TOP

Ensonga lwaki Museveni yakyusizza baminisita

Added 16th December 2019

NG’EBULA ebbanga ttono okulonda kwa 2021 kubeerewo, Pulezidenti Museveni yalangiridde kabineeti esookedde ddala mu kiseera era esuubirwa okumuwanguza akalulu.

 Pulezidenti Museveni ne minisita Anywar eyasala eddiiro okuva mu FDC.

Pulezidenti Museveni ne minisita Anywar eyasala eddiiro okuva mu FDC.

Kabineeti empya erimu baminisita aboogerwako ng'abakuliridde okuli; Ali Kirunda Kivejinja 84, ne Gen. Moses Ali 80. Baabagasseeko abavubuka nga Hamson Denis Obua 39, eyaweereddwa obwaminisita omubeezi ow'ebyemizannyo ne Peter Ogwang 36, minisita omubeezi owa tekinologiya.

Abamu ku baminisita abaasuuliddwa nga Irene Muloni abadde owamasannyalaze n'ebyobugagga eby'omu ttaka ne Monica Azuba Ntege abadde owebyetambula omwaka guno tegubagendedde bulungi.

Azuba yasanga obuzibu mu by'okugula ennyonyi z'eggwanga olw'emivuyo egyetobekamu n'atuuka n'okwetondera ababaka ba Palamenti. Ennyonyi zaali zifuukidde ddala gannyana ekintu ekyali kiteeka Gavumenti mu kaseera akazibu n'okugirabisa obubi. Yasikiddwa Mary Kitutu abadde minisita omubeezi ow'obutonde bw'ensi.

Ntege Azuba eyasikisiddwa Katumba Wamala asanze akaseera akazibu naddala mu kiseera kino nga minisitule gy'abadde akulembera bagirumiriza okubulankanya obuwumbi 24 ez'okuzimba ebbibiro lya Isimba Dam.

BIRIMU OKUSIIMA

Okulondebwa kwa Raphael Magyezi (Igara West) eyakulemberamu ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti kyatunuuliddwa ng'okumusiima. Yalondeddwa ku bwaminisita bwa Gavumenti ezeebitundu.

Polof. Sabiti Makara ow'e Makerere yunivasite yagambye nti ekikulu kye yalabye kwe kusiima abantu abaawagira eky'okuggya ekkomo ku myaka.

Jackson Kafuuzi (Kyaka South) eyasemba ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka kati ye mumyuka wa Ssaabawolereza wa Gavumenti.

Sabiti agamba nti mu mutima gw'okusiima era Pulezidenti mwe yalondedde abantu nga Beatrice Anywar (Kitgum Munisipaali) eyali owa FDC kyokka n'asala eddiiro n'awagira n'ekyokuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Abavubuka abalala okuli; Hamson Denis Obua ne Peter Ogwang nabo yaboogeddeko ng'abaakola ennyo okumatiza eggwanga nga Pulezidenti bw'akyetaaga okwongera okufuga.

Wadde ng'abakadde bangi bakyali mu kabineeti , kyokka ye Makara agamba nti alaba nga bagenda babaggyako obuvunaanyizibwa.

Okugobwa kwa Nadduli, n'okukyusa Kahinda Otafiire okuva ku bwaminisita w'ensonga za Ssemateeka n'afuulibwa minisita w'amawanga g'obuvanjuba bwa Afrika yalabye ng'okumuseeseetula.

ABAWULIZE BALIDDE

Charles Rwomushana eyakolerako ekitongole ekiketta munda mu ggwanga ekya ISO, kabineeti empya yagirabyemu okusiima abaana b'awaka abaludde nga bawulize.

Okulondebwa kwa Judith Nabakooba (mukazi/Mityana) nga minisita omujjuvu owa tekinologiya yagambye nti baayagadde kumusiima kuba azze alaba obuwulize ne Molly Kamukama nga minisita omubeezi avunaanyizibwa okulondoola ebyenfuna bya Gavumenti .

Yagambye nti talina kyabasuubiramu nti baliko bye bajja okukyusa kuba obusobozi tebabulina, wabula baayagadde kubawaako balye kuba bakulidde mu mikono gya Pulezidenti azze abalera okutuuka awo.

Nabakooba nga munnamawulire omutendeke era eyaliko omwogezi wa poliisi mu ggwanga yatunuuliddwa ng'asobola ebyempuliziganya era nga y'agenda okubeera omwogezi wa Gavumenti ku nsonga ez'enjawulo.

Okulondebwa kwa Beatrice Anywar yeegatte ku Okello Oryem ne Betty Amongi akalaba ng'akabonero k'okumatiza abantu ba Acholi ne batambulira wamu era Pulezidenti asuubira okubakozesa mu kunoonya akalulu ka 2021.

KABINEETI EGUMYA ABAAGALA OKWEGATTA KU GAVUMENTI

Okusigala kwa Beti Kamya mu kabineeti nga minisita w'ebyettaka n'amayumba, Betty Amongi nga minisita wa Kampala ne Florence Nakiwala Kiyingi (minisita wa bavubuka n'abaana) kabonero akalaga nti Pulezidenti si mwetegefu kwefuulira bantu bamwegattako.

Mu kiseera kino ng'akalulu kabindabinda era nga Pulezidenti akyetaaga obuwagizi okuva mu b'oludda oluvuganya kyandibadde kitiisa abalala abandyagadde okumwegattako nga bamulaba ng'akozesa abantu n'abasuula.

Okusembeza Beatrice Anywar nako kabonero akakasa nti Pulezidenti asiima abantu ababeera abeetegefu okumwegattako.

Frank Tumwebaze okufuulibwa minisita w'ekikula ky'abantu era nga y'avunaanyizibwa ku bavubuka kyagendereddwaamu okwanguyiza abavubuka okufuna ssente. Obutafaanana nga Janat Mukwaya abaddewo, Tumwebaze asemberedde nnyo abavubuka bw'omugeraageranya ne Janat Mukwaya gwe yasikidde.

Olw'okuba nga y'omu ku bakaada abafaayo ennyo okutuukiriza mukama we ky'aba amutumye mu buli mbeera, asuubirwa okukozesa ssente zino okukyusa obulamu bw'abavubuka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...