
"Mmotoka yava ku mukono gwayo n'ejja n'eyita eri ezidda e Mityana n'entomera ne ngwa mu luguudo wakati. Wano nnamalawo eddakiika nga 30 nga mmotoka ziyimiridde.
Nnalaajana bannyambe kyokka abantomera mu kifo ky'okunnyamba baabuuza abaaliwo nti, oyo gwe tutomedde y'ani, ne babaddamu nti wa bodaboda ne basimbula ne bagenda.
Abatuuze be baafuna takisi ne banjoolayoola okuntwala mu ddwaaliro.
Kkamera za poliisi zonna zaali ziraba. Oluvannyuma abaserikale ba poliisi bajja ewange ne bahhamba nti bajja kundabirira.
Baabalirira ne bakkaanya obukadde buna, naye okuva lwe baagenda siddangamu kubalabako.
Kyokka sikyakola, mbeera waka nina abaana basatu balina okusoma n'ennyumba baagingobamu era wano bansuza busuza.
Nagenda mu ddwaaliro ne bansaba obukadde 2.5 okuntereeza eggumba lino era buli lunaku mmira eddagaala lya 10,000/- lnaye nga nsanga obuzibu bwamaanyi kubanga sikola.
Naddayo ku poliisi nga mbasaba obuyambi, bahhamba nti tebammanyi era emmotoka yaabwe si ye yantomera. Nabasaba batunule ku kkamera zaabwe kubanga we bantomerera zaaliwo balabe oba nze nnali mu nsobi wabula bangoba bugobi.
Ye Richard Mukasa ng'ono y'amujjanjaba agamba nti omusajja ono mulwadde we era y'amuyunga kale yamulaba nga talina ssente n'asaalawo amuwe omuzigo.
Ye amyuka omwogezi wa poliisi agamba nti poliisi ekola buli kyetaagisa okulaba ng'emalawo obumenyi bw'amateeka naye kkamera ezimu tezikola kyokka ate ezo ezikola zirina abazifuga nga buli kimu kya mitendera.
Noolwekyo, si kyangu kumala gagenda ne bakuwa bwino eyakwatiddwa kyokka ate ssinga omuntu abeera agguddewo omusango nga tulaba ng'obujulizi buli mu kkamera tumufuna ne tumweyambisa mu kkooti.
Okugeza, abatta owabodaboda twabakwata nga tweyambisa kkamera, kale Bannayuganda mbakubiriza okugula kkamera baziteeke ku nnyumba zaabwe era bazigatte ku zapoliisi ez'oku nguudo ng'omuntu bw'aba n'obuzibu tulaba era ne tumuyamba.