TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusajja ateeberezza muganzi we okuba n'omusajja omulala n'amutuga n'ennyumba n'agikumako omuliro

Omusajja ateeberezza muganzi we okuba n'omusajja omulala n'amutuga n'ennyumba n'agikumako omuliro

Added 19th July 2020

OMUSAJJA ow'ebbuba ateberezza muganzi we okuba n’omusajja omulala n'agwekiriza nga yebasa n'amutuga olumaze ennyumba n'agitekera omuliro.

Agambibwa okutuga muganzi we nga bw'afaanana

Agambibwa okutuga muganzi we nga bw'afaanana

OMUSAJJA owebbuba  ateberezza  muganzi we okuba n'omusajja omulala  nagwekiriza nga yebasa namutugga olumaze ennyumba nagitekera omuliro.

Bino bibadde  ku mwaalo gwe Maala ekisangibwa ku bizinga bye Ddamba eKkome, ku saawa nya ezekiro ku Lwomukaaga omusajja  bwatebereza muganziwe okubaako omusajja omulala gwaganza, ebbuba nelimukwata   namutuga n'oluvannyuma ennyumba nagitekeera omuliro.

Eyattiddwa ye Sarah Naiga30  muganziwe Isaac Mukisa37nga  bonna babadde bakolera ku mwalo gwe  Maala.

Florence  Nakate  nnyina w'omugenzi, eyasangiddwa  ku eMulago ku ggwanika,  poliisi gyeyatutte omulambo gwa muwalawe yategeezezza nti muwalawe  yasembeyo kwogeera naye  ku Lwokutaano namutegeeza nga bweyafunamu omuzibu ne muganziwe Mukisa kyokka  nti olwokubanga  baali bogerera ku ssimu yamukakasa nga bwateekateeka okumusisinkana asobole  okubulira  emboozi yonna mu bujuvu.

 Kigambibwa nti Naiga  yali abeera Kampala  gweyali azaddemu baana babiri  ng'oluvannyuma  lwa Bba okugwa mu battemu nebamutta yasalawo okunoonya kyakola okulaba ng'alabirira baana be  okukakana ng'agenze  ku bizinga nnyini Nakate gyeyasenga natandika okukolera eyo.

Nakate agamba nti baana  mu kiseera Mukisa weyamusisinkanidde mu nnyumba  yabadde tali nabo nga yali yabatwala wa kizibwewe  gyebabadde baeera naye.

" Batukubidde  kiro ku saawa nnya ezekiro nga  batutegeeza nga  muwalawange bweyokeddwa   muganziwe mukisa. Era olwakubanga  ekizinga  kyenkolerako  kiriraanye bulungi newebabadde babeera nayanguyiririddwa okutuuka yo nensanga nga  abantu basobodde okumenya okumutuukako naye nga yenna omuliro gumumazeewo" Nakate bweyategeezezza.

Nakate  nnyina w'omugenzi agattaako nti Mukisa abadde yakaganzagana ne muwalawe nga babadde bamaze ebbanga lya myezi  ebiri gyokka  kyokka  nasalawo okumukyaawa olw'ebbula  lyabadde alina nga buli muntu gwayogera naye bwaba musajja amumwagaza.

Ronald Mafabi ng'ono naye akolera ku kizinga Naiga gyabadde akolera yategeezezza nti ennyumba ya Naiga  mwabadde asula olwokubanga ebadde eliraniganye ne yamuganzi we abadde alaba bulungi  ekibadde kigenda mu maaso ewa Naiga.

 Yategeezezza nti Mukisa wadde omugenzi abadde yamukyawa nti badde takiriza  nga buli lwamulaba n'omusajja omulala oba kasitoma we  ng'amutukirira  ngakabuwalira omuntu oyo gwabeera asanze  nemuganziwe.

Yagambye nti ku Lwomukaaga   babadde bali mu nnyumba zaabwe bebase nebawulira endulu okufuluma ebweru ng'ennyumba ya Naiga eteeta, nagamba nti abamu ku basoose wo bakubye akagi nemasobola okutaasa Mukisa kyokka olwokubanga  omukyala yabadde amaze okumutuga basanze omukyala mufu ng'omuliro kumpi gumumazeewo yenna.

 Mafabi agamba nti amangu ago bakubidde poliisi ye kitundu kyokka nti mu kiseera weyatukidde Mukisa yabadde maze okwemulula nadduka omulambo gwa Naiga negutwalibwa eMulago ku ggwanika okusobola okwekebejjebwa.

 Oluvannyuma  poliisi yasobodde okumukwata oluvannyuma lwokusangibwa eKatooke ekisangibwa mu kitundu kye kimu nemutwaala eKatoosi ng'eno gyagenda okugibwa ayongerweyo eMukono.

Omugenzi aleesa baana babiri omuwala nomulenzi ng'omukulu ali mu myaka  muakaaga ate muto esatu era nga wakuzikibwa Kawuku  ekisangibwa eNamugongo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu