
Gen. Kale Kayihura
KATIKKIRO wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda ababaka ba Palamenti bamutadde ku nninga annyonnyole lwaki gavumenti eruddewo okutwala eyali omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura mu kkooti.
Bino byabaddewo ababaka nga babuuza Katikkiro Rugunda ebibuuzo ebyamutadde ku nninga annyonnyole ekigaanyi gavumenti okutwala Kayihura mu kkooti. Kyokka Rugunda yazzeemu:
‘’Mu kimanyi nti eyali omuduumizi wa poliisi ono mukungu mu magye era akwatiddwa mu ngeri egwanidde okuyisibwamu omukungu ng’oyo.’’
Kayihura yakwatibwa June 13 2018, era okuva olwo ali mu nkambi y’amagye e Makindye oluvannyuma lw’okukwatibwa ng’abuulirizibwako ku misango gavumenti gy’etevangayo kunnyonnyola mu butongole.
Kyokka abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu omuli bannamatteeka n’abatunuulizi abalala baludde nga beemulugunya nti Kayihura ne banne bandibadde batwalibwa mangu mu kkooti kuba etteeka liragira nti kirina kukolebwa mu bbanga eritasukka nnaku bbiri okuva omuntu lw’akwatibwa.
Ku nsonga z’abaali mu ggye ly’obwanakyewa erwanyisa abajjambula ba kyewaggula Kony e Teso abamanyiddwa nga ‘Arrow Boys’, Dr. Rugunda yagambye nti abaali mu kibinja kino bebazibwa olw’omulimu gwe bakola kyokka gavumenti bw’enafuna ssente ejja kubalabamu mu ngeri ey’enjawulo.
Ng’addamu ekibuuzo ky’okulwawo okusasula abaali abakozi ba gavumenti pensoni, Rugunda yagambye nti minisitule y’abakozi ba gavumenti ejja kunyonnyola bwe wabaawo abaakola obulagajjavu bakangavvulwe.