TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Omupoliisi omukazi eyakubye ddereeva w'omulamuzi essasi bamukutte

Omupoliisi omukazi eyakubye ddereeva w'omulamuzi essasi bamukutte

Added 1st August 2018

Omupoliisi omukazi eyakubye ddereeva w'omulamuzi essasi bamukutte

Ddereeva w’omulamuzi wa kkooti enkulu Musa Ssekaana bamukubye essasi limu mu lubuto n’agwa ku ttaka.

Mu ddakiika ntono abadde afudde! Ismail Mayega 35, abadde yaakafuna omulimu gw’okuvuga Omulamuzi Ssekaana era nga n’obulamu butandise okukyuka era nga n’aba famire batandise okulaba ebiseera eby’omu maaso ebitangaavu.

Essasi lye baamukubye ku makya g’eggulo lyamuggye mu bulamu bw’ensi eno ne lireka famire ye mu kaseera akazibu nga tebamanyi kiddako.

Abaana abataano be yalese ng’omukulu ali mu P2, baakaabizza abakungubazi nga buli omu yeebuuza oba banaafuna omukisa ogusigala mu ssomero kuba kitaabwe y’abadde kumpi buli kimu!

Musa Semmanda, muganda wa Mayega yagambye nti omugenzi yavudde mu maka ge e Nabweru mu ggombolola ye Kawempe nga bulijjo n’agenda okukima mukama we e Muyenga - Bukasa, gye yatuuse ku ssaawa 1:00 ey’oku makya.

Mu kiseera we yatuukidde, mukama we yabadde ali mu nnyumba nga yeeteekateeka, nga n’abaserikale abamukuuma baakatuuka.

Kigambibwa nti Mayega bwe yatuuse yatandise okunyumya n’omuserikale PC Daisy Nagasha nga bwe bazannyirira.

Ekyaddiridde essasi lyafulumye mu butanwa ne likwata omugenzi mu lubuto era omugenzi n’afa nga baakamutuusa mu ddwaaliro lya International Hospital e Namuwongo.

Omulambo oluvannyuma gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago, abasawo ne bagwekebejja era ne gukwasibwa abooluganda n’aziikibwa e Vvumba okumpi ne Busiika mu disitulikiti ye Luweero eggulo.

Omugenzi alese nnamwandu n’abaana bataano. Asembayo obuto ali mu Middle Class.

Omulamuzi Ssekaana wa kkooti Enkulu ewozesa emisango gy’engassi ng’atuula ku Twed Towers mu Kampala. Y’omu ku balamuzi abaakalondebwa. Yali munnamateeka eyeekozesa yekka.

EYAKUBYE ESSASI AKWATIDDWA

Emilian Kayima, omwogezi wa poliisi mu ggwanga yagambye nti baakutte omuserikale waabwe PC Daisy Nagasha agambibwa nti ye yakubye Mayega essasi mu lubuto.

Poliisi yategeezezza nti Nagasha akuumirwa ku poliisi y’e Kabalagala era nga yabategeezezza nti essasi yalimukubye mu butanwa.

Mu kunnyonnyola yagambye nti; “Engeri gye tukola ffenna tubadde tutera okusaagasaaga.

Ku ssaawa nga 1:00 ey’oku makya, Mayega yazze n’akwata ku mmundu yange ng’eno bw’ahhamba nti temuli masasi.

Namwegayiridde okukola ekirala kyonna naye eky’okukwata ku mmundu akyesonyiwe naye n’agaana. Bwe nagezezzaako okumwesikambulako aggye engalo ze ku mmundu yange awo essasi we lyamukubidde mu butanwa,” Nagasha bwe yagambye. Wadde yakwatiddwa kyokka Poliisi egamba nti tennamuggulako musango okutuusa ng’okunoonyereza kuwedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni lwe yatongoza ekkolero lya METUZHONG erikola bbaasi e Namanve nga March 9, 2019.

Gavumenti by'egenda okukola...

OKUTANDIKA okukolera wano ebintu ebibadde bisuubulwa ebweru w’eggwanga n’okwongera ku bungi bw’ebintu ebitundibwa...

Fred Enanga.

Poliisi eyigga omuwala eyag...

POLIISI etandise okunoonya omuwala, Unique Kobusigye gw’erumiriza okusaasaanya amawulire ku kyasse Omusumba w’e...

Isreal

Boogedde bye balabye mu mya...

Micheal Orahi Osinde, omwogezi w’omukago ogutaba ebibiina byobufuzi byonna mu ggwanga ogwassibwawo mu 2010 agamba...

Miriam Wayirimo eyavuganyizza ku kya mmeeya wa Njeru munisipaali ng’alonda ku muzikiti e Namwezi.

Okulonda bwe kwabadde e Lug...

EBYAVUDDE mu kalulu ka Bameeya ne Bakansala ba munisipaali okwetoloola eggwanga biraga nga NUP yasinze kukola bulungi...

Pulezidenti Museveni ng’atongoza ekyuma kye yawa abavubuka mu Kampala okusitula ebyemikono.

Olugendo lwa Gavumenti ya N...

EMYAKA giweze 35 bukya Gavumenti ya NRM ekwata buyinza oluvannyuma lw’olutalo olw’ekiyeekera olwatandika mu mwaka...