TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Engeri Poliisi gye yalemeddwa okuggya sitatimenti ku Zaake: Bakira by'ayogera tebikwatagana

Engeri Poliisi gye yalemeddwa okuggya sitatimenti ku Zaake: Bakira by'ayogera tebikwatagana

Added 3rd September 2018

BAMBEGA ba Poliisi balemeddwa okukozesa omubaka Francis Zaake sitatimenti, olw’embeera gy’alimu nga by’ayogera tebikwatagana.

BAMBEGA ba Poliisi balemeddwa okukozesa omubaka Francis Zaake sitatimenti, olw’embeera gy’alimu nga by’ayogera tebikwatagana.

Bambega abaabadde mu kibinja ky’abantu mwenda ekyakulembeddwa D/SSP Francis Olugu, baagenze mu ddwaaliro e Kiruddu omubaka Zaake gyajjanjabirwa.

Baabaddde baakamala naye eddakiika nga 20, n’atandika okulogootana ekyabawalirizza okusooka okumuleka.

Baamubuuzizza ebyaliwo ne bye yalaba ng’emmotoka ya Pulezidenti ekubwa mu Arua kyokka yabadde tannabannyonnyola n’atandika okutabuka nga byayogera tebikwatagana.

Balooya be okwabadde Asuman Basalirwa ne Nicholas Opio, baabaddewo.

Olw’embeera y’omulwadde, balooya be ne bambega bakkiriziganyizza asooke afune obujjanjabi alyoke aggyibweko sitatimenti.

Aba famire ya Zaake bagamba nti bukya muntu waabwe atwalibwa Kiruddu tafunanga bujjanjabi.

Basaalirwa yategeezezza nti baabadde basuubira okufuna abasawo okuva e Mulago bakebere omulwadde ku Ssande kyokka ne bategeezebwa nti ku wiikendi tebabaayo nga kati balinda lwaleero olwa Mmande.

Kyokka Basaalirwa yategeezezza nti singa abasawo tebajja leero, ku Lwokubiri bagenda mu kkooti eragire Gavumenti ekkirize omuntu waabwe atwalibwe ebweru w’eggwanga afune obujjanjabi obwetaagisa.

Zaake bwe yaggyibwa ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe n’atwalibwa e Kiruddu, taddangamu kufuna bujjanjabi bwonna olw’ensonga nti yeggalira mu kasenge mwe yateekebwa ng’agamba nti, tasobola kwesiga musawo asindikiddwa gavumenti kumukolako okuggyako nga bakkirizza abamu ku basawo be ababadde bamujjanjaba mu ddwaaliro e Lubaga gye yasooka okutwalibwa.

Okusinziira ku mwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo, Zaake yatoloka ku baserikale okuva mu bitundu by’e Arua, ng’alina okutwalibwa mu kkooti avunaanibwe nga banne.

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, SSP Emilian Kayima wiiki ewedde yavaayo n’ategeeza nti Zaake yali agezaako okutoloka mu ggwanga ne bamukwatira ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Ssempijja ng'ayogera eri abalimi ba vanilla.

Abalimi e Lwabenge balaajan...

ABALIMI ba vanilla mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu beekubidde omulanga ewa Minisita avunaanyizibwa ku byobulimi,...

Shariff Lubega agambibwa okukwatibwa n'enjaga.

Azze okulaba omusibe bamuk...

OMUSAJJA abadde azze mu kkooti y'amagye e Makindye okweyimirira omusibe akwatiddwa lwa kusangibwa n'emisokoto gy'enjaga...

Enanga ng'alaga butida ababbi ze bakozesa.

Poliisi erabudde ku kabinja...

POLIISI erabudde abagoba ba mmotoka okwegendereza akabinja k'abavubuka akayinza okubakolako obulumbaganyi mu bulippagano...

Sheikh Ali

Abasiraamu mugondere amatee...

ABAKULU ku kitebe ky'Obusiraamu mu ggwanga bavuddeyo ne batangaaza nti Eswala ya Taraweeh ey'ekisiibo ky'omulundi...

Moreen ng'ali ku kitanda e Mulago.

Poliisi enoonya omuvubuka e...

POLIISI y'e Namasuba eri ku muyiggo gw'omuvubuka agambibwa okuyingirira omuwala e Namasuba n'amutema n'addusibwa...