Masajja bamuwambye ne basaba obukadde 50 ku mmeeza

Muka Paasita e Masajja bamuwambye ne basaba obukadde 50 ku mmeeza

Added 7th June 2018

ABAZIGU abatannamanyika bawambye muka pasita ne basaba obukadde 50 okumuta. Omukyala gwe bawambye ye Mariam Nkusuubira muka paasita Shadrack Nkusuubira owa Noah Holliness Church esangibwa e Masajja mu ggombolola ya Makindye Ssaabagabo.

 Mariam Nkusuubira muka paasita Shadrack Nkusuubira

Mariam Nkusuubira muka paasita Shadrack Nkusuubira

Mariam yawambiddwa ku Lwokusatu mu biseera eby’olweggulo. Muwala wa Nkusuubira, Evelyn Nkusuubira yategeezezza nti nnyina yavudde awaka ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo n’obukadde bw’ensimbi 20 okugula ettaka mu bitundu by’e Nsangi nti kyokka bw’ataalisiimye, n’agenda alambule ettaka eddala ku lw’e Ntebe.

Evelyn agamba nti waayiseewo ekiseera kitono omusajja n’akuba essimu ng’akozesa eya nnyina yennyini ng’amulagira baweereze ensimbi obukadde 50 mu bwangu nti bwe batakikola, gwe baawambye bajja kumutta.

Omwana yasoose n’abiyita ebya kusaaga omusajja n’addamu n’akuba nga mukambwe olw’okutya n’akubira kitaawe n’amutegeeza ebyabadde biguddewo.

Omuzigu yakozesezza ssimu ya muka paasita nnamba 0706410153.

Oluvannyuma baakizudde nti essimu agikuba asinziira mu bitundu by’e Kawuku ku lw’e Ntebe era baayanguye ne bagenda ku poliisi y’e Kikajjo- Namasuba ne baggulawo omusango gw’okuwamba omuntu.

Kyokka baabadde bakyali ku poliisi abazigu ne baddamu ne bakuba nga bababuuza lwaki babiyingizzaamu poliisi ate ng’ensimbi ze basaba bazirina?

Beetondedde omuzigu era n’abategeeza nti basaana okukimanya nti mugezi nnyo okusinga poliisi gye bakolagana nayo ng’ekisinga kwe kumuwa ssente mu bwangu ze yabadde abasalidde bwe baba baagala omuntu waabwe okuddamu okumulaba nga mulamu.

Ku Lwokuna ekiro abazigu bazzeemu ne bakuba ng’abasaba 500,000/- ez’okuliisa omuntu waabwe nti kino bwe batakikola mu ddaakika 30 tebaddamu okunoonya ssente wabula balinde mulambo gwa muntu waabwe ekyayongedde abooluganda okweraliikirira.

Akulira poliisi y’e Namasuba -Kikajjo, Isaac Tenywa yategeezezza nti bakola butaweera okulaba nga Mariam Nkusuubira eyawambiddwa. bakwata abantu bano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....