TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Ddereeva wa Bobi Wine yaziikiddwa mu biwoobe n'okwazirana: Alese bannamwandu 5

Ddereeva wa Bobi Wine yaziikiddwa mu biwoobe n'okwazirana: Alese bannamwandu 5

Added 16th August 2018

DDEREEVA wa Bobi Wine eyakubiddwa amasasi mu kalulu ka Munisipaali y’e Arua yaziikiddwa eggulo wakati mu kwaziirana n’emiranga.

Emikolo gyabadde ku kyalo Ssango mu ggombolola y’e Buwama mu disitulikiti y’e Mpigi. Okuziika kwetabiddwaako okusinga bannabyabufuzi.

Bano baakulembeddwamu famire y’omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi n’abayimbi abeegwanyiza okuyingira ebyobufuzi..

Ku bano kwabaddeko Ronald Mayinja, Dr. Hilderman (Hillary Kiyaga) n’abalala.

Amyuka Bobi Wine mu nsi ya ‘Ghetto’ Nubian Lee yennyamidde olw’engeri ddereeva wa mukamaawe gye yattiddwa kyokka n’abasaba baleme kumukaabira kuba yabadde alwanirira ddembe lya Bannayuganda.

Omubaka Asuman Basalirwa eyaakawangula akalulu k’e Bugiri ng’ayambibwako Bobi Wine yawakanyizza ebyogerwa Poliisi nti emmundu eyakubye essasi ya ba opozisoni n’agamba nti buno bulimba kuba gavumenti emanyi ekituufu era bonna abaakikoze yabasabidde dduwa enkambwe.

Mukulu wa Bobi Wine ‘Chairman’ Fred Nyanzi yabuulidde abazze okuziika ebyabaddewo mu Arua ng’abaserikale babalumba n’awakanya ebigambibwa nti bbo be baalumbye ‘Konvoyi’ ya Pulezidenti.

Yagambye nti ye ye yasimattuse okuttibwa kuba ddereeva Kawuma gwe yabadde alinze basimbule naye Kasiano Wadri n’amuyita babeeko ka ‘meetingi’ mwe batuula kozzi awona, era olwazze emabega amasasi ne gavuga agasse ddereeva Kawuma.

ALESE BANNAMWANDU 5

Yasin Kawuma (40) baagenze okumutemula ng’alina abakyala abamanyiddwa bataano n’abaana 12 abamanyiddwa era bano balekeddwa ttayo. Ku bano kuliko n’ow’emyezi ena gyokka!

Amasasi baagamukuba ku Mmande akawungeezi ku ssaawa nga 12:00 okumpi ne Royale Hotel mu kibuga Arua.

Yabadde mu mmtooka y’omubaka wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine, ekika kya Toyota Tundra ng’asimbye mu luggya.

Bakazi ba Kawuma be yalese okuli Alice Mwesigwa gw’alinamu abaana basatu ( abadde yanoba), Annette Nansubuga abadde mu maka g’e Lusanja -Kiteezi mu ggombolola y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso, omulala ye Beatrice Nakigudde gw’alinamu omwana omu, Jennipher Nakibuule n’abalala baasobeddwa eka ne mu kibira nga tebamanyi kyakukola.

Okusinziira ku muyimbi Spark Ssebabi muganda wa Kawuma, omwana omukulu wa myaka 20 ate asembayo obuto, alina emyezi ena.

Tonny Sempebwa meeya wa Kassanda Town Council yagambye nti omugenzi abadde akoledde nnyo ekitundu kya Town council y’e Kasangati n’abasaba bakulembeze banne ttenda ezibadde mu mannya ga Kawuma zisigalewo ssente ezibadde zivaamu zigende mu maaso n’okulabirira abaana ne bannamwandu.

Awakanyizza ebigambibwa nti Bobi Wine ye yavuddeko Kawuma okufa n’agamba nti zino zaabadde ntuuko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...