TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti gye yamulagira ku ttemu

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti gye yamulagira ku ttemu

Added 19th October 2019

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe okusaanyaawo abamenyi b’amateeka mu Kampala n’emiriraano.

 Maj. Gen. Sabiiti

Maj. Gen. Sabiiti

Kino bakikoze okutuukiriza ekiragiro Pulezidenti kye yabawa okumalawo bumenyi bw'amateeka mu bwangu. Mu bye bamwanjulidde mulimu ebibinja by'abamenyi b'amateeka n'olukalala lw'abamenyi b'amateeka ab'omutawaana.

Baamulaze n'ebifo abamenyi b'amateeka mwe basinziira okutegeka ennumba zaabwe wamu n'obufo obw'omutawaana abatemu n'abazigu bwe batera okukozesa mu kuteega abantu be babatuusaako obulabe n'okunyagulula.

Muzeyi omumyuka w'omuduumizi wa poliisi ye yakulembedde badayirekita okwabadde aduumira ebikwekweto Asuman Mugenyi, akulira ekitongole ekikessi (Crime Intelligence) Col. Sserunjogi Ddamulira, akuliira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango Grace Akullo ne boofiisa ba poliisi abalala nga Pulezidenti baamusisinkanye ku Lwokuna e Ntebe.

Kino kiddiridde Sabiiti n'abakulira ebitongole mu poliisi okutuula okumala ennaku bbiri ne bakola lipooti ne balaga ettemu eribaddewo mu ggwanga, ababadde balyenyigiramu n'engeri gye babadde balikolamu n'engeri gye lisobola okumalibwawo.

Pulezidenti Museveni yawadde Sabiiti ennaku bbiri zokka okutema empenda ku ngeri abatemu naddala abeebijambiya abatigomya abantu mu ggwanga gye basobola okumalwawo.

Pulezidenti Museveni we yaviriddeyo okuwa ekiragiro ng'abazigu baakamala okulumba Abazungu e Mengo ne babatemaatema ne babba ne ssente obukadde 26, amasimu mwenda ne kompyuta munaana.

Abakulira ebitongole mu poliisi baatudde okumala ennaku bbiri nga batunuulira ekivuddeko ettemu n'obulumbaganyi obw'abazigu b'obutayimbwa n'ebijambiya okweyongera n'okuzuula obubinja obubikola gye buzze bumelukawo n'ebitundu mwe bukolera.

Omumyuka w'omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Polly Namaye yagambye nti abakulira ebitongole bya poliisi byonna baatudde bukubirire okusala amagezi ku ngeri y'okulwanyisa ettemu n'obumenyi bw'amateeka bwonna.

Namaye yagambye nti, ebimu ku bintu ebyatunuuliddwa mu lipooti eyakoleddwa kuliko olukalala lw'obubinja obulumba n'okubba abantu nga bukozesa ebijambiya n'emmundu n'aba bulimu, engeri obubinja buno gyebutegekamu ennumba zaabwo, n'okumanya ebifo eby'omutaawana ebisangibwa mu buli kitundu ebitwalibwa poliisi ez'enjawulo ( Dark Spots) n'ebifo abamenyi b'amateeka gye beekukuma ne gye batuuza enkiiko zaabwe mwe bateeseza okulumba abantu.

Mu Kampala mwokka mulimu obubinja bw'ababbi okuli ab'ebijambiya, ababbisa emmundu, ab'obutayimbwa n'obubinja bw'abatemu abapangisibwa okutta abantu obusukka mu 20.

Ku bubinja buno kuliko, Dog Tulumbe, B13, Kifeesi, Bukolwa Boys, Lukanga, Bukolwa Crew, Bad Boys, Baboon n'obulala bungi.

Obulumbaganyi n'ettemu ebisinze okukolebwa ku bantu mu bbanga ery'emyezi ebiri egiyise nga businze kubeera mu kitundu kya Kampala n'emirirwano.

Abantu abalumbiddwa

  • Joseph Baguma ne mulamu we Peninah Nsimenta abazigu baabayingirira ne babanyagako obukadde 100.
  • Crispus Mugabe ow'e Seeta - Kasangati ng'abazigu b'ebijambiya baamuluma nga October 13, 2019 ne bamubbako ebintu by'omu nnyumba n'emmotoka nnamba UBF 052F. Poliisi yabagoba n'ekwatako Joshua Kanyoro eyalonkoma banne n'omunyago gye baali bagukwese.
  • Akulira okunoonyereza ku misango ku poliisi ya CPS, Joshua Tusingwire abazigu baamukuba bwe yali akedde okudduka.

Abantu abattiddwa kuliko; Deus Mbazira ow'e Najjanankumbi, James Kalumba ow'e Kajjansi eyali abuze omulambo ne baguzuula mu kisenyi, Hussein Mutyaba omuvuzi wa bboodabbooda eyakubwa amasasi e Bulaga ng'agoba abaali babbye aba Mobile Money ne Meddie Kahuma eyattibwa e Ggaba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Chiko bamuwonyezza okugwa m...

Kazannyirizi Frank Mubiru amanyiddwa nga Chiko awonye okugwa mu masiga n'okulya ebikomando. ‘‘Bannange ekintu...

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...