TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Embeera ya Nambooze tennalongooka: Azzeemu okunafuwa

Embeera ya Nambooze tennalongooka: Azzeemu okunafuwa

Added 20th July 2018

OMUBAKA Betty Nambooze Bakireke alumbiddwa omusujja ogw’amangu abasawo ne bamuzza ku kitanda okumujjanjaba.

Bayimiriza n’entegeka y’okumulongoosa evviivi. Bba Henry Bakireke yategeezezza nti bwe yamala okutereezebwa omugongo ne bamuwa ekiseera awummulemu.

Ekiseera kyabadde kiweddeko era ng’ateredde ng’abasawo bagenda kuddamu kumulongoosa kyokka ekiro ekyakeesezza ku Lwokusatu, omusujja gwamugwiridde yenna n’atandika okutintima.

“Abasawo bamuzzizza ku kitanda basooke bamujjanjabe omusujja era okumulongoosa kati bakuyimirizza. Batugambye nti puleesa ye eri wansi tebasobola kukola ku vviivi ng’omusujja teguwonye,” Bakireke bwe yagambye.

Yategeezezza nti abasawo bazudde nti omusujja gulabika guva ku bulumi bwa vviivi eritannaba kulongoosebwa. Yagambye nti tebasobola kumussaako kiso ku vviivi ng’embeera teteredde.

Evviivi erimuluma bagenda kulirongoosa kubanga abadde tekyatambula bulungi n’obusomyo obubadde butakyakwatagana bulungi na misiwa mirala babutereeze.

Yagambye nti baafunyewo ku ssente nga bwe bwalinda eza Gavumenti n’abamu ku bazirakisa abasobola okumuyamba kubanga ye zimuweddeko.

Mu bbaluwa dokita gye yamuwandiikidde, yamutegeezezza nti byonna bye bagenda okukola bimwetaagisa ddoola 10,500 kyokka zonna tazirina.

Yagambye nti n’ensimbi ezisoba mu bukadde 100 eza palamenti ze yamuwa, baafunako kitundu endala tebannaba kuzimuwa.

Obulwadde bwa Nambooze bwasajjuka, abaserikale bwe baddamu okumukwata ku misango egyekuusa ku kukozesa obubi essimu n’awandiika ebigambo ku mubaka munne omugenzi Ibrahim Abiriga.

Poliisi yamukwata n’emuggalira e Naggalama kyokka yategeeza nti bwe yali mu kaduukulu yatulugunyizibwa obulwadde bw’omugongo ne buttuka.

Yatwalibwa mu ddwaaliro e Kiruddu gye yamala ennaku 10 ku kitanda ng’abasawo bamwekebejja era bwe baakakasa nti embeera ye mbi ne bamukkiriza okutwalibwa e Buyindi.

Badokita baamussa ku masannyalaze ne bakozesa ne tekinologiya owa waggulu okutereeza ekyuma mu mugongo ekyali kiseeseetuse ne kitereera kyokka baazuula nti akyalina obulumi nga buva ku vviivi era bagenda kumutereeza.

Abadde akyali mu nnaku z’okuwummulamu baddemu bamulongoose eviivvi ate omusujja ne gumulumba. Kati bajjanjaba musujja .

Wabula bba Bakireke yategeezezza nti omubaka agenda kutereera abantu be tebatya nnyo.

Kyokka poliisi okumukkiriza okugenda e Buyindi yamuwa kakalu kaayo era bamusuubira okuddamu okweyanjula nga July 29, omwaka guno ku misango egyekuusa ku mugenzi Ibrahim Abiriga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hudu ng'ayogera eri bannamawulire ku Media Centre.

Abakulembeze abakyeremezza ...

RCC wa Kampala Hudu Hussein asekeredde abakulembeze b'omu butale abaggyibwako kyokka ne basigala nga balwana okubwezza...

Kkwaaya ng'eyimba ennyimba z'Amazuukira.

Bayimbye ennyimba z"Amazuukira

Abakulisitaayo bakubiriziddwa  okudduukurira n'okubeeea obumu n'abayimbi mu Kkanisa mu nkola ey'okubunyisa enjiri.....

Ssentebe Sserunjogi ng'alaga olukalala oluliko abantu be yagobye.

Ssentebe agobye abakulembez...

Ssentebe w'e Bujuuko agobye abakulembeze ku lukiiko lwe lwa kumutyoboola mu bantu. Francis Sserunjogi ow'e Bujuuko-...

Omugagga Dodoviko Mwanje ( ku kkono ) ng'ali ku kkooti e Kololo ne SSP Rashid Agero.

Okuwulira omusango oguvaanw...

WADDE nga gavumenti yamaliriza okunoonyereza ku musango oguvunaanibwa omugagga Dodovico Mwanje amanyiddwa nga Dodo...

Kityo eyakuliddemu enteekateeka y'ekyoto ng'ayogera.

''Ababuvuka mugondore amate...

OMWAMI wa Kabaka atwala eggombolola y'e Nsangi, Wasswa Mathias Kutanwa asabye abavubuka okuba abasaale mu kulwanyisa...