Kayihura yazindibwa ku faamu ye ku kyalo Kashagama e Lyantonde, nga July 12, 2018, amagye bwe gaamusalako okumukwata, kyokka kw’olwo ne bamunoonya n’ababula ng’ali mu wooteeri e Mbarara.
Ebitongole by’okwerinda okuli ISO, SFC (eky’eggye erikuuma pulezidenti), CMI ne poliisi byegatta ne bikolera wamu okunoonyereza ku misango egyagguddwa ku Kayihura.
Mu kusooka, abaserikale abaagenda okukwata Kayihura ku lunaku olwasooka baamubulwa olw’obutamusanga mu maka ge e Kasagama.
Amagye gaddayo enkeera nga June 13, 2018 nga gakulembeddwaamu amyuka omuduumizi w’amagye Lt. Gen. Wilson Mbadi ne bamusanga e Kasagama ne bamutikka ku nnyonyi y’amagye eya namunkanga ne bamukomyawo e Kampala.
Yasooka kutwalibwa ku kitebe ky’amagye e Mbuya, gye yaggyibwa n’atwalibwa mu kkomera ly’amagye e Makindye gy’abadde okutuusa kati.
Okukwata Gen. Kayihura, amagye gali gamaze okukwata abaserikale abalala okuli Lt. Col Ndahura Atwooki ng’ono ye yali akulira ekitongole kya poliisi ekikessi (Crime Intelligence), Herbert Muhangi eyali akulira Flying Squad, Richard Ndaboine ne Good Mwesigwa.
Oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa Kayihura, bingi ebizze bibaawo omuli n’abantu b’e Kigezi abeesitula ne basaba Pulezidenti Museveni asonyiwe omuntu waabwe aleme kumutwala mu kkooti kyokka pulezidenti n’agaana okusaba kwabwe.
Abantu ab’enjawulo bazze bawagira n’okuwakanya okukwatibwa kwa Kayihura era mu bamu ku baawagira okukwatibwa kwe, ye musuubuzi omututumufu, Hassan Basajjabalaba eyavaayo mu lwatu ne yeebaza Pulezidenti Museveni okukwata Kayihura olw’okuba yali afuukidde eggwanga ekizibu.
Bannamateeka ab’enjawulo okuli, Evans Ochieng ne Caleb Alaka baavaayo ne beeyama okuwolereza Kayihura kyokka oluvannyuma mukyala we, Angella Kayihura yavaayo n’afulumya ekiwandiiko n’ategeeza nti bba yali teyeetaaga buyambi bwa bantu bano.
GEN. KAYIHURA YANI?
Gen. Edward Kale Kayihura yazaalibwa 1955 e Kisoro nga bazadde be be ba Johnson Komuluyange Kalekeezi eyafi ira mu kabenje k’ennyonyi mu kibuga Kiev ekya Ukrine ne nnyina Catherine Mukarwano ono ng’akyali mulamu.
Yasomera Gayaza Primary School e Kisoro, Buhinga Primary School e Kabalore, Mutolere SS E Kisoro, St. Mary’s Kisubi, Makerere Universty gye yafunira diguli mu byamateeka ne London College of Economic gye yafunira diguli eyookubiri mu mateeka.
Mu 1982 yeegatta ku bayeekera ba National Resistance Movement (NRA) abaawamba obuyinza mu 1986 era n’aweererezaako mu ofiisi ez’enjawulo mu magye, okukulirako ekitongole ekirwanyisa abakukusa ebyamaguzi ekyali wansi w’ekitongole ekisolooza omusolo gye yaggyibwa mu 2005 n’afuulibwa omuduumuzi wa poliisi mu ggwanga ekifo ky’abaddeko okutuusa March 5 2018 n’akyusibwa.
Musajja mufumbo nga mukyala we ye Angella Kayihura gw’alinamu abaana. Amaka gaabwe gasangibwa Muyenga.