TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Buubuno obujulizi bw'abaserikale 2 obutadde Kayihura mu kattu ku by'okutta Kaweesi

Buubuno obujulizi bw'abaserikale 2 obutadde Kayihura mu kattu ku by'okutta Kaweesi

Added 16th June 2018

ABASERIKALE babiri abaakwatibwa ekitongole kya ISO gye buvuddeko be batuusizza amagye okukwataganya obujulizi ku kutemula Andrew Felix Kaweesi nga bwekuusa ku bikonge mu poliisi okutuukira ddala ku Gen. Kale Kayihura.

Kyategeezeddwa nti Abel Kitagenda eyali owa Flying Squad, baasobodde okumukkirizisa nti yali mu lukwe lw’okutta Kaweesi.

Kigambibwa nti Kitagenda yazannya ekifo kinene bwe yakeera ewa Kaweesi ku lunaku lwe yattibwa nga March 17, 2017 n’alabibwa ng’ayogera n’omukuumi ku geeti.

Oluvannyuma yalabibwa ng’alinnya pikipiki n’ayimirira mu kifo wennyini oluvannyuma we battira Kaweesi.

Kigambibwa nti Kitagenda ye yayimiriza emmotoka ya Kaweesi era olw’okuba ddereeva wa Kaweesi, Godfrey Mambewa naye yali mu lukwe yayanguwa okuyimirira olwo abatemu ne bakuba Kaweesi amasasi.

Ensonda zaategeezezza nti omuserikale omulala ye Moses Kasibante kyokka ng’asinga kuyitibwa Kasiba.

Ono yali akulira kunoonyereza mu Flying Squad kyokka Kaweesi n’amugoba mu 2016.

Yatwalibwa okutendekebwa e Masindi, kyokka bwe yavaayo n’asindikibwa okukuuma ku faamu ya Museveni e Kisozi.

Ono yakwatiddwa oluvannyuma lwa Kitagenda okumuwaako obujulizi nti ye yalawuna ebifo Kaweesi mwe yali asuubirwa okubeera. Era bwe bakkaanya okumutta ng’ava ewuwe, kigambibwa nti omuserikale ono yagenda ne yeetegereza oluguudo okuva ewa Kaweesi e Kulambiro okutuuka e Kisaasi. Era ye yasalawo ekifo ekisinga obwangu okuttiramu Kaweesi, era awo wennyini we baamuttira.

Bwe baakutte abo bombi be baatuusizza amagye okukwata boofi isa abalala abagambibwa nti baatuuza enkiiko ez’enjawulo okuteesa okutemula Kaweesi.

Ebyayogeddwa bano bikwatagana n’omusajja ayitibwa Rasta eyasooka okukwatibwa n’ayogera amannya g’abaali mu lukiiko ku Kati Kati e Lugogo okuttaanya pulaani y’okutemula Kaweesi.

Kyategeezeddwa nti abaserikale bano bwe bannyonnyola olukwe baalaga nga Kayihura byonna ebyakolebwa yali abimanyi.

Olukwe lwali luwanvu kubanga baalina ne pulaani “B”. Ssinga abaserikale bana abaalina okutta Kaweesi balemwa, waliwo abalala abaali beekwese mu nsiko nga bali bulindaala okumaliriza Kaweesi. Era olw’okuba mu kitundu ekyo mulimu poliisi eziwera (police posts), kyasalibwawo abaserikale bonna ne balagirwa okukeera ku poliisi ya Kira Road okubabala (head count).

Kigambibwa nti kino kyakolebwa mu bugenderevu okukakasa nti tewali agenda kutaasa Kaweesi.

ABALALA ABAAKWATIDDWA

Boofiisa abaakwatiddwa, abamu baabakubidde ssimu ne beeyanjula ku CMI e Mbuya gye baabakwatidde.

Abaakwatiddwa kuliko Herbert Muhangi, eyali aduumira Flying Squad agambibwa nti naye enkiiko yazirimu.

Siraje Bakareke eyali aduumira ekitundu kya Kampala South, Richard Ndabwoine akulira okunoonyereza emisango egizzibwa ku yintaneti, Col. Ndahura Atwoki eyali akulira ekitongole kya poliisi ekikessi, Jonathan Baroza eyali omuyambi wa Kayihura.

Kyategeezeddwa nti buli omu ku bofiisa yalina ekitundu kye yazannya mu butemu. Wabula ng’oggyeeko ebya Kaweesi, kigambibwa nti balina emisango emirala.

Aba ISO bagamba nti Kaweesi, abatemu baali bamwetoolodde nnyo era olw’okuba emirundi mingi yabuzaabuzanga entambula ze, baasalawo pulaani okugiyingizaamu muganzi we Christine Muhoza Mbabazi okubayambako okumulondoola. Mbabazi akuumibwa aba ISO mu maka ge e Lungujja.

Kayihura yakwatiddwa ku Lwokusatu oluvannyuma lw’omuduumizi w’amagye okumusindikira ennyonyi eyamuggye ku faamu ye e Lyantonde.

Baamusindikidde Lt. Gen. Wilson Mbadi okumunona. Ennyonyi mwe yabadde bwe yagudde e Kololo, baamututte Mbuya gye yaggyiddwa okumutwala e Makindye.

Eno e Makindye y’ekuumirwa basajja ba Kayihura abaasooka okukwatibwa ku misango gy’okuwamba abanoonyi b’obubudamu abaava e Rwanda ne babaddiza Paul Kagame era abamu ne battibwa. Eno gye bakuumira ne Abdallah Kitatta.

Abalala abali e Makindye kuliko Nixon Agasirwe eyali akulira ebikwekweto, Joel Aguma eyali akulira PSU (Police Standards Unit), James Magada, Kwalisima, Faisal Katende naye yali wa Flying Squad n’abalala.

Amagye ku Lwokusatu gaazinzeeko amaka ga Kayihura e Muyenga. Okutuusa eggulo abaserikale baabadde bagebulunguludde. Kyokka amagye gaagambye nti wadde Kayihura yakwatiddwa kyokka tebannamussaako misango bakyaliko bye bamubuuza.

Ebirala bye bassa ku Kayihura kwe kukwata obubi ensonga za Kaweesi n’abantu abalala abazze battibwa okuli Abasiraamu.

Kigambibwa nti obumu ku bujulizi bubadde bupangibwa ne baggalira abantu abakyamu, kyokka ng’abakola kino bamanyidde ddala nti abatemu abatuufu balya butaala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...

Wakiso Giants esudde 2

WAKISO GIANTS FC mu liigi ya babinywera esazizzaamu endagaano z’abasambi babiri ezibadde zibuzaako emyaka ebiri...

Janet Museveni asimbudde tt...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni asibiridde entanda ttiimu y’eggwanga ey’abaddusi bw'abade agisimbula...

Abakulembeze baloopedde Kis...

ABATUUZE mu Kisenyi n’abasuubuzi abatundira ebyamaguzi ku nguudo balaajanidde dayirekita wa Kampala omuggya Dorothy...

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...