TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Paasita Muto ayogedde ku bituuse ku Bobi Wine: 'Mukama yandaze nga Bobi agenda kufuna obuzibu'

Paasita Muto ayogedde ku bituuse ku Bobi Wine: 'Mukama yandaze nga Bobi agenda kufuna obuzibu'

Added 20th August 2018

ALEX Kityo (8) amannyiddwa nga Paasita muto eyayatiikirira mu biseera Robert Kyagulanyi ssentamu (Bobi Wine) we yanoonyeza akalulu akaamutuusa ku bubaka bwa Kyaddondo East, ng’akulemberamu okusabira enkungaana zonna Bobi Wine ze yakubanga, atandise okusaba n’okusiiiba nga yeegayirira Katonda asobole okugonza emitima gy’abantu abaakutte Bobi Wine bamuyimbule afune obujjanjabi obumala.

 Paasita Muto ne bakdde be; Nabayitawa (ku kkono) ne Ssaalongo.

Paasita Muto ne bakdde be; Nabayitawa (ku kkono) ne Ssaalongo.

Paasita Muto yategeezezza nti yali yafuna gye buvuddeko obubaka nti Bobi Wine yali ayalekedde akaseera akazibu mu byobufuzi n’ayagala nnyo amusisinkane amutegeeze ku nsonga zino kyokka n’alemesebwa.

“Nnali neebase ne ndaba omuntu ng’agamba nti genda oyambe Bobi Wine agenda kugwa mu buzibu”.

Bwe nakeera ku makya nasigala nkyebuuza oba bye naloose bituufu wabula bwe naddamu okwebaka ne nziramu okufuna ekirooto ekyo, nneesitula ne hhenda ku ofiisi ya Bobi Wine esangibwa ku Munaana ku luguudo lw’e Gayaza kyokka be nasangayo ne mbategeeza nti abeera ‘bize’ ne mbivaako kyokka ate tewayise bbanga n’afuna obuzibu.

Nnyina, Nnaalongo Grace Nabayitawa yakakasizza nti kituufu omwana yakeera ku makya n’abategeeza nti “ndaba Bobi Wine agenda kufuna obuzibu mu byobufuzi, njagala kumuyamba naye oba muggye wa?’ Nabayitawa bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti omwana yayagala n’okumukuba ng’amugamba agende ku ssomero ave mu by’okwerogozza okusisinkana Bobi Wine.

Paasita muto yakuutidde Bobi Wine nti, singa aba avudde mu kkomera, abavubuka abamu batambula nabo abakubemu ttooci kubanga abamu be baamulyamu olukwe oba ssi ekyo yenyweze nnyo ku Katonda asobole okufuna obubaka ku buli ky’abeera agenda okukola.

Bino Kityo yabyogeredde mu maka ga bazadde be ku kyalo Nakindiba ekisangibwa mu Mannyangwa Zooni ‘A’ mu Muluka gwa Kabubbu. Bazadde be Ssaalongo Gerald Matovu ne nnyina, baategeezezza, Kityo yatandika okusabisa ku myaka 6.

Ssaalongo yategeezeaza nti emyaka ebbiri emabega baali bonna beebase ekiro kyokka ku ssaawa nga 10:00, Kityo n’azuukuka n’atandika okusabira famire naddala nze nsobole okufuna omulimu gw’okuvuga emmotoka kubanga nali ebiseera ebyo sirina mulimu ng’emmotoka baaginzigyako.

Yasabira kumpi essaawa bbiri era olwakeera enkya ne njagala mmutwale mu ddwaaliro akeberebwe omutwe.

Wabula nnyina yampabula nti tusooke tubuuza ku nneeyisa ye ku ssomero. Eno nayo batutegeeza nti yali olumu asabira banne.

Ekyewuunyisa mu wiiki bbirir ze yali ansabidde nfuniremu omulimu tezatuuka ne nfuna omulimu.

Ebigambo bye era saabikkriirizaamu naye na kati ndaba abantu abajja wano awaka nti bazze kubasabira! Oluusi bakomawo ne bamwebaza ekitegeeza nti osanga ddala essaala ye ekola!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (ku kkono) ng’awa ssanduuko ya Msgr. Kato omukisa.

Okuziika Msgr. Katongole ka...

BANNADDIINI ne bannabyabufuzi bavumiridde eby'okukwata abantu ne bakuumirwa mu bifo ebitamanyiddwa. Baalaze okutya...

Rebecca Kadaga.

Sipiika asazeewo ku bantu a...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga awadde olukusa ababaka ba Palamenti abava mu bitundu awali abantu abazze bakwatibwa...

Olega (akulembedde) ne banne.

Akabinja akatigomya ab'e Lu...

AKABINJA k’abasajja ababadde batta abantu mu bitundu by'e Luweero, Nakaseke, Nakasongola ne Wakiso bakafunzizza...

Waffle, ccapati erimu eggi, sosegi n’ekyokunywa.

Ssente azinoga mu kukola 'w...

Wali okedde ku makya nga tomanyi ky’oyinza kunywera ku caayi oba n’onoonya ekyokulya ekyangu ky’oyinza okuliira...

Aba KCCA nga basiba sseng’enge ku kibangirizi.

KCCA yeddizza ekibangirizi ...

ABAVUBUKA e Kamwokya ababadde bawambye ekibangirizi ky’ettaka lya KCCA basobeddwa bw’ekizinzeeko n’ekikubako olukomera...