
Kadaga ng'ali n'abamu ku bavubi
Kino kiddiridde Pulezidenti Museveni okulagira abajaasi okussibwa ku nnyanja za Uganda okulwanyisa envuba embi kyokka abavubi bamaze ebbanga nga beekokkola eryanyi abajaasi lye bakozesa kw'otadde n'okubatulugunya.
Sipiika Kadaga eyabadde akubiriza Palamenti yagambye ofiisi ya Katikkiro, Dr. Ruhakana Rugunda eteekeddwa okunnyonnyola amakubo gavumenti g’ekutte okulwanyisa abajaasi abatulugunya abavubi.
Ababaka abatali bamu okwabadde George Ouma (Bukholi) bagambye nti aba UPDF bawamba ebyennyanja by’abavubi ne bagattako okubakuba, okubawambako ebyennyanja n’okubaggyako ssente.
Yagambye nti ebyennyanja ebibabirirwamu obukadde mwenda byawambiddwa mu bizinga gye buvuddeko era omusango guli ku poliisi e Namayingo.
Ouma agamba nti ebyennyanja ebiwambibwa ku bavubi ate abajaasi babiguza banagagga.
Ouma yayongeddeko nti alina okutya nti ayinza okutuusibwako obulabe olw’okuyingira mu nsonga zino. Munne Geoffrey Macho owa munisipaali y’e Busia yagambye nti abantu baamukubye olube bwe yabadde abawaanira NRM ng’entabwe eva ku bajaasi ababatulugunya.
Omubaka wa UPDF, Lt. Gen Ivan Koreta (UPDF) yasabye Palamenti okuminkirizaako minisita akwatibwako aleete ekiwandiiko akisome mu lujjudde lwa Palamenti ku nsonga eno oluvannyuma lw’okukwatagana ne bakamanda b’amagye.