TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Bannaddiini mwesonyiwe ebyobufuzi - Minisita Persis Namuganza

Bannaddiini mwesonyiwe ebyobufuzi - Minisita Persis Namuganza

Added 27th August 2018

MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Persis Namuganza asabye Bannaddiini basabire abakozi b’effujjo abasaasanidde eggwanga beekube mu kifuba mu kifo ky’okunenya Gavumenti ku bujagalalo obuzze bugwawo omuli n’ebyabadde mu Arua.

 Minisita Persis Namuganza

Minisita Persis Namuganza

“Kikyamu Bannaddiini okuleka abakola effujjo n’okukanyuga amayinja omwali n’agaakuba emmotoka ya Pulezidenti okuyinaayina nga tebabanenya ate ne badda mu kulumba n’okuteeka Gavumenti ku nninga”, Minisita Namuganza bwe yategeezezza abaamawulire mu lukuhhaana lwe yatuuzizza mu ofiisi ye.

Yagambye nti obuvuyo obwo bwonna n’omupango ogwavuddeko okukuba mmotoka ya pulezidenti amayinja gwakoleddwa ba ludda luvuganya Gavumenti.

Kino kiddiridde obusambattuka obwaliwo mu kibuga Arua gye buvuddeko omwava abaakuba emmotoka ya Pulezidenti amayinja n’obusambattuko obwaddiridde mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu.

Namuganza yasabye Bannaddiini beemalire mu kulyowa emyoyo gy’abantu, okubabuulirira okussa ekitiibwa mu bantu ng’abakulembeze mu kifo ky’okweyingiza mu byobufuzi n’okwagala okunoonyereza ku misango, omulimu gwe yagambye nti gwa bitongole byakwerinda.

Bannaddiini abeegattira mu kibiina kya Inter -Religious Council nga bakulemberwamu Mufti Shaban Mubajje baavuddeyo wiiki ewedde ne banenya ebitongole byokwerinda okutulugunya abantu n’okwewala okukozesa eryanyi erisusse mu kukkakkanya obujagalalo.

Yavumiridde eky’okutulugunya omubaka Robert Kyagulanyi ne banne kyokka nabo n’abasaba okukomya okusiga obukyayi n’obutwa mu bavubuka nga babakyayisa Gavumenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...