TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri abaserikale gye bezza eby'obugagga bya Katongole ne bamuyungako ebisango gy'ettemu ly'abawala b'e Ntebe

Engeri abaserikale gye bezza eby'obugagga bya Katongole ne bamuyungako ebisango gy'ettemu ly'abawala b'e Ntebe

Added 26th January 2019

OMULAMUZI wa Kkooti Enkulu Wilson Kwesiga okwejeerezza omugagga w’e Ntebe, Ivan Katongole amanyiddwa nga ‘Jenas’ ku misango gy’okutta omuwala, yasoose kutegeeza nti, yenna eyalina obuvunaanyizibwa bw’okunoonyereza ku musango yakola omulimu ogukyasinze okudibagibwa era omubi.

 Omugagga Ktongole eyejjeerezeddwa. Ku ddyo ye ofiisa Bakaleke

Omugagga Ktongole eyejjeerezeddwa. Ku ddyo ye ofiisa Bakaleke

Yagambye nti, okunoonyereza okwakolebwa kwali tekugasa, kwatwala ssente nnyingi ate nga tekulina makulu okwali kusobola okwewalika.

Yagasseeko nti, okunoonyereza kwakolebwa na bukyayi kubanga ku bajulizi mukaaga oludda oluwaabi be lwaleeta okulumiriza Katongole, tekuli wadde omu yawa bujulizi buteeka Katongole mu kifo we battira omuwala Rose Nakimuli eyali asiba enviiri oba okukakasa nti, ddala yeenyigira mu butemu.

Katongole yejeereezeddwa ku Lwokuna Omulamuzi Kwesiga n'amulagira adde mu maka ge yeewummulire kubanga talina musango gwonna gwe yazza ebibadde bimuvunaanibwa, temuli nsa bijweteke.

Katongole yakwatibwa mu August wa 2017 ku bigambibwa nti, ye yali emabega w'okutta abawala mu Katabi Town Council ne Nansana mu Wakiso.

Yasooka kuggalirwa ku poliisi y'e Ntebe gye yamala essaawa mbale ne bamutwala mu kaduukulu e Nalufenya.

Omulamuzi Kwesiga okumwejjeereza, abadde amaze omwaka mulamba n'emyezi etaano mu kkomera e Kigo.

ENGERI GYEBAAMUYUNGA KU TTEMU LY'ABAWALA

Katongole y'omu ku bavubuka abato abaali bayitimuse mu busuubuzi e Ntebe.

Bizinensi ze, za kusuubula byennyanja ku mwalo e Kasenyi wabula okuggaggawala, ssente yaziggya mu kusuubula nnuuni za mpuuta abamu ze bayita emmondo.

Ennuuni erina akatale akamaanyi mu mawanga ageebweru naddala China. Mu Uganda, kkiro y'ennuuni embisi, bagigula ssente 700,000/- ate kkiro enkalu ku katale e China, egula ddoola 8,000 (mu za Uganda, 27,000,000/-).

Rogers Kaweesi kitaawe wa Katongole agamba nti, mutabani we ebizibu byonna bye yafuna, byasibuka ku bizinensi ye eyali esikiriza abantu abatali bamu.

Kaweesi alumiriza omu ku ba Genero (amannya tugasirikidde) gw'agamba nti mutabani we bwe yali tannakwatibwa, yamutumira abamu ku bakozi be ng'ayagala bakolagane mu bizinensi.

Agamba nti, yali mwetegefu bizinensi okugiteekamu obuwumbi butaano nga Katongole akola bw'azzaayo mutabani we kye yagaana.

"Awo ebizibu we byava ekyaddirira mutabani wange kukwatibwa n'aggalirwa nga bamulumiriza nti, y'ali emabega w'okutta abawala", Kaweesi bwe yagambye.

MINISITA JEJE AWEMUKA

Omwaka oguwedde, Minisita w'ensonga z'omunda, Gen. Jeje Odongo bwe yali mu Palamenti yategeeza nti, balina obujulizi obumala okukakasa nti, Katongole ye yali emabega w'okutta abawala.

Yagamba nti, bakakasa nti Katongole bino yali abikola kunyweza nzikiriza ya ‘Illuminati' n'agattako nti n'abamu ku basibe be baamukwata nabo, baabasanga ne ffoomu ezaabaweebwa Katongole okubayingiza mu ‘Illuminati'.

Kyokka, obujulizi Odongo bwe yalumiriza nti babulina, tebwaleeteddwa mu kkooti!

BONGEDDE OKULUMIRIZA BAKALEKE

Famire ya Katongole, okukwatibwa kw'omuntu waabwe n'okumusibako emisango, kuteeka kw'eyali omuduumizi wa poliisi mu Kampala South Siraje Bakaleke eyadduka mu ggwanga.

Kaweesi yagambye nti, Katongole bwe yagaana okukolagana ne Genero mu bizinensi, waayita omwezi gumu ne batandika okufuna amasimu agabatiisatiisa okuva ewa Bakaleke.

Yagasseeko nti, baali bagumu kubanga bizinensi yaabwe yali mpandiise mu mateeka ng'ebiwandiiko byonna babirina.

Bwe baakwata Katongole, Kaweesi alumiriza nti, Bakaleke yakulemberamu abaserikale ba poliisi abalala ne batwala buli kimu kye baasanga awaka ne mu bizinensi era kigambibwa nti, ebintu ebyatwalibwa bibalirirwamu akawumbi kalamba kyokka tekuli n'ekimu kye baatuusa poliisi e Ntebe.

BAKAKA MUKAZI WE AMULUMIRIZE

Famire egamba nti, abaserikale bwe baanoonya obujulizi ne bubabula, baasalawo okukozesa mukazi wa Katongole ayitibwa Kemirembe y'aba amulumiriza.

Kemirembe baamusuubiza obukadde 250 agende mu kkooti alimbe nti, bba yali ayagala kusaddaaka mwana waabwe omulenzi.

Kemirembe yategeezezza nti yagaana ne bamutiisatiisa nti bagenda kuwamba mutabani we bw'aba takkirizza kuteeka mukono ku mpapula ze baali bamuwadde bazitwale mu kkooti ng'obujulizi.

Yagambye nti, olw'obwesige bba bw'amulinamu n'engeri gye batobye okutuuka we batuuse, yagaana kye baali bamulagira.

Katongole we bamuyimbulidde ng'ebintu bye ebisinga byagootaana ne bizinensi ze zaali zaayimirira.

Ssente ezaali ku akawunti eziri mu buwumbi, abaserikale baazeegabanya zonna!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...