TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Ekkoligo lya Amerika ku Kayihura Ababaka boogedde ku kya Amerika okussa nnatti ku Kayihura littukizza ebya Kaweesi ne Kagezi

Ekkoligo lya Amerika ku Kayihura Ababaka boogedde ku kya Amerika okussa nnatti ku Kayihura littukizza ebya Kaweesi ne Kagezi

Added 17th September 2019

EKKOLIGO Amerika lye yatadde ku Gen. Kale Kayihura littukizza ensonga z’okutemulwa kwa Kaweesi ne Kagezi, ng’abaakwatibwa bagamba nti beetegefu okumulumiriza ku kulinnyirira eddembe ly’obuntu ng’ayagala bakkirize emisango gye baali tebamanyiiko.

 Kayihura ng’akyali omuduumizi wa poliisi.

Kayihura ng’akyali omuduumizi wa poliisi.

Emu ku nsonga Amerika gye yeesigamyeko okuyisa ebiragiro ebigaana Kayihura n'aba famire ye wamu n'abaana okulinnya ekigere kyabwe mu Amerika kwe kutulugunya n'okulinnyirira eddembe ly'obuntu, ne banokolayo ebyakolebwanga mu kkomera ly'e Nalufenya.

Ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde nga September 13, 2019, minisita w'ensonga z'ebweru mu Amerika, Michael R. Pompeo yayisizza ekiwandiiko ekirambika nnatti ze baatadde ku Kayihura ezizingiramu n'okubowa ebintu byonna by'anaasangibwa alina mu Amerika era ebiragiro bizingiramu n'okussa envumbo ku akawunti z'ayinza okuba ng'alina mu Amerika n'aba famire ye.

Wabula Kayihura yagambye nti talina kintu kyonna mu Amerika. Aba famire ya Kayihura abagenda okukosebwa nnatti zino kuliko mukazi we Angella Umurisa Gabuka, muwala waabwe Tesi Uwibambe ne mutabani waabwe, Kale Rudahigwa.

Pompeo yagambye nti, Kayihura ng'ayisa ebiragiro mu kitongole kya Flying Squad ekinoonyereza ku misango eminene n'okuyigga abatemu, yeenyigira mu kutulugunya abantu.

Ono yagambye nti, okusalawo okuwera Kayihura n'aba famire ye okulinnya mu Amerka yakwesigamizza ku kunoonyereza kwe baakoze ne bamufunako obujulizi.

Kyokka Kayihura bino yabiwakanyizza mu kiwandiiko kye yasindikidde bannamawulire n'ategeeza nti, okunoonyereza ku ttemu lya Kagezi ne Kaweesi, Flying Squad yakolera wamu n'ekitongole ky'Abamerika ekikessi ekya Federal Bureau of Investigations (FBI).

Ensonda zaategeezezza nti waliwo lipoota bbiri ez'enjawulo ezaakolebwa aba FBI ku kufa kwa Kagezi ne ku kutemulwa kwa Kaweesi era zombi nga zikuba ebituli mu poliisi eyali eduumirwa Kayihura.

Mu kusooka FBI nti yayingira mu kunoonyereza okwo nga Kayihura amaze kubategeeza nti ateebereza nti batujju ba ADF be bali emabega w'obutemu obwo, wabula nti FBI bye yazuula byali tebiraga kakwate konna wakati w'abatujju n'obutemu obwo obw'emirundi ebiri.

Obutemu obwo bwagobererwa okutta Bamaseeka era ng'ensonga yeemu Kayihura gye yawanga ate ne ku kutta Maj. Mohammed Kiggundu era ensonga ya ADF Kayihura gye yawa.

Obutemu obwo bwawerekerwa okuyoola abantu naddala Abasiraamu abagambibwa nti baalina kye baali bamanyi, wabula beemulugunya nti baatulugunyizibwa nnyo.

ABANTU 1,658 BAATULUGUNYIZIBWA

Lipooti eyakolebwa ekitongole kya Gavumenti ekirwanirira eddembe ly'obuntu mu Uganda ekya Uganda Human Rights Commission (UHRC) eya 2017, yalaga nti abantu 1,658 be baatulugunyizibwa wakati wa 2012 ne 2016.

Emyaka gino, mwe mwasinga okubeera ettemu ery'amaanyi okusingira dala Bamaseeka n'omuyaga gw'ebyobufuzi.

UHRC obuvunaanyizibwa yabuteeka ku bitongole by'ebyokwerinda naddala poliisi eyatulugunya abantu 1,016 Mu kiwandiiko kye yagambye nti, talagirangako muserikale yenna kutulugunya muntu n'ategeeza nti, okumuteekako ekkoligo tekyakoleddwa mu bwenkanya kubanga tebaamuyise kumubuuza ludda lwe.

Mu 2018 omuduumizi wa poliisi Martin Okoth Ochola nga yaakayingira ofiisi we yasalirawo okuggala ‘ekkomera' ly'e Nalufenya, ng'agamba nti okwemulugunya ku kifo ekyo kwali kususse.

Okugeza, abasibe abaakwatibwa ku musango gw'okutemulwa kw'eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi nga March 17, 2017 e Kulambiro bwe yali agenda ku mulimu, bonna baavaayo baleenya.

Shaban Ssenfuka omu ku baakwatibwa ku musango guno, bwe yatwalibwa mu kkooti e Nakawa mu maaso g'omulamuzi Noah Ssajjabbi, yaggyamu essaati n'alaga ebisago bya ppaasi eby'amaanyi ebyali bimutuusiddwaako akkirize nti ye yatta Kaweesi.

Ssenfuka teyali yekka, n'abasibe abalala abaakwatibwa ku musango gwa Kaweesi, baalaga ebisago ku ngalo, ebigere, mu mugongo n'ebitundu byomubiri ebirala ebyawaliriza omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Margret Oguli okulagira abasibe bonna abaali batulugunyizibwa okuliyirirwa obukadde 80 buli omu nga October 12, 2017.

Ku Kagezi, Poliisi yakwata abantu abasoba mu 50 be baali balumiriza nti be baali emabega w'ettemu lino, abasinga ku bano, baali Basiraamu oluvannyuma lwa mukama waabwe okutegeeza nti, abayeekera ba Allied Democratic Forces (ADF) abaali bakulemberwa Jamir Mukulu be baali basse Kagezi.

Ssaabawaabi wa Gavumenti, Mike Chibita yalagira abantu bonna abaali ku fayiro ya Kagezi bayimbulwe kubanga poliisi teyalina bukakafu bwonna.

Bano nabo baali batulugunyiziddwa ekisusse. Chibita yanenya poliisi okukola okunoonyereza okutaali ku mulamwa ne baleka layini entuufu eyandibadde ebatuusa ku batemu.

Omwezi oguwedde, Paddy Sserunjogi amanyiddwa nga Sobbi eyaliko omubbi kyokka ng'agamba nti kati yalokoka, yavuddeyo n'ategeeza nti, mu poliisi mwennyini, mwe mwali abantu abatta Kagezi.

Ono yategeezezza nti, olukwe lw'okutta Kagezi baalupangira mu kkomera e Luzira era Abdul Ssemuju eyali yakazibwako erya Minana, Nixon Agasirwe, Ronald Afrika Gabula n'abalala be batta Kagezi.

Yagambye nti, misoni eno, yagimanyaako ng'ali mu kkomera e Luzira era baagenda okutta Kagezi, ye yali musibe kyokka abaapanga okumutta baali mu kkomera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuserikale ng'ayingiza Mabaale  mu kaduukulu.

Eyateeze muliraanwa n'amute...

POLIISI y’e Mpigi ekutte omutuuze n’emuggalira lwa kukakkana ku muliraanwa we n’amutema ejjambiya ku nsingo n’ekigendererwa...

Asooka ku kkono ye mumyuka w'akulira yunivasite ya UCU, Prof. Aaron  Mushengyezi ate asooka (ku ddyo) ye Ndyanabo.

Vision Group enywezezza enk...

YUNIVASITE ya Uganda Christian University eyongedde okunyweza enkolagana yaayo ne Vision Group. Enkolagana eno...

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...