TOP

Uganda enywezezza enkolagana yaayo ne Napel

Added 19th March 2020

“Napel lye ggwanga omuli ebibira n’ensozi ez’omulembe abantu gye basaanye okulambula omuli n’olusozi Everest olusinga obuwanvu mu nsi yonna. Njagala kweyambisa omukisa guno ogumpeereddwa nga tuli wamu ne minisitule y’ebyobulambuzi tuyige obukodyo bwe bakozesa okufuna ssente mu byobulambuzi naffe mu Uganda tufunemu,” Sudhir bwe yategeezezza.

 Omugagga Sudhir ne abambasada Jhabindra Aryal nga baggulawo ofiisi ye. Ebifaananyi byonna bya JOSEPH MUTEBI

Omugagga Sudhir ne abambasada Jhabindra Aryal nga baggulawo ofiisi ye. Ebifaananyi byonna bya JOSEPH MUTEBI

GAVUMENTI ya Uganda enywezezza enkolagana yaayo ne Napel, minisita w'ensonga z'ebweru Sam Kutesa n'awa Bannayuganda amagezi okukozesa omukisa guno okutumbula ebyobulambuzi, obulunzi n'obulimi gattako ebyobusuubuzi.

"Amawanga mangi gaagala okubeera n'ababaka abagakiikirira mu mawanga amalala naye nga tebalina busobozi.

Bwe ndaba ng'eggwanga lya Napel, lironze Sudhir Ruparelia alikiikirire mu Uganda ng'omubaka waalyo lirengedde wala kubanga ye muntu omutuufu alina obusobozi okutumbula ebyobusuubuzi n'obulambuzi mu mawanga gombi," bwatyo Kutesa bwe yagambye.

Bino Kuteesa yabyogeredde ku mukolo nnaggagga Dr. Sudhir Ruparelia bwe yabadde atongozebwa okufuulibwa omubaka (consul) wa Napel mu Uganda.

Sudhir yasoose kweyanjula ku minisitule y'ensonga z'ebweru mu butongole ng'ali ne amabasada wa Napel, Jhabindra Aryal.

Oluvannyuma bagguddewo ofiisi mw'anaakoleranga emirimu gino ku kizimbe kya Crane Chambers mu Kampala.

Oluvannyuma Sudhir yagabudde mikwano gye akabaga ku Kabira Country Club e Bukoto ku Lwokubiri ekiro.

Sudhir yagambye nti amanyi bulungi ebiyinza okugasa Bannayuganda noolwekyo nga bw'afuuse omubaka wa Napel mu Uganda, kigenda kwongera okumwanguyiza okutumbula ebyobusuubuzi n'obulambuzi mu Uganda ne Napel kuba enkolagana y'amawanga gombi yeeyongedde.

"Napel lye ggwanga omuli ebibira n'ensozi ez'omulembe abantu gye basaanye okulambula omuli n'olusozi Everest olusinga obuwanvu mu nsi yonna. Njagala kweyambisa omukisa guno ogumpeereddwa nga tuli wamu ne minisitule y'ebyobulambuzi tuyige obukodyo bwe bakozesa okufuna ssente mu byobulambuzi naffe mu Uganda tufunemu," Sudhir bwe yategeezezza.

Yasabye Bannayuganda okukozesa omukisa guno batuukeko e Napel balabe bye bayinza okusuubulagana.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...