TOP

UNEB ennyonnyodde ku bigezo ebisazibwamu

Added 15th January 2020

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kirabudde abakulu b’amasomero ku bafere naddala mu kiseera kino ng’ebyava mu bigezo bya PLE eby’omwaka oguwedde bisulirira okufuluma enkya ku Lwokutaano.

 Kasule ng'ayogera

Kasule ng'ayogera

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kirabudde abakulu b'amasomero ku bafere naddala mu kiseera kino ng'ebyava mu bigezo bya PLE eby'omwaka oguwedde bisulirira okufuluma enkya ku Lwokutaano.

Omwogezi wa UNEB, Jennifer Kalule Musamba agambye nti okuva mu December w'omwaka oguwedde bazze bafuna okwemulugunya okuva mu bakulu b'amasomero agamu nga bwe waliwo abantu ababatiisatiisa nga ebibuuzo byabwe bwe bigenda okukwatibwa nti beenyigira mu bubbi bw'ebigezo, olwo ne babasaba ssente nti babitaase okukwatibwa.

Kalule akkaatiriza nti abantu bano bafere era abakulu b'amasomero basaanidde okubatwala ku poliisi.

Yategeezezza nti UNEB erina emitendera egigobererwa okutuuka ku kusazaamu ebibuuzo by'essomero era bwe basalawo okubikwata oba okubisazaamu tebalina ssente zonna ze basaba bannannyini masomero.

Amasomero gali ku bunkenke mu kiseera kino nga galindirira ekitongole ky'ebigezo okulangirira ebyava mu bibuuzo by'ekibiina ekyomusanvu ebyatuulibwa omwaka oguwedde ebigenda okufulumizibwa enkya ku Lwokutaano nga January 17, 2020.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...