TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Bobi Wine ne banne 11 bayimbuddwa abawagizi baabwe ne bayisa ebivvulu

Bobi Wine ne banne 11 bayimbuddwa abawagizi baabwe ne bayisa ebivvulu

Added 27th August 2018

ESSANYU Katono litte abawagizi n’aba famire z’abantu abaali baakwatibwa ne baggalirwa mu kkomera e Gulu ku misango gy’okulya mu nsi olukwe, oluvannyuma lw’Omulamuzi wa kkooti Enkulu e Gulu, Stephen Mubiru, okukkirizza okubata ku kakalu ka kkooti.

 Bobi nga yeekebejjebwa mu ddwaaliro nga ky'ajje ayimbulwe. Wano yabadde n'omubaka Winnie Kiiza, Looya we Andrew Karamagi, n'omuyimbi wa Fire Base, Nubian Lee nga bajaganya olwa Bobi Wine okuyimbulwa. EKIF: ANDREW KARAMAGI

Bobi nga yeekebejjebwa mu ddwaaliro nga ky'ajje ayimbulwe. Wano yabadde n'omubaka Winnie Kiiza, Looya we Andrew Karamagi, n'omuyimbi wa Fire Base, Nubian Lee nga bajaganya olwa Bobi Wine okuyimbulwa. EKIF: ANDREW KARAMAGI

BYA MARGRET ZALWANGO

ESSANYU Katono litte abawagizi n’aba famire z’abantu abaali baakwatibwa ne baggalirwa mu kkomera e Gulu ku misango gy’okulya mu nsi olukwe, oluvannyuma lw’Omulamuzi  wa kkooti Enkulu e Gulu, Stephen Mubiru, okukkirizza okubata ku kakalu ka kkooti.

Omubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi Sentamu ( Bobi wine) ne banne abalala 12, okusaba okweyimirirwa baakuyisizza mu bannamateeka baabwe okwabadde Abdu Katuntu, Medard Lubega Seggona, Asuman Basalirwa, Caleb Alaka, Nicholas Opiyo, Samuel Muyizzi, n’abalala.

Okusalawo kw’omulamuzi kwaleetedde abawawaabirwa akaseko ku matama anti wiiki ebbiri ze babadde bamaze mu kkomera, nazo ziri wala.

Bobi Wine avunaanibwa n’omubaka eyaakalondebwa okukiikirira Munisipaali y’e Arua, Ezati Kasiano Wadri, owa Jinja East- Paul Mwiru, Gerald Karuhanga owa Ntungamo , n’eyaliko omubaka wa Makindye East- Michael Mabikke, n’abalala.

Bino byonna byaliwo nga August,13, 2018, bwe baali banoonya akalulu k'okujjuza anaakikirira munisipaali ya Arua abawagizi ne bakuba emmotoka ya Museveni amayinja.

Bobi Wine yasooka kuvunaanibwa mu kkooti y’amagye e Gulu ku bigambibwa nti yasangibwa n’emmundu bbiri n’amasasi  munda mu kisenge kya woteeri mwe yali asula mu Arua, kyokka   oluvannyuma emisango gino gyamuggyibwako era n’ayimbulwa.

Oluvannyuma, Poliisi  yaddamu n’emukwata  n’agattibwa ku fayiro eyaliko banne 33 ey’okulya mu nsi  olukwe.

Bobi Wine yeeyimiriddwa eyali pulezidenti wa FDC, Maj. Gen. Mugisha Muntu, omubaka wa Buyaga West- Barnabas Tinkasiimire ne mugandawe Eddy Yawe.

Ye omubaka Wadri yeeyimiriddwa Francis Gonahasa n’eyali akulira ababaka booludda oluvuganya mu Palamenti, Winfred Kiiza ate Gerald Karuhanga ne yeeyimirirwa mubaka munne akiikirira Bukoto East, Florence Namayanja ne Lilly Adong, akiikirira abakyala mu disitulikiti y’e Nwoya.

Paul Mwiru owa Jjinja East munisipaali yaleese omubaka Herbert Ariko wamu ne Angeline Asio Osege, akiikirira abakyala mu disitulikiti y'e Nwoya ne bamweyimirira.

Eyali omubaka wa Makindye East mu Palamenti, Michael Mabikke yeeyimiriddwa omubaka eyaakalondebwa ku kifo ky’akulira ababaka abali ku ludda oluvuganya mu Palamenti, Betty Aol Ochan ne kkansala wa KCCA, Moses Katabu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa ng'ali mu ddwaaliro e Masaka.

Kasasa ebbanja lw'eddwaalir...

Omuyimbi Disan Kasasa adduse ku kitanda ayimbire Mukasa awone ebbanja ly'eddwaaliro. Omuyimbi ono era omuzannyi...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka e Sironko gye yasisinkanidde abakulembeze ba NRM okuva e Sironko ne Bulambuli ku ssomero lya Masaba SSS.

Museveni asuubizza okuyamba...

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okussa mu bajeti y'eggwanga ssente ez'okudduukirira abasuubuzi ne bannannyini bizinensi...

Bobi wine ng'atambula n'abawagizi be e Nakasongola.

Abawagizi ba Bobi Wine aban...

Bobi Wine n'abawagizi batabuse ne poliisi oluvannyuma kw'okubawa ekifo ekyewala okukubiramu kampeyini olubigaanye...

Abakugu nga bakebera abavubuka.

Abavubuka babaleetedde akuu...

ABASAWO okuva mu ddwaaliro ly'e Kisugu n'abakungu mu kitongole kya Amerika ekya PEPFAR ne gavumenti batongozza...

Bazadde ba Amos Ssegawa 15, okuli Hajarah Nakitto ne taata we omuto Meddie Ssemugenyi nga bannyonnyola ow’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Juliet Logose engeri gye baatemuddemu omwana waabwe.

Be battidde abantu baabwe m...

MAAMA w'omuyizi wa Lubiri SS- Buloba, Amos Ssegawa 15, eyakubiddwaa essasi ng'ayita mu kibuga wakati mu kwekalakaasa...