TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Gavt. eyimbule abantu abakyali mu makomera - Dr. Lwanga

Gavt. eyimbule abantu abakyali mu makomera - Dr. Lwanga

Added 3rd September 2018

SSAABASUMBA w’Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye gavumenti okuyimbula abantu bonna abakyali mu makomera abaakwatibwa omwezi oguwedde mu Arua. Era asabye bakkirize omubaka wa munisipaali ye Mityana, Francis Zaake okugenda mu ddwaaliro ly’ayagala okufuna obujjanjabi.

Bino yabyogeredde mu Mmisa y’okukuza olunaku lw’ekifo ky’ekigo kya St. Mary’s Cathedral Lubaga eggulo.

Yeebazizza gavumenti olw’okukkirizza Bobi Wine okugenda ebweru okufuna obujjanjabi era n’agisaba okuyamba abantu bonna abaatuusibwako obuvune mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo wakati mu kwekalakaasa okuzze kubeerawo okuva ku byali mu Arua.

‘‘Abakuumaddembe abamu basudde obuvunaanyizibwa bwabwe ne badda mu kutulugunya n’okubatta’’, Dr.Lwanga bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti abantu abamu abazze batulugunyizibwa n’okukubwa amasasi babalanga bwemage y’ensonga lwaki gavumenti erina okubayamba.

Yakuutidde Abakristu okukuuma ebiragiro bya Katonda ne yennyamira olw’eddiini ewedde mu bantu abamu ne batuuka n’okweyisa ng’ensolo.

Yakubirizza Bannayuganda okubeera ab’ekisa eri abalala, okuyamba abali mu bwetaavu, okwagala Katonda ne bantu bannaabwe, okwogera amazima, n’okukomya ebikolwa eby’ettemu, obwenzi n’obulimba.

Yeebazizza abasawo mu ddwaaliro ly’e Lubaga olw’okukkiriza okujjanjaba abakaba Kyagulanyi ne Zaake wakati mu mbeera ey’obunkenke.

Yasiimye Obwakabaka bwa Buganda olw’okuwaayo ettaka okutudde Lutikko y’e Lubaga ne Ssekabaka Muteesa I okukkiriza Abamisani Amansi ne Mapeera okusaasaanya enjiri ya Kristu.

Emikolo gyatandise na kuggulawo ekizimbe kya myaliiro ebiri ekyatuumiddwa Pope Paul II Memorial Building ekyabbuddwaamu omugenzi omutukuvu Paapa John Paul II eyatema evvuunike lyakyo mu 1993, nga kwe kuli ne Bbanka ya Centenary n’ekisenge ekiteeserezebwamu (Parish Hall) eyabbuddwa mu mannya ga Ssaabasumba ne bizinensi ez’enjawulo nga bino abirambudde n’abiwa omukisa.

Omulangira David Kintu Wasajja eyabadde omugenyi omukulu ku mukolo guno yatenderezza Ssaabasumba olw’okukuuma omukululo gw’abaaliko Bassaabasumba ogw’okulwanirira eddembe ly’abantu, okubeeranga eddoboozi lyabwe n’okutumbula eby’enkulaakulaana.

Ssaabasumba yalangiridde okusoma ssappule okumala omwezi mulamba ng’abantu basabira eggwanga liddemu okufuna emirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...