TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Engeri Mukoka gye yakuluggusizza emmaali ng'abasuubuzi mu Kampala nga balaba!

Engeri Mukoka gye yakuluggusizza emmaali ng'abasuubuzi mu Kampala nga balaba!

Added 16th December 2019

Enkuba eyakedde okufukumuka ku Lwomukaaga yavuddeko mukoka ow’amaanyi okukuluggukira mu maduuka g’abasuubuzi omwabadde; agasabgibwa ku Blue Room, Qualicel, Nabukeera, Ddembe ne ppaaka enkadde era abasuubuzi abasoba mu 500 ne bafiirwa emmaali yaabwe omwabadde; engoye, engatto, ensawo ebyokwewunda by’abakyala n’ebirala bye baabadde bategekede bakasitoma baabwe ababinoonya mu nnaku enkulu.

 Ebifaananyi bya Moses Kigongo

Ebifaananyi bya Moses Kigongo

ABASUUBUZI bakaabye n'okulaajana nga balaba emmaali ya Ssekukkulu gye baabadde bapakidde mu maduuka gaabwe mukoka egitwala.

Enkuba eyakedde okufukumuka ku Lwomukaaga yavuddeko mukoka ow'amaanyi okukuluggukira mu maduuka g'abasuubuzi omwabadde; agasabgibwa ku Blue Room, Qualicel, Nabukeera, Ddembe ne ppaaka enkadde era abasuubuzi abasoba mu 500 ne bafiirwa emmaali yaabwe omwabadde; engoye, engatto, ensawo ebyokwewunda by'abakyala n'ebirala bye baabadde bategekede bakasitoma baabwe ababinoonya mu nnaku enkulu.

Abamu ku basuubuzi okwabadde Mary Namugambe ne Meddie Kasozi (abatunda ensawo z'abakyala ku Qualicel) baakukkulumidde KCCA ne kkampuni ya Sterling olwa kye baayise okuzimba emyala emifunda ku luguudo lwa Namirembe (olukolebwa mu kifo kino) ekiviiriddeko mukoka okubulwa w'ayita n'awaguza mu maduuka gaabwe.

 

Era ne basaba abakungu ba KCCA abalondoola emirimu okuvaayo bazuule oba pulaani y'oluguudo luno eyayisibwa y'egobererwa okutaasa abasuubuzi abakolera okumpi n'ekifo we luyita.

"Abalukola twabagamba nti bataddemu obwala butono obutasobola kutambuza bungi bwa mazzi agawanuka ku kasozi k'e Namirembe naye tebaatuwuliriza era tugenda mu kkooti", Musa Lutwama bwe yagambye.

Baategeezezza nti, buli nkuba lw'etonnya bafiirwa emmaali kubanga omusenyu n'ettaka ebyeyambisibwa okukola oluguudo luno bizibikira obwala amazzi ne ganjaala mu maduuka gaabwe.

alt=''
 

KU BLUE ROOM

Mu ngeri y'emu, omwala omunene ogubadde gusimibwa emabega w'ebizimbe bya bbanka ya Centenary Bank ne ppaaka ya ttakisi ku Namirembe Road gwayabizzaamu ekizimbe ky'omugagga Pius Mugalaasi ne kigwa.

Kyayabiseemu ebitundu bibiri era abantu abaakibaddemu n'abakibadde okumpi baasimattukidde watono okufa.

Bayinginiya b'ekitongole kya Gavumenti eky'amazzi ne kazambi babadde basima omwala bayiseemu ebigoma ebinene n'okwawula kazambi ava mu bizimbe bya bagagga okuva ku midumu egitambuza amazzi ekizimbe ne kyabikamu bibiri.

Kino kyatabudde abamu ku bakulembeze mu kitundu okwabadde kkansala William Ssemakula atwala omuluka ogwo ku ggombolola ya Kampala Central ne bagamba nti, ekizimbe kibadde kikadde era baagala omulimu gugende mu maaso n'okukolebwa.

 

Yawagiddwa ssentebe wa Central zooni Charles Oboth yategeezezza nti, KCCA esaana ekebere oba ebizimbe mu kitundu ekyo biri ku pulaani kyokka nga bwe bakebera, baagala okukola oluguudo kusigale nga kugenda mu maaso.

Kyokka abatuuze abalala balumbye bayinginiya b'ekitongole ky'amazzi okumala gasima omwala nga tebatunuulidde bizimbe bya bantu mwe bakolera.

"Tosobola kusima mwala muwanvu kumpi na kizimbe kya muntu nga tomaze kukakasa nti, tekigenda kukosebwa", James Taabalamule bwe yagambye.

Abalala baalumbye kkampuni ya Abubaker Technical Services ekola oluguudo luno okulwawo okulumaliriza n'okuleka ebinnya nga byonna bibikkule kyokka kkansala n'abawabula nti ekibadde kisibye, be bayinginiya b'amazzi abateekwa okusooka okuyisaamu omudumu.

Nannyini kizimbe Pius Mugalaasi owa kkampuni ya Mugalaasi Holdings yagambye nti bayinginiya baakoze ensobi nnene okusima okumpi n'omusingi gw'ekizimbe ne kiyiika. "Ekitongole kiteekwa okusasula ekizimbe kyange.

Buli yinginiya kino akimanyi nti bw'oba osima okumpi n'ekizimbe oteekwa okwegendereza n'otayonoona bintu era bw'oyonoona osasula", Mugalaasi bwe yagambye.

Yayombye nti ekkubo erimanyiddwa eryandibadde liyamba ebizimbe byonna ebiri mu kitundu ekyo, KCCA yakkiriza abagagga ne balizimbamu era omusango guli mu kkooti wakati wa kkampuni ya Mugalaasi Holdings Ltd. ne KCCA ogusaba ebizimbe bimenyebwe.

 

KCCA KY'EGAMBA

Yinginiya wa KCCA Andrew Sserunjogi yategeezezza nti, balagidde kkampuni ya Sterling Construction eyakwasibwa pulojekiti y'okukola oluguudo lwonna olwa Namirembe okuva ewa Bakuli okutuuka ku luguudo lw'e Ntebe ezibukule emyala kubanga gijjuddemu ettaka erizibikidde mukoka obutatambula.

Ku kizimbe ekyagudde, yagambye nti bagenda kwetegereza entabwe kwe yavudde kyokka kino tekigenda kuyimiriza mulimu ogugenda mu maaso era n'asuubiza nti, bagenda kwogera ne nannyini kyo ne bayinginiya ba KCCA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...

Minisita Namisango Kamya ng’atuuse mu kkanisa awakumiddwa olumbe.

Beti Kamya atuusizza obubak...

Minisita w'ebyettaka Beti Olive Namisango Kamya agenze ku kkanisa ya Abizzaayo e Kawaala n'atuusa obubaka bwa gavumenti...

 Ekkanisa ya Paasita Yiga esangibwa e Kawaala.

Poliisi eremesezza aba fami...

POLIISI eremesezza aba ffamire ya Pasita Augustine Yiga Abizzaayo okusuza omulambo gwe ku kkanisa eya Christian...