TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Avunaaniddwa gwa butemu lwa kwokyera mukazi we mu nnyumba

Avunaaniddwa gwa butemu lwa kwokyera mukazi we mu nnyumba

Added 22nd January 2019

OMUSAJJA agambibwa okwokera mukazi we n’abaana mu nnyumba ng’ayagala bafe atwale ennyumba gye baali bakaayanira asimbiddwa mu kkooti e Nakawa n’avunaanibwa omusango gw’okugezaako okutta omuntu.

 Kawala ng’ali ku kitanda. Kateregga ( ku ddyo) ng’atwalibwa mu kkkooti.

Kawala ng’ali ku kitanda. Kateregga ( ku ddyo) ng’atwalibwa mu kkkooti.

Mohammed Kateregga ow'omu Mbuya zooni lll mu Munisipaali y'e Nakawa agasimbaganye n'Omulamuzi Agnes Alum n'amusomerwa omusango guno.

Kigambibwa nti nga January 7, 2019, Kateregga ng'akozesa amafuta ga petulooli yakuma ku nnyumba ya Suzan Kawala omuliro ng'agezaako okumutta.

Kateregga omusango agwegaanyi n'asaba kkooti okweyimirirwa kyokka omuwaabi wa Gavumenti, Pamela Alogot n'awakanya okusaba kuno n'ategeeza nga bwe balina obujjulizi bwe bakuhhaanya obukwata ku musango guno ate n'omuntu gwe yatuusaako obulabe akyajjanjabirwa mu ddwaaliro e Mulago ng'ali ku byuma mw'assiza.

Omulamuzi Alum akkiriziganyizza n'okusaba kwa Alogot n'agaana Kateregga okweyimirirwa n'amutegeeza nga bw'alinda oludda oluwaabi okukomekkereza okunoonyereza era n'amusindika ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga nga February 4, 2019.

Oluvannyuma lwa kkooti okwabuka abooluganda lwa Kawala beemulugunyizza eri Omulamuzi Alum ne bategeeza ng'abaana ba Kawala bwe bali mu mbeera embi singa Kateregga ayimbulwa ayinza okubatuusaako obulabe.

Omu ku baana bano eyaleeteddwa mu kkooti e Nakawa yabadde mu mbeera mbi nga talya era bamuggye mu ddwaaliro e Mulago gy'abadde ne maama ng';ajjanjabibwa.

Emmanuel Tumukunde omu ku booluganda lwa Kawala yategeezezza nti abafumbo bano baludde nga balina obutakkaanya mu maka obwavaako ne Kateregga okusenguka n'afuna ennyumba endala gye yapangisa.

Obutakkaanya buno bwava ku bwannannyini bw'ekifo Kawala we yali abeera kubanga buli omu yali agamba nti ye yagulawo.

Tumukunde agambye nti Kateregga yasalawo okwagala okutta Kawala asobole okwezza ennyumba eno wamu ne poloti era ne bwe baali bamukutte yagezaako okugulirira abaserikale bamuleke adduke asobole okuwona omusango.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...

Ebinnya bitabudde abakolera...

Abasuubuzi, abasaabaze ne baddereeva mu ppaaka ya takisi eya Usafi batabuddwa olw'ebinnya ebiri mu kifo kino ng'enkuba...