TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Aba Uganda Breweries bakulembedde kaweefube w'okuzzaawo ebibira: Baakusimba emiti obukadde 40!

Aba Uganda Breweries bakulembedde kaweefube w'okuzzaawo ebibira: Baakusimba emiti obukadde 40!

Added 30th October 2019

OKUNOONYEREZA okukolebwa abakugu kulaga nti mu Uganda bwe wataabeerawo kikolebwa okutaasa emiti egitemebwa, mu myaka 14 egijja mu Uganda temugenda kubeeramu miti.

Okukung'aanya ebitongole eby'enjawulo okutuukiriza kaweefube obo kuwomeddwaamu  aba Uganda Breweries Limited.

Alvin Mbugua akulira Uganda Breweries asisnzidde ku Serena Hotel mu Kampala n'ategeeza nti omwaka gwa 1980 ebitundu ebibikkiddwa ebibira ku ttaka lya Ugand abyali 24 ku 100 kyokka 2015 wegutuukidde nga bisigadde ebitundu 10 ku 100.

Kibeere kitegeeza nti oluvannyuma lw'emyaka 10 okuva olwa leero Uganda egenda kubeera nga terina bibira singa tewabeerawo kikolebwa.

Wano waabasinzidde okutongoza kaweefube okukunga bannayuganda ku lunaku lw'okusimba emiti, basimbe emiti obukadde 40 mu ssaawa munaana zokka.

Omuwandiisi ow'enkalakkarira mu minisitule y'amazzi n'obutonde Alfred Okot Okidi bwe ategeezezza nti gavumenti efubye okukola ekisoboka nga n'abagabi b'obuyambi bagikwatiddeko kyokka sente z'eteekamu tezimala.

Akunze buli muntu  okufuba okukwatirako ku kaweefube ono okutaasa Uganda ereme okufuuka eddungu. Omukolo gubaddeko abakulira ebitongole n'amakampuni ag'enjawulo mu Ugand an'ebweru waayo.

Omubaka wa Bungereza mu Uganda Peter West agambye nti Bungereza ezze ewagira kaweefube w'okuzzaawo ebibira naddala mu buvanjuba bwa Uganda gye basimbye emiti ku ‘hectares' 109 mu Navugulu Central Forest Reserve.

Ekyetaagisa kwe kusomesa abantu obulabe obuli mu kutema emiti okwokya amanda n'okubayigiriza nti okufumba ku gas kiyinza okubeera nga si kya buseere nga bwekiri ku manda agasanyawo obutonde.

alt=''

 

alt=''

 

 

alt=''

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...