TOP

Engeri Kakuru gy'azze ng'atagaza Gavt.

Added 28th July 2018

OMULAMUZI Kenneth Kakuru, 60 aludde ng’atagaza gavumenti mu misango egy’enjawulo naddala egyekuusa ku butonde bw’ensi.

Omulamuzi Kakuru

Omulamuzi Kakuru

 

BYA ALICE NAMUTEBI

Nga tannafuuka mulamuzi, yaloopa emisango egiwerako ng’ayita mu kitongole ky’obwannakyewa ekya Greenwatch ekirwanirira obutonde bw’ensi era egimu yagiwangula.

Kakuru mu kuwa ensala ye yayawukanye ne banne bonna abana ku tteeka ly’ekkomo ku myaka era ye yalaze nti lyabadde lyetaaga kugobwa lyonna bukolokolo.

Tanyigirwa mu ttooke era atunuulirwa ng’alina obuvumu obw’enjawulo. Mu January w’omwaka guno yasinziira mu Kkooti Ejulirwamu n’agamba nti mulamuzi munnaabwe Steven Kavuma nti, ye yali abalwisizza okuwa ensala mu musango gwa David Chandi Jamwa eyali akulira ekitongole ekitereka ssente z’abakozi ekya NSSF.

Kavuma gwe yali ayogerako yali mumyuka wa Ssaabalamuzi era nga mu kiti ekyo yali mukama wa Kakuru, wabula ekyo tekyamulobera kumwogerako.

Mu kuwa ensala ya Jamwa yagamba nti, “Omulamuzi Kavuma twabadde tumusuubira okuwandiika ensala ye, kyokka teyagiwandiise ekitegeeza nti takkaanya na nsala yaffe naye olw’okuba ffe abasinga obungi tukkaanyizza,ka tuwe ensala yaffe era y’egenda okugobererwa.”

Omusango baawunzika bagusingizza Jamwa era ne balagira asibwe emyaka 12 nga bwe kyali kisaliddwaawo Kkooti Enkulu nga bamulanga kwezibika ssente z’abakozi ezikunukkiriza obuwumbi obusatu.

Mu musango ogwaggyawo “Omutwalo” ku basajja abagenda okwanjulwa era Omulamuzi Kakuru y’omu ku balamuzi abaagulimu.

Yawuliriza omusango gw’akulira ekitongole ky’eddagala ekya National Drag Authority Donna Kusemererwa nga yeemulugunya nti, baamugoba mu bukyamu. Yalagidde adde ku mulimu.

Amanyiddwa mu kulwanirira eddembe ly’obuntu. Okulondebwa ku bulamuzi yali munnamateeka akola emirimu gye mu kkampuniye eya Kakuru & Company Advocates. Ye nnannyini kitongole ky’obwannakyewa ekya Greenwatch ekirwanirira obutonde bw’ensi.

Bino bye bimu ku bigambo bye yakozesezza ng’awa ensala ye:

“Okuggyako nga tukkiriza n’okuteeka ekitiibwa mu musaayi gwa bajjajjaffe abattibwa mu 1966 Ssekabaka Muteesa era eyali Pulezidenti bwe yalumbibwa n’aggyibwa ku bukulembeze n'amaanyi, tuyinza okwerabira ebyafaayo byaffe ne Ssemateeka okutuuka okudibagibwa”.

“Museveni yazaalibwa 1944 kati alina emyaka 74. Okuva 1996 abadde avuganya mu kalulu ng’awangula. Omwaka ogujja 2019 aweza emyaka 75 ekitegeeza nti aba tasobola kuddamu kuvuganya ku Bwapulezidenti. Mu 2021 okulonda bwe kunaddamu ajja kubeera n’emyaka 77 Abaabaga Ssemateeka baakiraba ng’omuntu asussa emyaka 75 aba tasaanidde kufuga bantu ku Bwapulezidenti era tewali nsonga ematiza yali ewaliriza kukyusa Ssemateeka okuggyawo ekyo kye baalaba”

“Singa ebikolobero byonna Amina bye yakola wakati wa 1971 ne 1979 tubiteeka mu buwandiike, amaterekero g’ebitabo gonna kati gandibadde gajjudde ng’ebitabo ebirala tebirina we biraga. Emyaka munaana egijjudde nga tewali kulonda, tetulina Palamenti eri mu mateeka ate ne yeerangirira nga bw’agenda okufuga okutuusa lw’alifa. Enkola eno tetusobola kugiddamu”.

“Nze okukkiriza etteeka kubanga kuyiwayo ggwanga lyaffe kubanga kiba kitegeeza nti, ababaka ba Palamenti bwe baba n'amaanyi bwe gatyo ne beeyongeza n'emyaka basobola okukeera ku makya ne basalawo nti, essiga eddamuzi tuliggyeewo ffe nga Palamenti emisango tujja kugisalawo era bakyayinza n’okugamba nti eggwanga Uganda baliggyeewo olwo ne tufuuka ekisekererwa mu nsi yonna. Bwe tubalekera obuyinza obwo bayinza okukeera ne bayisa ekiteeso ekirala nti baakubeera mu Palamenti okutuusa lwe balifa era nakyo ne kitabamalira ne bayisa n’etteeka eddala nti bwe bafanga, abaana baabwe be balibasikira mu bifo bya Palamenti. Ekyo tetusobola kukikkiriza kubanga kkooti eno weeri.”

“Kkooti okukkiriza ababaka okweyongeza emyaka ejja kuba etandiseewo enkola embi kubanga n’abaliddawo bayinza okugamba nti emyaka omusanvu tegibamala ne beyongeza emirala kasita abakiwagira babeera abangi mu Palamenti.”

“Ababaka olwabakwasa ssente obukadde 29 baddanga ku kompyuta zaabwe ez’omu ngalo (iPad) nga kwe babuuliza abantu era abamu tebaatawaana na kutuukako mu bitundu bye bakiikirira. Kati ababaka ab’ekika kino tuyinza tutya okubeesiga”.

“Neetadde mu kifaananyi kya Munnayuganda akeera ku makya n’akwata enkumbi okugenda okulima, n’akomawo n’alya emmere oba eggolu ng’ekyobugagga ky’alina mu nsawo gye mitwalo ebiri ne nnebuuza engeri gy’alowooza ku babaka abeeyongeza emyaka nga mu mazima abalaba nga abeeyagaliza bokka, abataagaliza ggwanga kukulaakulana era abateesigika”.

OMULAMUZI KAKULU Y’ANI?

Yazaalibwa 1958.

Yatandika Obwapuliida emyaka egisukka mu 30 egiyise era mu 1987 yatandika kkampuni ye eya bannamateeka Kakuru &company Advocates.

Yasomera Makerere, era alina diguli eyookubiri mu mateeka ne diguli eyookubiri mu byenjigiriza.

Eyali mukazi we Winnie Ikiriza Kakuru yafa 2009 nga bazadde abaana; Sama, Tracy ne Rose

Mu 2012 yaddamu n’afuna omCharity Nankunda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakooza Mutale ng'aliko byannyonnyola.

Enkwe za baminisita ze ziwa...

MAJ. Kakooza Mutale awabudde Pulezidenti Museveni ku nsonga ezaamuwanguzza mu Buganda n'awakanya abakissa ku busosoze...

Balumirizza Cameroon eddogo

KATEMBA yalabikidde mu mpaka za CHAN eziyindira mu ggwanga lya Cameroon, omutendesi wa Zimbabwe, Zdravko Logarusic...

Pasita Musisi n’abazannyi ba Busiro abaasoose mu kkanisa ye e Kaggala, Wakiso ku Ssande.

'Ababaka mulwanirire emizan...

PASITA Paul Musisi, akulira ekkanisa ya Caring Heart Ministries e Kaggala mu Wakiso adduukiridde ttiimu y’essaza...

Abavubuka ba Yellow Power.

Aba Yellow Power baagala Ka...

ABAVUBUKA b'ekisinde kya Yellow Power mu NRM, nga bano bakola gwa kukunga bantu, baagala Ssaabawandiisi  w'ekibiina...

Omuteebi wa Busiro, Usama Arafat ng’asindirira ennyanda ku ggoolo ya Kyaggwe gye yawangula 2-1 mu gy’ebibinja. Eggulo, Busiro yakubye Mawogola 1-0 eggulo okwesogga semi.

Busiro ne Bulemeezi ziri ku...

BULEMEEZI ne Busiro zifungizza okuwangula ekikopo ky'omupiira eky'Amasaza ga Buganda. Bulemeezi yatimpudde Busujju...