TOP
  • Home
  • Aga wiiki
  • Enteekateeka z'okufunira ab'e Busaana enguudo za Kolaasi zitongozeddwa

Enteekateeka z'okufunira ab'e Busaana enguudo za Kolaasi zitongozeddwa

Added 19th July 2020

TOWN council empya ey'e Busaana mu disitulikiti y'e Kayunga efunye enguudo za kkolaasi za kkiromita mukaaga

 

TOWN council empya ey'e Busaana mu disitulikiti y'e Kayunga efunye enguudo za kkolaasi za kkiromita mukaaga.

     Enteekateeka eno ey'okukuba kkolaasi etongozeddwa omubaka wa Ntenjeru North mu palamenti Amos Lugoloobi era nga omulimu gutandikiddewo.

     Lugoloobi era nga yeyasakidde ab'e Busaana enguudo zino agambye nti gavumenti nga eyita mu minisitule y'ebyentambula n'emirimu (works) y'etadde ssente mu kukuba kkolaasi enguudo zino nga omulimu gwakuwemmenta obuwumbi busatu n'okusobamu.

      Lugoloobi agambye nti baakukozesa tekinologiya omupya owa "Low cost sealing" era nga gavumenti emwettanidde olw'okwagala okumalawo ekizibu ky'enfuufu n'okukendeeza ssente gavumenti z'esasanya omukola enguudo z'ettaka ezonooneka amangu kumpi buli sizoni y'enkuba.

     Lugoloobi agambye nti ekimusobozesezza okusakira ab'e Kayunga pulojekiti ezibalirirwa mu buwumbi bw'ensimbi omuli ez'amassomero, enguudo, amasanyalaze n'amalwaliro kye ky'okuba nti alina obumu ne bakulembeze banne ku mitendera emirala.

      Ssentebe wa disitulikiti y'e Kayunga Tom Sserwanga agambye nti okwelumaluma mu bakulembeze kwekubadde kukuumidde Kayunga emabega wabula mu kisanja kye akoledde wamu ne banne era enkaayana zaakendeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'Drone' etomedde akatimba k...

Abantu abawerako balumiziddwa takisi ekika kya Drone nnamba UBJ 598 P ebadde eva e Mutukula - Kyotera okwolekera...

Ggoolokipa Lukwago agudde m...

GGOOLOKIPA wa KCCA FC ne Uganda Cranes, Charles Lukwago agudde mu bintu bw’afunye kkampuni egenda okumwambazanga...

Mabirizi addukidde mu kkoot...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi addukidde mu kkooti enkulu mu musango gw'avunaana Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo n'agisaba...

Abatuuze batabukidde omuser...

Abatuuze ku byalo bina okuli; Kigando, Kirumba, Sozi ne Bukaana mu ggombolola y'e Mijwala e Sembabule bali mu kutya...

Fr. Tamale aziikiddwa wakat...

AKASEERA kakwennyamira mu bannaddiini n'abakungubazi abeetabye mu kitambiro kya mmisa ekulembedde omukolo gw'okuziika...