TOP

'Abasajja mwe musinga okusasaanya siriimu'

Added 3rd September 2018

ABASAJJA be bakyasinze okutambuza akawuka ka siriimu oluvannyuma lw'okuzulibwa nga be bakyasinze okutya okwekebeza.

 Omutandisi wa TASO Noerine  Kaleeba ng'akwasa ekirabo abadde ssentebe wa TASO okumala emyaka mukaaga, Dr. Joseph Baguma  ( ayambadde essuuti  wakati) eyawumudde ku mukolo nga bajaguza okuweza emyaka 30 nga bajjanjaba abalwadde ba mukenenya n'okubabudaabuda.

Omutandisi wa TASO Noerine Kaleeba ng'akwasa ekirabo abadde ssentebe wa TASO okumala emyaka mukaaga, Dr. Joseph Baguma ( ayambadde essuuti wakati) eyawumudde ku mukolo nga bajaguza okuweza emyaka 30 nga bajjanjaba abalwadde ba mukenenya n'okubabudaabuda.

ABASAJJA be basinga okutambuza akawuka ka siriimu kuba bangi batya okwekebeza.

Dr. Micheal Bukenya akiikirira Bukuya era ssentebe w’akakiiko k’ebyobulamu mu Palamenti yategeezezza nti abasajja tebajjumbira kwekebeza siriimu n’okwejjanjaba ate ne basigala nga beegatta n’abakazi ne basaasaanya akawuka kano.

Ye yabadde omugenyi omukulu nga TASO eweza emyaka 30 nga bajjanjaba abalwadde ba siriimu.

Yagambye nti akawuka kasinga kukwata bavubuka abali wakati w’emyaka 13 ne 25 nga kyetaagisa okwongera okusomesa abantu ku bulwadde buno kyokka tebalina ssente.

Ku mukolo guno Dr. Joseph Baguma abadde ssentebe wa TASO yawummudde n’asikirwa abadde amumyuka we Annet Ssuubi.

Ekibiina kya TASO kyatandikibwa Noerine Kaleeba eyawadde obujulizi nga bba bwe yafa siriimu kyokka ye mulamu n’asaba abafumbo okwekuuma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...