
ABAWONYE Corona 4,000 mu kkanisa ya Shincheonji Church e South Korea beeyamye okuwaayo omusaayi gwabwe gukozesebwe mu nkola eya plasma okujjanjaba abalala.
Bano bagamba nti abantu 4,000 buli omu bw'awaayo omusaayi oguwera 500ml bw'obeera waakugusasulira sente gubalirirwamu obuwumbi bwa ddoola z'Amerika 83.
Omukungu mu kkampuni ya Green Cross Pharma e South Korea yategeezezza nti kino kyakugonjoola ebbula ly'omusaayi mu bali mu kunoonyereza ku ddagala lya Corona.

Eyatandikawo ekkanisa ya Shincheonji Church, Man Hee Lee yagambye nti abagoberezi mu kkanisa eno baabakubirizza buli asobola agabe omusaayi mu nkola ya bwannakyewa kyeyagalire.
Lee yagambye nti nga Yesu bwe yawaayo omusaayi gwe okutaasa obulamu bw'abantu naye akakasa nti omusaayi gw'omuntu gusobola okubeerako kye gukola okutaasa obulamu bw'omulala.
Ekirwadde kya Corona ekyabaluseewo mu nsi yonna ku ntandikwa y'omwaka guno kyagoya nnyo abantu b'e South Korea kubanga baakyazanga abantu abalala okuva e China gye bwatandikira ngatebannaba kumanya.

Amyuka atwala eby'obulamu Kim Kang-lip yakakasizza nti bakakasa ng'omuwendo gw'abantu gwe bawaddeyo mutuufu okumalawo ekizibu.
South Korea yalangirira abantu 12,535 abaakwatibwa Corona n'ekakasa nti 281 bebaakafa ekirwadde.