
Ying Patrick Amuriat Oboi
Pulezidenti w’ekibiina kya FDC, Patrick Oboi Amuriat yeewolerezza n’ategeeza nti, kye yakoze yayagadde kutereeza babaka ba kibiina abali mu Palamenti n’agamba nti;
“Tetulina ngeri gye tubadde tuyinza kutambuzaamu kibiina ng’ababaka baffe mu Palamenti bakola byabwe.
Tutudde ekiseera nga twebuuza ku bantu abawerako era enkyukakyuka tezaagudde bugwi.
Ababaka bonna abali mu Palamenti balina ebisaanyizo ebibasobozesa okuweereza mu bifo by’obukulembeze ebirala ebya Palamenti,” Amuriat bwe yayanukudde abaabadde bamugugumbula okulonda abayitibwa abanafu mu nkyukakyuka ze yakoze ku Lwokutaano oluwedde.