TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Lukwago ne Mabiriizi bajulidde mu kkooti Ensukkulumu

Lukwago ne Mabiriizi bajulidde mu kkooti Ensukkulumu

Added 28th July 2018

BANNAMATEEKA ababadde mu musango gw’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti, basazeewo okutwala okujulira mu kkooti Ensukkulumu y’eba esalawo.

Lukwago ng'ayogerera mu kkooti ya eyasazeewo eggoye ku bya 'Togikwatako' e Mbale

Lukwago ng'ayogerera mu kkooti ya eyasazeewo eggoye ku bya 'Togikwatako' e Mbale

Bagamba nti, si bamativu n’engeri kkooti gye yasazeemu omusango naddala ku ky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Palamenti yasalawo nti, eky’omuntu okubeera ng’awezezza emyaka 75 obutaddamu kwesimba ku Bwapulezidenti kiveewo, kino kyasalibwawo mu bbago eryayanjulwa Raphael Magyezi oluvannyuma eryayisibwa Palamennti ne lifuuka etteeka mu 2017.

Ku Lwokuna abalamuzi ba kkooti Etaputa Ssemateeka bataano, baasinzidde e Mbale ne basalawo nti, ababaka okweyongeza emyaka ebiri ku kisanja kyabwe gifuuke musanvu kyakolebwa mu bukyamu ate okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti, kyakolebwa mu mateeka era baagoberera emitendera gyonna egyetaagisa.

Omulamuzi omu yekka, Kenneth Kakuru ye yayawukanye ku banne etteeka lyonna n’alisuula mu kasero.

Bannamateeka okuli Lukwago ne Male Mabirizi (ye si looya)bagamba nti balina obujulizi obumala etteeka lyonna okulisuula mu kasero.

MALE MABIRIZI:

Sikkiriziganya na ngeri ensonga ezimu gye zaakwatiddwaamu era hhenda mu Kkooti Ensukkulumu okuteekayo okujulirira kwange.

Kkooti yalagidde Gavumenti esasule buli muntu eyaleeta omusango gwa Togikwatako obukadde 20 kubanga bateekamu ssente mpitirivu okusasula balooya okunoonyereza bafune obujulizi bwe banaakozesa.

Bwe kyatuuse ku nze, baagambye nti sirina ssente ze nasaasaanyizza ku balooya kubanga nze eyabadde yeewolereza ne bandagira mpandiikire kkooti nga ngitegeeza ssente ze nkozesezza ng’omuntu omulamuzi alabe oba zisaana ate bw’azikakasa bampeeko ebitundu 2 ku 3.

Abalamuzi bwe baba baagambye nti, ababaka ba Palamenti tebaagoberera mitendera mituufu nga baliyisa, nze ndowooza nti lyonna bandibadde balisuula mu kasero nga Kakuru bwe yakoze.

BANNAMATEEKA ABALALA

1 Evans ocheng

Palamenti yalina obuyinza okukyusa Ssemateeka wabula teyalina buyinza kwongeza kisanja kya babaka nga tewali kalulu ka kikungo.

Waliwo ensonga ezimu ze sakkiriziganyizza n’Omulamuzi Kenneth Kakuru naye nga mukutwaliza awamu, kkooti yasaze bwenkanya naddala eri abalonzi abeesiga ababaka ba Palamenti ne babasindika okubakiikirira ku kisanja kya myaka etaano gyokka.

Ekirungi, amateeka gaffe gawa omukisa atamatidde okujulirira, bonna abawulira nga tebaamatidde basobola okujulirira mu Kkooti Ensukkulumu okutuula abalamuzi abalamuzi musanvu ne basalawo.

2 Joseph Luzige

Ekyo nze mbadde nkisuubira nga munnamateeka, era nakyogerako mu nsisinkano zaffe eza bassentebe ba Disitulikiti za Uganda nga waliwo bannaffe abaali beesunze emyaka omusanvu.

Toyinza kuddira buyinza bwa bantu n’obwewa, ababaka ba Palamenti baalondebwa bantu era be baalina okusalawo ku nsonga eyo.

Okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti, baakiyisa mu mitendera gyonna egyetaagisa, beebuuza ku bantu ne bagoberera buli mutendera ogwali gwetaagisa. Seewunyizza ng’omusango gusaliddwa mungeri eyo.

3 Caleb Araka

Kkooti yabadde erina okulambika eggwanga gye lidda era abalamuzi bonna baakikoze mu mazima lwa kuba omulamuzi Kenneth Kakuru, ye yalaze nti, mu ssiga eddamuzi, alina omutima ogulumirirwa eggwanga lye era buli kye yakoze mu nsala ye, kyabadde kiyamba Bannayuganda.

Abalamuzi bonna baabadde balina okwolesa obuvumu nga Kakuru bwe yayolesezza wabula bbo ku ky’emyaka gya Pulezidenti, baalazeemu okutya naye ne balaga obuvumu ne basazaamu eky’ababaka ba Palamenti kye nti, kye baabadde bakoze okweddiza obuyinza bw’abantu kifu.

Ffe nga bannamateeka, kkooti tulaba nga kkooti tusobola okugyenyumirizaamu nti eyimirira ku mazima n’obwenkanya.

ERIAS LUKWAGO:

Tugenda kujulira tetuli bamativu n’ensonga ya ‘Age Limit’. Ku ffe, tulaba ng’abalamuzi tebaataganjudde mateeka mu butuufu bwago kuwa nsala ntuufu.

Ffe obujulizi bwonna obwetaagisa twabubawa kyabadde eri bbo okubukozesa obulungi ng’amateeka bwe galagira okuwa ensala entuufu. Okugeza baagambye amagye okulumba Palamenti kyali kyetaagisa.

Tewaliwo nsonga yonna etwala magye mu Palamenti, amagye gaayongera kutabula nsonga naye abalamuzi baalaze nti kyali kyetaagisa ffe ekyo tetukkiriziganya nakyo.

Satifikeeti ya Sipiika baagikubyemu ebituli, etteeka liragira Pulezidenti nga tannateeka mukono ku tteeka, Sipiika alina okusooka okukola satifikeeti n’agisoma, abalamuzi baagikubyemu ebituli ne balaga nti, yalimu ebintu bingi ebitaagobererwa ekiraga nti satifikeeti kyenkana teriiwo.

Abantu tebeebuuzibwako mu ngeri ntuufu n’ensonga endala kwe tusinzidde okutwala okujulira mu Kkooti Ensukkulumu ku Mmande.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...